Spirit-of-Faith-embedded ====================== The Ruhi Institute is an educational institution ## Ruhi Institute kitongole kya byanjigiriza functioning under the aegis of the National Spiritual Assembly of the Bahá'ís of Colombia. ## ekikolera wansi w’obukulembeze bw’Olukiiko olw'Omwoyo olw'Eggwanga erya Columbia. Over the past few decades, ## Mu myaka egiwerako egiyise, the Ruhi Institute has created educational materials ## Ruhi Institute ekozewo ebyeyambisibwa mu kuyigirizibwa that are being used by an increasing number of countries the world over. ## kati ebikozesebwa amawanga mangiko okwetooloola ensi yonna. The purpose of the materials is to develop human resources ## Ekigendererwa ky’ebikozesebwa kwe kukulaakulanya abantu abakozi who, through careful study, practice, and reflection, ## abo, nga bayita mu kusoma n’obwegendereza, kwegezaamu, n’okufumiitiriza become empowered to dedicate themselves ## bafuna obusobozi obw’okwewaayo bo bennyini to the spiritual, social, and cultural progress of humanity. ## mu kulaakulanya abantu bonna mu by’omwoyo, embeera z’abantu abali awamu ne mu byobuwanguwa. The materials, developed over an extended period, are created ## Ebikozesebwa, nga bikulaakulanyiziddwa okumala ebbanga eggwanvuko, bigendererwamu nna ddala to address a specific and apparent educational need, ## okukola ku bwetaavu bw’ebyenjigiriza obuliwo kati, and evolve until such time as they clearly enunciate the intended ideas ## era bijja kukyuka okutuusa ebiseera nga ebyo mwe bisobola okunnyonnyola mu ngeri etegeerekeka ekirowoozo ekyagenderera and have shown to cultivate the anticipated capabilities. ## era nga biraze okuleetawo obusobozi bwe beesuunga. Spirit of Faith can be considered as part of Omwoyo gw’ Okukkiriza kiyinza okutwalibwa ng’ekitundu a formal educational program for junior youth. ## mu nteekateeka y’okusomesa abavubuka abato mu masomero. Since its inception, ## Okuviira ddala lwe yatandika, the Ruhi Institute has placed special importance on youth aged 12 to 15 ## Ruhi Institute etadde essira ery’enjawulo ku bavubuka wakati w’emyaka 12 ne 15 and has sought to understand the dynamics of maintaining small groups ## era egeezezzaako okutegeera enkola y’okuteekawo ebibinja ebitono at the local level that provide a setting ## ku mutendera gw’ekyalo ekiwa omukisa [in which young people] can discuss ideas ## okukubaganya ebirowoozo and form a strong moral identity. ## era n’okubangawo empisa ennungi ate ennywevu ddala. Spirit of Faith is one of the elements ## Omwoyo gw’Okukkiriza kye kimu ku bitundu that has emerged as a result of this experience, ## ebisitusewo okuva mu kwetegeereza kuno, and it is hoped that those working with this age group ## era kisuubirwa nti abo abannakolagana n’omugigi guno will find it useful in their efforts. ## bannakisanga nga kya mugaso mu kaweefube waabwe. It aims at helping junior youth learn ## Kiruubirira okuyamba abavubuka abato okwongera okuyiga more about the purpose of their existence ## ku kigendererwa ky’okubeerawo kwabwe as spiritual beings in conjunction with the natural world around them, ## ng’abantu b’omwoyo awamu n’ensi eno ebeetoolodde, and encourages them to think ## era ne kibazzaamu amaanyi okulowooza about the purpose of physical reality ## ku butonde obulabika in a spiritual and scientific way. ## mu ngeri y’ebyomwoyo ne saayansi. We are happy to make it available ## Tulina essanyu okukiwako to selected organizations and agencies in its pre-publication form, ## ebitongole bya gavumenti n’ebyobwanakyewa ebirondemu nga tekinakubibwa mu kyapa, as a companion to the three units in development ## ng’emperekeze y’ebintu ebisatu mu nkulaakulana to prepare those interested in acting as animators of junior youth groups. ## etegeka abo abandyagadde okukola ng’abakubiriza b’ebibinja by’abavubuka abato. These three units will, together, ## Ebitundu bino ebisatu bijja, byonna awamu, become Book 5 in our main sequence of courses ## okufuuka Ekitabo 5 mu ntambula ya zi kkoosi for adults and older youth. ## z’abantu abakulu n’abavubuka abakuzeemu. You are welcome to send us your comments ## Tubaniriza okutuweereza endowooza zammwe on this small volume for junior youth. ## ku kitabo kino ekitono ekikwata ku bavubuka abato. Ivan listened attentively ## Ivan yali awuliriza bulungi to his parents' conversation at breakfast. ## emboozi bazadde be gye baali banyumya nga balya ekyenkya. His father had just finished reading the morning newspaper. ## Kitaawe yali yakamala okusoma olupapula lw’amawulire olufuluma ku makya. "It is all about violence," he was saying. ## Yali agamba nti, “Gonna gali ku butabanguko, Why did things turn out this way? ## lwaki ebintu byafuuka bwe biti? "It is because so many people ## “Kiri bwe kityo kubanga abantu abasinga obungi have forgotten what it is to be human," ## beerabidde kye kitegeeza okubeera omuntu.” replied Ivan's mother. ## Maama wa Ivan yamuddamu nti, "I know what a human being is," ## “Mmanyi omuntu omulamu bw’abeera.” Ivan said to himself. ## Ivan ne yeyogeza yekka nti, But the thought lingered in his mind: ## Naye ekirowoozo kino kyasigala kimubobya omutwe nga yebuuza nti, "How does one forget that?" ## “Omuntu ekyo ayinza atya okukyerabira?” A few weeks before, Natalia Petrovna had approached ## Mu wiiki ntono ezaali ziyiseewo, Natalia Petrovna yali yatuukirira Ivan and his friends, Boris and Elena, ## Ivan n’emikwano gye, Boris ne Elena, at the end of a devotional meeting ## nga bamalirizza ensisinkano z’okusinza okw’awamu, and encouraged them to form a junior youth group. ## era n’abakubiriza okutandikawo ekibinja eky’abavubuka abato. She had volunteered to act as their animator. ## Yali yeewaddeyo okubeera ng’omukubiriza waabwe. The three friends had discussed the idea among themselves ## Abeemikwano bano abasatu baali bateesezza ku kirowoozo kino bokka na bokka and had decided to invite a few of their schoolmates to join them. ## era nga basazeewo okuyita abamu ku mikwano gyabwe be basoma nabo okubeegattako. These, in turn, had invited others ## Bano nabo baali bayise abalala and now they had a group of twelve junior youth ## kaakano ekibinja ne kiwereramu ddala abavubuka abato kkumi na babiri which met every week. ## nga basisinkana buli wiiki. "I will ask Natalia Petrovna this question at our next meeting," ## “Nja kubuuza Natalia Petrova ekibuuzo kino mu lukuŋŋaana lwaffe oluddako.” Ivan decided as he walked to school that day. ## Ivan bwe yali agenda ku ssomero olunaku olwo ekirowoozo kyamugira mu bwongo, Reflections: ## Eby’okwefumiitirizaako: How did your junior youth group begin? ## Ekibinja kyo eky’abavubuka abato kyatandika kitya? What motivated each of you to join the group? ## Kiki ekyasikiriza buli omu ku mmwe okwegatta ku kibinja ekyo? Tonight, ## Olweggulo lwa leero, the goup is meeting at Elena's home. ## ekibinja kigenda kusisinkana mu maka ga Elena. The youth gradually arrive. ## Abavubuka batuuka mpolampola. Natalia eagerly listens to their conversation ## Natalia awuliriza n’okwesunga as they chat with each other ## nga buli omu anyumya ne munne about what they have done during the week. ## ku ebyo bye bakoze mu wiiki. In a short span of time, ## Mu kiseera kitono nnyo, the youth have grown so close to one another ## abavubuka bafuukidde ddala baamukwano that they freely share their ideas ## era bawanyisiganya ebirowoozo mu ddembe and put to the group questions that puzzle them. ## wamu n’okwebuuza ku banaabwe bwe bali mu kibinja ku nsonga ezibasobera. When everyone is there, ## Bonna nga batuuse, they start gathering with prayers. ## batandika olukuŋŋaana n’essaala. Then Natalia asks ## Olwo Natalia abuuza if a thought provoking idea has crossed anyone's mind ## oba nga waliwo afunyeeyo ekirowoozo ekikalubo ekimutawaanyizza obwongo in the past week which might interest others. ## mu wiiki ewedde ekiyinza okusikiriza abalala. Ivan's hand goes up immediately. ## Ivan awanika mangu omukono gwe. My mother thinks a lot of people have forgotten ## Mmange alowooza nti abantu bangi beerabidde what it is to be a human being. ## kye kitegeeza okubeera omuntu. How can that be? ## Ekyo kisoboka kitya? "How did you know the topic of today's meeting? ## “Wategedde otya omulamwa gw’olukuŋŋaana lwa leero? asks Natalia with surprise in her voice. ## Mu kwewuunya okw’ekitalo Natalia n’amubuuza nti, "I have brought several quotations for us ## Ndeese ebyawawandiikibwa ebiwerako to study on the subject of our true identity, ## bye tunaasoma ku bikwata ku mulamwa gw’ennono yaffe entuufu, which is very much related to Ivan's question. ## kino nga kyekuusako nnyo ku kibuuzo kya Ivan. But first tell me, how do people usually answer ## Naye musooke mumbuulire, abantu bulijjo babaddamu batya if you ask them who they are?" ## singa mubabuuza nti be baani?” "They say their names," says Marina. ## Marina addamu nti, “Boogera amannya gaabwe.” "They answer, I am a teacher, a scientist, a dancer," ## “Baddamu nti, ‘Ndi musomesa, ndi munnassaayansi, ndi muzinyi.’” says Nadya. ## Nadya ye agamba nti, "I am the son of Boris Ivanovich" says Igor. ## Ye Igor n’agamba nti, “Ndi mutabani wa Boris Ivanovitch.” "I am white, I am black, I am Russian, I am Chinese, I am American, I am Indian, I am Iranian," ## “Ndi mweru, ndi muddugavu, ndi Murasia, ndi Muchaina, ndi Mumerika, ndi Muyindi, ndi Muperusi,” it seems as if Boris is about to mention every country in the world. ## kiringa Boris ayagala okumenya buli nsi eri mu nsi yonna. "Thank you Boris," says Natalia quickly. ## Natalia amusala ekirimi mu bwangu, nga amwebaza, “Weebale Boris. "All of these are possible answers. ## Bino byonna bye by’okuddamu ebisuubirwa. Now let us read a quotation from the Writing of Baha'u'llah. ## Kaakano katusome ekyawandiikibwa okuva mu Byawandiikibwa bya Bahá'u'lláh. She takes out a card ## N’agyayo akapande and gives it to Elena who reads aloud: ## n’akawa Elena akasoma mu ddoboozi ery’omwanguka: O Son of Being! ## Owange Ggwe Omwana w’Obulamu! Thou are My lamp and My light is in thee. ## Ggwe oli ttabaaza yange Nze era n’ekitangaala Kyange kiri mu ggwe. asks Natalia. ## Natalia n’abuuza nti, "Who does Bahá'u'lláh tell us we are in this passage?" ## “Bahá'u'lláh atugamba nti tuli baani mu kiwandiiko kino?” "God's lamps," says Elena. ## Elena n’addamu nti, “Ttabaaza za Katonda.” "What does a lamp do?" asks Natalia. ## Natalia n’abuuza nti, “Etaala ekola ki?” "It gives off light," says Olga. ## Olga n’addamu nti, “Ereeta ekitangaala.” "We, who are like God's lamps then, ## “Ffe, abali nga ettabaaza za Katonda, should shine with the light of love, the light of knowledge, ## bwe tutyo tusaana okwakaayakana n’ekitangaala ky’okwagala, ekitangaala eky’amagezi, the light of truth, the light of a good character," ## ekitangaala eky’amazima, ekitangaala eky’empisa ennungi. says Natalia. ## Natalia n’agamba nti, "But if someone asks me who I am, ## “Naye singa omuntu ambuuza nti nze ani, I cannot say I am a lamp of God," ## siyinza mugamba nti nze ndi tabaaza ya Katonda.” says Boris to make them laugh. ## Okubasesa, Boris agamba nti, "Of course not. ## “Kituufu, si bwe kiri. But right now we are thinking about our true identity: ## Naye kaakano tulowooza ku nnono yaffe entuufu: Who we were created by God to be. ## Ekyo Katonda kye yatutondera okubeera. The image of a lamp shedding light ## Ekifaananyi ky’ettabaaza nga evaamu ekitangaala helps us think about who we really are. ## kituyamba okulowooza ku nnono yaffe yennyini. Let us consider the nature of the light ## Katulowooze ku kika ky’ekitangaala we have been created to shed. ## kye twatonderwa okuleeta. in which of the following instances ## Mu mbeera zino wammanga, are we shining with the light of knowledge? ## ziruwa eziraga nti twakaayakana n’ekitangaala eky’amagezi? When we are: ## Bwe tubeera nga: exploring nature ## tunoonyereza ku butonde teaching the Faith ## tusomesa Enzikiriza holding on to superstition ## twekwata ku kuwanuuza creating a work of art ## tukola ebyemikono spreading rumors ## tusaasaanya eŋŋambo playing music ## tuwuliriza ennyimba teaching prayers to children ## tuyigiriza abaana abato essaala In which of the following instances ## Mu mbeera zino wammanga, are we shedding the light of love? ## ziruwa eziraga nti twakaayakana n’ekitangaala eky’okwagala? When we are: ## Bwe tubeera nga: helping a friend in difficulty ## tuyamba ow’omukwano ali mu buzibu helping estranged friends get back together ## tuyamba aboomukwano abaawukanye okuddiŋŋana feeling hurt by someone's criticism ## tulumwa nga omuntu atukolokose smiling speaking kindly ## tumwenya twogera n’ekisa expecting love and attention from others ## tusuubira okwagalwa n’okutufaako okuva eri abalala preferring others before ourselves ## twagala abalala okusinga bwe tweyagala In which of the following instances ## Mu mbeera zino wammanga, are we shining with the light of a good character? ## ziruwa eziraga nti twakaayakana n’ekitangaala eky’empisa ennungi? When we are: ## Bwe tubeera nga: being polite ## tuli bawombeefu being considerate ## tulowooza ku bannaffe being dishonest ## tetuli beesigwa being joyful ## tuli basanyufu being arrogant ## tuli baamalala being truthful ## tuli baamazima being self-centered ## tweerowoozaako ffeka Natalia Petrovna selects another card ## Natalia Petrovna yalonda akapande akalala and gives it to Vadik to read: ## n’akawa Vadik okukasoma: O Son of Man! ## Owange Ggwe Omwana w’Omuntu! Thou art My dominion ## Ggwe oli bwakabaka bwange Nze and My dominion perisheth not. ## era obwakabaka bwange Nze tebusaanawo. "Bahá'u'lláh tells us we are God's dominion," ## “Bahá'u'lláh atugamba nti tuli bwakabaka bwa Katonda.” "What is a dominion?" ## “obwakabaka kye ki?” "I think it is like a country with a king. ## “Ndowooza kiringa ensi effugibwa kabaka. The king rules over his kingdom," ## Kabaka afuga obwakabaka bwe. "We are being told that we belong to God." ## Tugambibwa nti tuli bantu ba Katonda”. "That is right. ## “Ekyo kituufu. The kingdom Bahá'u'lláh mentions ## Obwakabaka Bahá'u'lláh bwayogerako is not a piece of land," ## si kitundu ky’ensi eyettaka. "It is the human heart. ## Aba ayogera ku mutima gw’omuntu. In fact He tells us: ## Mu mazima Ye atugamba nti, 'All that is in heaven and earth I have ordained for thee, ## ‘Ebyo byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi mbiragidde bibeere bibyo, except the human heart, ## okuggyako omutima gw’omuntu, which I have made the habitation of My beauty and glory... ' ## gwe nteeseteese okubeera amaka g’obubalagavu n’ekitiibwa kyange Nze…’ Earthly dominion does not last. ## Obwakabaka obw’ensi tebuwangaala. Kingdoms rise and fall. ## Obwakabaka bujja era ne buggwaawo. But God's dominion will never perish." ## Naye obwakabaka bwa Katonda tebulissanawo.” We are God's dominion. ## Tuli bwakabaka bwa Katonda. Just as a king could have enemies ## Nga kabaka bwabeera n’abalabe who would try to take over his kingdom, ## abagezaako okutwala obwakabaka bwe, our hearts may be attacked by desires and passions ## n’emitima gyaffe giyinza okulumbibwa okwegomba n’omululu that are contrary to God's Will. ## ebikontana n’Okwagala kwa Katonda. Which of the following should you not allow ## Biki ku bino wammanga bye musaanye okugana to enter your heart if you want God to rule over it? ## okuyingira emitima gyammwe singa mwagala Katonda yabeera agifuga? Envy ## Nsaalwa Love for humanity ## Okwagala bantu bonna Jealousy ## Obuggya Hypocrisy ## Obunanfuusi Greed ## Omululu Compassion ## Okulimirirwa Sympathy ## Okukwatirwa ekisa Natalia Petrovna asks Vera to read another passage: ## Natalia Petrovna asaba Vera okusoma ekitundu ky’emboozi ekirala: O ye Sons of Spirit! ## Abange Mmwe Abaana b’Omwoyo! Ye are My treasury, ## Muli ggwanika Lyange, for in you I have treasured the pearls of My mysteries ## kubanga mu mmwe nkuumira amaluulu g’ebikusike Byange and the gems of My knowledge. ## era n’amagezi ag’omuwendo omungi ag’okumanya Kwange. When I was little, ## Bwe nali omuto, I always dreamed of finding a treasure chest full of jewels, ## bulijjo nalootanga okuzuula esanduuko ejjude amajjolobera. "Well, according to Bahá'u'lláh, ## Kale, okusinziira ku Bahá'u'lláh, you yourself are a treasury ## mmwe mwennyini muli ggwanika that is filled with the most valuable jewels. ## erijjude amajjolobera ag’omwendo omungi. For example, think of all the powers God has given you: ## Eky’okulabirako, lowooza ku maanyi gonna Katonda gakuwadde: the power of love, ## amaanyi g’okwagala, the power of understanding, ## amaanyi g’okutegeera, the power of intellect. ## amaanyi g’okulowooza. Maybe these are some of the pearls of His mysteries. ## Oboolyawo gano ge gamu ku malulu Ge ameekusifu. We cannot fully comprehend the powers ## Tetuyinza kutegeera mu bujjuvu amaanyi and abilities that are within us, ## n’obusobozi obuli mu ffe, but we can see their results. ## naye tusobola okulaba ebiva mu go. For example, through the power of love, ## Eky’okulabirako, okuyita mu maanyi g’okwagaala, we can overcome hate, build friendships, ## tusobola okuvvuunuka obukyaayi, ne tufuna emikwano, cooperate and achieve unity. ## okukolagana ne tutuuka ku bumu. Give examples of what we can achieve ## Wa eby’okulabirako bye tuyinza okutuukiriza with the following powers and abilities: ## nga tuyita mu maanyi n’obusobozi buno wammanga: The power of imagination ## Amaanyi ag’okulowooza The ability to serve humanity ## Obusobozi bw’okuweereza abantu bonna The ability to discover the laws of the universe ## Obusobozi bw’okuvumbula amateeka agafuga mu nsi yonna The power of speech ## Amaanyi ag’okwogera The force of a good character ## Amaanyi agali mu mpiisa ennungi The power of understanding ## Amaanyi ag’okutegeera The power of memory ## Amaanyi ag’okujjukira "In another passage, Bahá'u'lláh tells us ## “Mu kyawandiikibwa ekirala, Bahá'u'lláh atugamba that we are like young trees ## nti tulinga emiti emito that He has planted with the hand of Loving-kindness," ## gyasimbye n’omukono Ggwe-ogweekisa.” and gives the quotation to Lida to read: ## Awa Lida asome ekyanokolebwa kino: Ye are the saplings ## Muli ndokwa ento which the hand of Loving-kindness hath planted ## omukono gw’ekisa ky’okwagala ze gusimbye in the soil of mercy, ## mu ttaka ly’okusaasira, and which the showers of bounty have made to flourish. ## era empandaggirize ez’ekisa zezisobozesezza okutinta. "Saplings are baby trees," Natalia continues. ## Natalia ayongera okunnyonnyola nti, “Endokwa bwe buti obuto obwakamera. The purpose of a tree is to bear fruit. ## Ekigendererwa ky’omuti kwe ku bala ebibala. Bahá'u'lláh tells us ## Bahá'u'lláh atugamba nti, 'The fruits of the tree of man have ever been ## ‘Ebibala eby’omuti ogw’omuntu bulijjo bibadde and are goodly deeds and a praiseworthy character. ## era bijja kusigala nga bye bikolwa ebirungi n’empisa ezitenderezebwa. We are like young trees. ## Tulinga emiti emito. The bounty of God is like the rain. ## Ekisa kya Katonda kiringa enkuba. Through the bounties of God we are able ## Okuyita mu birabo bya Katonda mwe tusobolera to grow, flourish and give forth the fruits ## &&& okukula, ne muyitimuka ne mu lyokka mubala ebibala of goodly deeds and praiseworthy character. ## eby’ebikolwa ebirungi n’empisa ezisimibwa. Decide which of the following will attract the bounties of God. ## Salawo biriwa ku bino wammanga ebijja okusikirizza ebirabo bya Katonda. Praying daily ## Okusaba essaala buli lunaku Reading the Word of God ## Okusoma Ebigambo bya Katonda Teaching the Faith ## Okusomesa Enzikiriza Being lazy ## Okubeera omugayaavu Studying diligently ## Okusoma ennyo mu n’amaanyi Working hard ## Okukola n’amaanyi Desiring to have things we don't need ## Okwegomba okubeera n’ebintu bye tutetaaga Imploring God for the ability to serve humanity ## Okwegayirira Katonda okutuwa obusobozi bw’okuweereza abantu bonna. "Now, when you think of yourselves, ## “Kaakano, bwe mwerowoozaako mwenyini, what are some of the images that come to your mind?" ## ebimu ku bifaananyi ebibagira mu bwongo bye biriwa?” Natalia Petrovna asks them. ## Natalia Petrovna n’ababuuza nti, "A lamp shedding the light of love, ## “Ettabaza eyakaayakana n’ekitangaala ky’okwagala, the light of knowledge ## ekitangaala ky’okumanya and the light of a good character, ## era n’ekitangaala eky’empisa ennungi. replies Elena. ## Elena naddamu nti, "God's dominion," says Katya. ## Katya nagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda.” A treasury full of the pearls of God's mysteries, ## Ggwanika erijjuddemu amalulu g’obwekusifu bwa Katonda. And a tree that bears the fruits of goodly deeds, ## Omuti ogubala ebibala eby’ebikolwa ebirungi. Natalia Petrovna turns to Ivan. ## Natalia Petrovna nalyooka akyukira Ivan, namubuuza nti, What do you think now, Ivan? ## Kaakano olowooza ki, Ivan? Is it possible for people ## Kisoboka abantu okwerabira to forget what it is to be a human being? ## kye kitegeeza okubeera omuntu? 'I suppose, it is," answers Ivan. ## Ivan naddamu nti, “Ndowooza kisoboka, We forget who we are, ## twerabira ffe baani, when we forget God and His teachings. ## bwe twerabira Katonda n’ebyenjigiriza Bye. "You are absolutely right," says Natalia Petrovna. ## Natalia Petrovna nagamba nti, “Oli mutuufu nnyo. "Bahá'u'lláh warns us against becoming careless ## Bahá'u'lláh atulabula okubeera abatafaayo of all the wonderful qualities God has given us. ## ku ebyo eby’ettendo Katonda bye yatudde. He says: O friends! ## Ye agamba nti, “Abange mmwe abeemikwano! Be not careless of the virtues ## Temugayaalirira ebikolwa ebyo ebirungi with which ye have been endowed, ## bye mwaweebwa neither be neglectful of your high destiny. ## oba okulagajjalira ekifo kyammwe ekya waggulu. She then asks them all to memorize ## Bwatyo n’abasaba bonna okukwata obukusu these words of Bahá'u'lláh: ## ebigambo bino ebya Bahá'u'lláh: O friends! ## Abange mmwe abeemikwano! Be not careless of the virtues ## Temugayaalirira ebikolwa ebyo ebirungi with which ye have been endowed, ## bye mwaweebwa neither be neglectful of your high destiny. ## oba okulagajjalira ekifo kyammwe ekya waggulu. Suffer not your labors to be wasted ## Temukkiriza amaanyi gammwe okwononekera through the vain imaginations ## mu ndowooza ezitalimu which certain hearts have devised. ## emitima gy’abantu abamu byegitaddewo. Ye are the stars of the heaven of understanding, ## Muli munyeenye ez’omu ggulu ery’okutegeera, the breeze that stirreth at the break of day, ## empewo empeweevu ekunta ng’obudde bukya, the soft-flowing waters upon which ## Amazzi agakulukutta empola must depend the very life of all men, ## okuteekwa okwesigamako obulamu bwennyini obw’abantu bonna, the letters inscribed upon His sacred scroll. ## ennukuta eziwandiikibwa ku muzingo Ggwe omutukuvu. During the week, ## Mu wiiki eyo, Ivan keeps thinking about the words of Bahá'u'lláh. ## Ivan yasiiba alowooza ku bigambo bya Bahá'u'lláh. He looks at himself and others in a new way. ## Yeeraba ye kennyini n’abalala mu ngeri empya. "We are God's lamps," he remembers, ## N’ajjukira nti, “Tuli ttabaaza za Katonda, "we are God's treasury. ## tuli ggwanika lya Katonda. But he still has difficulty understanding ## Naye yasigala nga alina obuzibu okutegeera why some people do such terrible things. ## lwaki abantu abamu bakola ebikolobero. Why do they turn away from God and His teachings? ## Lwaki baava ku Katonda ne ebyenjigiriza Bye? It is the next meeting of the group. Mu nsisinkano y’ekibiina eddako, After Katya and Anton have recited a prayer each, ## nga Katya ne Anton buli omu amaze okusaba esaala gye yakwata mu mutwe, Natalia Petrovna reminds everyone ## Natalia Petrovna yajjukiza buli omu of the theme of the previous session. ## omulamwa gwebyo byebali basomye emabega. She then asks: ## Era n’ababuuza nti, We are God's lamps. ## Tuli ttabaaza za Katonda. Where does our light come from? ## Ekitangaala kyaffe kiva wa? "It comes from God," answers Marina. ## Marina naddamu nti, “Kiva eri Katonda.” "Yes. Love comes from God," agrees Natalia. ## Natalia nakkiriza nti, “Ye, Okwagala kuva eri Katonda, "Justice comes from God. ## obwenkanya buva eri Katonda. Mercy, generosity, ## Okusaasira, obugabi, and wisdom come from God. ## era n’amagezi biva eri Katonda. He is the source of all these qualities. ## Ye yensibuko y’ebikolwa bino byonna ebirungi. Whichever way we turn, ## Buli ludda lwonna lwe tukyukira, we see signs of the power of God, ## tulaba obubonero obw’amaanyi ga Katonda, of His knowledge and His bounty. ## obw’okumanya Kwe era n’ekirabo Kye. My children's class teacher used to say that ## Omusomesa eyanjigiriza mu kibiina eky’abaana abato yateranga okutugamba nti we should be as firm as rocks ## tusaana okubeera abanywevu ng’olwazi in our love for Bahá'u'lláh. ## mu kwagala kwaffe eri Bahá'u'lláh. I guess rocks should remind us of strength and firmness, ## Ndowooza enjazi zisaana okutujjukiza obuvumu n’obunywevu. Yes, that's true. ## Ye, ekyo kituufu. And which of the signs of God do you see ## Bubonero ki obwa Katonda bwe mulaba when you look at a towering mountain? ## nga mutunulidde olusozi olugulumivu? "Firmness again?" asks Vera. ## Vera nabuuza nti, “Era bunywevu?” Yes, but also power and majesty, ## Yee, naye era amaanyi n’ekitiibwa. And my mother says that ## Era maama wange agamba nti, she is reminded of God's generosity ## ajjukizibwa obugabi bwa Katonda each time she sees the rain pouring down from the clouds," ## buli lw’alaba nga enkuba ettonya okuva mu bire. Think of how the rays of the sun shine upon everything on earth, ## Mulowooze ku magulu g’enjuba bwe gakira ku buli kimu ku nsi, in the desert, upon the sea, on the leaves and blossoms of the trees. ## mu ddungu, ku nnyanja, ku bikoola n’ebimuli ebyo ku muti. The light of God also shines on every created thing ## Ekitangaala kya Katonda era kyakira ku buli kitonde and is reflected in it. ## era ne kibbulukukira mu kyo. Abdu'l-Bahá tells us that ## 'Abdu'l-Bahá atugamba nti, The world, indeed each existing being, ## Ensi, mu mazima buli kintu ekiramu, proclaims to us one of the names of God. ## kirangirira gyetuli erimu ku mannya ga Katonda. I wonder which of the names of God is shining on me! ## Neewuunya oba linnya ki ku mannya ga Katonda eryaakira ku nze! All of them, ## Gonna. 'Abdu'l-Bahá says that we are 'the noblest ofall beings, ## 'Abdu'l-Bahá agamba nti, “ffe tusinga ekitiibwa mu bitonde byonna, the sum of all perfections. ## era abatuukiridde mu byonna. I like to be noble," says Anton. ## Anton nagamba nti, “Njagala kubeera ow’ekitiibwa.” You are noble, Anton, ## Anton oli wa kitiibwa, but you must always remember that ## naye bulijjo oteekwa okujjukira nti you have all the signs of God in you. ## olina obubonero bwonna obwa Katonda mu ggwe. You should never forget this. ## Kino tosaana ku kyerabira. She then asks Lida to read: ## Natalia n'alyoka asaba Lida okusoma: Noble have I created thee, ## Nkutonze ggwe mu kitiibwa, yet thou hast abased thyself ## naye ate ggwe ne weefeebya. Rise then unto that for which thou wast created. ## Kale nno golokoka ofune ekyo ekyakutonderwa ggwe. "What does 'abase' mean?" asks Lida. ## Lida nabuuza nti, “Okwefeebya kitegeeza ki?” Think of a person who owns precious jewels ## Lowooza ku muntu alina amayinja ag’omwendo but throws them away ## naye n’agakasuka and collects pebbles, ## eri nakuŋŋaanya amayinja aga bulijjo. He is rich, but he makes himself poor. ## Mugagga naye neyeeyavuwaza. When we throw away the precious qualifies God has given us ## Bwe tusuula ebirabo eby’omuwendo Katonda byatuwadde we abase ourselves. ## tubeera twefeebezza. We have been created noble. ## Twatondebwa nga tuli ba kitiibwa. Decide which of the following actions ## Salawo ku bikolwa or conditions correspond to our nobility ## oba embeera zino wammanga, ebituukana n’ekitiibwa kyaffe and which of them will abase us. ## oba ebinaatufeebya. Mark them with an "E" or an "K" accordingly. ## Wandiika (E) oba (K) nga bwe kisoboka Striving for excellence ## Okulafuubanira obusukkulumu Being humble ## Okubeera omwetoowaze Using bad language ## Okuwemula Telling lies ## Okulimba Breaking our promises ## Obutakuuma bisuubizo byaffe Being generous ## Okubeera omugabi Stealing ## Okubba Seeking knowledge ## Okufuba okumanya Fighting ## Okulwana Speaking to others with kindness ## Okwogera n’ekisa eri abantu abalala Being rude ## Okubeera ne bboggo Showing courtesy to others ## Okweyisa obulungi mu bantu Cheating ## Obukumpanya Being trustworthy ## Okubeera omwesigwa Ivan has been looking for an opportunity to ask his question: ## Ivan abadde alindirira okufuna omukisa okubuuza ekibuuzo kye, But why do we abase ourselves? ## Naye lwaki twefeebya? Like, I can't understand how some people can be so cruel. ## Okugeeza, siyinza kutegeera lwaki abantu abamu basobola okubeera abakambwe ennyo. Where does so much cruelty come from? ## Obukambwe obwenkanidde awo buva wa? If good things come from God, ## Oba ebirungi biva eri Katonda, then bad things must come from the devil, ## bwe kityo ebintu ebibi biva wa ssitaani. There is no such thing as the devil. ## Tewali kintu ssitaani. We can answer Ivan's question ## Tusobola okuddamu ekibuuzo kya Ivan if we think about the two natures of the human being: ## singa tulowooza ku mbeera ebbiri ez’obulamu bw’omuntu: the spiritual, or higher, ## obw’omwoyo, oba obwawaggulu, and the material, or lower. ## obw’omubiri oba obwa wansi. Qualities such as love, mercy, ## Obubonero nga okwagala, obusaasizi, kindness, truthfulness, ## ekisa, amazima and justice belong to our higher nature. ## n’obwenkanya, biva mu bulamu bwaffe obwa waggulu. It is in this sense that ## Eno y’ensonga lwaki tugamba nti we say we have been created noble. ## twatondebwa nga tuli bakitiibwa. Our material nature is the part that we have in common with animals ## Obulamu bwaffe obw’omubiri bwe bulamu obutufaanaganya ne nsolo. Imperfections like selfishness, cruelty, ## Ebitali bituukirivu nga okwelowoozako, obukambwe, and jealousy come from it, ## n’obuggya biva mu kyo. But we do lots of things like animals ## Naye tukola ebintu bingi nga nsolo that are not bad, ## ebitali bibi. Animals eat and sleep. ## Ensolo zirya era zeebaka, We eat and sleep, too," ## naffe tulya era ne twebaka, Animals feel cold, hunger, and thirst, ## Ensolo ziwulira empewo, enjala n’ennyonta, and we have the same feelings, ## era naffe tubiwulira. Eating, sleeping, and feeling cold or hungry are not bad, ## Okulya, okwebaka, okuwulira empewo oba enjala si bibi. But animals can be so cruel. ## Ensolo zisobola okubeera enkambwe ennyo. How would you like to be left alone somewhere ## Wandiyagadde okulekebwa wekka awantu with a bunch of hungry wolves? ## n’eggana lye emisege nga enjala egiruma? How would you like to be stung by a poisonous snake? ## Wandiyagadde okubojjebwa omusota ogw’obusagwa? Well, I can't even stand a tiny mosquito buzzing in my ears, ## Siyinza kugumiikiriza wadde akasiri akatono nga kanzungira mu matu. says Boris with a laugh. ## Ye Boris na seka nga bwagamba nti, There is no such thing as bad ## Tewali kintu kibi or good in the world of animals. ## oba kirungi mu nsi y’ebisolo. Animals act according to their instincts. ## Ensolo zeeyisa okusinziira ku ekyo kye ziwulira. They eat. They drink. ## Zirya. Zinywa. They wander about and they sleep. ## Zitayaaya era ne zeebaka. They are captives of these desires, ## Ziri mu buwambe bwe ebyo ze byagala. The poisonous snake stings when it feels danger. ## Omusota ogwa obusagwa gubojja bwe gulaba akabi. The hungry wolf hunts other animals in order to survive. ## Omusege guyigga ensolo endala gusobole okuwona enjala. It is not wrong for an animal ## Si kikyamu ensolo to do any of these things. ## okukola bino byonna. But we abase ourselves ## Naye ffe tubeera twefeebya when we conduct ourselves just like animals. ## bwe tweyisa nga ensolo. She asks Nadya to read these words of Bahá'u'lláh: ## Nasaba Nadya okusoma ebigambo bino ebya Bahá'u'lláh: All men have been created ## Abantu bonna baatondeddwa to carry forward an ever-advancing civilization. ## okutwala mu maaso obugunjufu bulijjo obweyongera okulinnyalinnya. The Almighty beareth Me witness: ## Oyo Ayinza byonna Ye mujulizi Wange: To act like the beasts of the field is unworthy of man. ## Okweyisa nga ensolo ez’omu nsiko tekisaanira okukolebwa omuntu. Those virtues that befit his dignity are ## Empisa ezo ezisaanira ekitiibwa kye forbearance, mercy, compassion, empathy ## bwe bugumiikiriza, obusaasizi, obwesimbu, okulumirirwa, and loving-kindness towards all the peoples and kindreds of the earth. ## n’ekisa ky’okwagala eri abantu n’abeŋŋaanda ku nsi. So, you see Vadik we don't abase ourselves ## Noolwekyo, okiraba Vadik nti tetwefeebya because there is a devil that makes us do so, ## kubanga waliwo ssitaani atuwaliriza okubikola, but because we become captives ## naye kubeera nga tufuuka bawambe to the desires of our lower nature. ## mu bye twegomba mu bulamu bwaffe obwawansi. Acting according to our higher nature takes discipline. ## Okweyisa nga tusinziira ku bulamu bwaffe obwawaggulu kyetaaga okwefuga. Decide, for each situation below, ## Salawo, ku buli mbeera wammanga, which of the responses correspond to our higher nature: ## kiruwa ekyokuddamu ekituukaana n’obulamu bwaffe obwawaggulu: A friend asks you to explain the answer ## Mukwano gwo akusaba okumunnyonnyola eky’okuddamu to a question he finds difficult: ## ku kibuuzo kyasanze nga kizibu: You don't share the answer with him, ## Ogaanna okumubuulira eky’okuddamu because you don't want him to do as well as you in the exam. ## kubanga toyagala akole bulungi nga ggwe mu kibuuzo. You try to find out what he has difficulty understanding ## Ogezaako okuzuula ekyo kyasanzemu obuzibu okutegeera and patiently explain it to him. ## era n’okimunnyonnyola n’obugumiikiriza. You find an excuse for not explaining, ## Weekwasa obusongasonga obutamunnyonnyola, because you think he is not smart ## kubanga olowooza nti tategeera bulungi and you don't have the patience. ## era tolina bugumiikiriza obwo. Your mother asks you to wash the dishes: ## Maama wo akugamba okwoza amasiyaani: Despite being tired, you do as she says. ## Wadde ng’oli mukoowu okola nga bw’akugambye. You ignore her request ## Weesuulirayo ogwa nnagamba ku kyakugambye because you feel lazy. ## kubanga oli mugayaavu. You tell her that you are going to wash the dishes ## Omugamba nti ogenda kwoza amasiyaani but you never get to it. ## naye n’otakikola. Although your parents know you will not drink alcohol, ## Newaakubadde nga abazadde bo bamanyi nti tojja kunywa mwenge, they still do not allow you to go to a party ## naye era tebakukkiriza kugenda ku mbaga where there is drinking: ## awali okunywa: You lie by saying that you are going somewhere else, ## Olimba n’ogamba nti olina awalala gyolaga, but you go to the party. ## naye nga ogenda ku mbaga ako You obey because you know your parents ## Obagondera kubanga okimanyi nti abazadde bo want what is best for you. ## bakwagaliza ekyo ekisinga obulungi You sneak out of the house ## Weebirira okuva mu nnyumba without anyone knowing ## nga tewali n’omu ategedde and go to the party. ## n’ogenda ku mbaga. Your friend does something that annoys you: ## Mukwano gwo akola ekintu ekikunyiiza: You scream at her ## Okumulekanira in order to show you are upset. ## okusobola okumulaga nti onyiize. You tell her that she has annoyed you ## Omugamba nti akunyiiziza and that if she does it again ## era nti singa akikola nate you will not be her friend anymore. ## tojja kuddamu okubeera mukwano ggwe. You realize that there are ## Okitegeera nti waliwo things about you that may annoy her, ## ebintu ebimu by’okola ebiyinza okumunyiiza, so you remind yourself of her good qualities ## noolwekyo n’ojjukira empisa ze ennungi and show patience. ## era n’obeera omugumiikiriza Your teacher has given you an assignment ## Omusomesa wo akuwadde omulimu gw’okukola which you have to complete by a certain date: ## era gw’olina okumaliriza ng’olunaku lw’akugambye terunayita: You work hard to complete the assignment on time. ## Okola nnyo okumaliriza omulimu ogwo mu budde. You don't work on the assignment ## Tokola omulimu gw’akuwadde and tell your teacher that you were sick. ## n’ogamba omusomesa wo nti obadde mulwadde You copy the work of another student. ## Okoppa omuyizi omulala gw’amaze okukola If the devil does not exist, ## Singa ssitaani taliwo, is it our lower nature, then, that is evil? ## kitegeeza nti embeera y’obulamu bwaffe ey’omubiri kyekibi? No, our lower nature is not evil, ## Embeera y’obulamu bwaffe ey’omubiri si ye mbi. Take for example our desire for food: ## Twala eky’okulabirako nga okwagala emmere: from the very beginning of our existence, ## okuvira ddala oluberyeberye lw’okubeerawo kwaffe, we had to look for food. ## twalina okunoonya emmere. Otherwise, we would not have survived. ## Awatali ekyo, tetwandibaddewo. So, the desire for food is not bad. ## Noolwekyo okwagala emmere si kibi. But our higher nature should control it, ## Naye embeera y’obulamu bwaffe obw’omwoyo y’esaana okugifuga, so that we don't become greedy ## bwetutyo tuleme okubeera ab’omululu and want more and more, ## n’okugenda nga tweyongeza, while other people are going hungry. ## nga abantu abalala balumwa enjala. Instead we have to learn ## Mu kifo ky’okulyaguzibwa tusaana okuyiga to share what we have with others. ## okugabana n’abalala bye tulina. What about anger; isn't anger bad? ## Ate obusungu, obusungu si bubi? Anger has its usefulness too. ## Obusungu nabwo bulina we bubeerera n’omugaso. Let me ask you something. ## Ka nkubuuzeyo kino. How do you feel when you think about ## Owulira otya muli bw’olowooza what is happening to the many children in the world ## ku bituusibwa ku baana abangi mu nsi yonna who are without food, shelter and education? ## abatalina kyakulya, wakusula era nga tebasoma? Can you remain calm?" ## Oyinza okusigala omukakamu? No. I cannot. I guess I feel angry, ## Nedda. Sisobola. Ndowooza mpulira obusungu, but I also feel sad. ## Era ne mpulira okunnyolwa. Well, this anger is not bad; ## Kale nno, busungu obw’ekika ekyo si bubi; it will not allow you to become indifferent ## tebujja kukuganya okubeera nga tofaayo to the pain of others. ## ku bulumi bw’abalala Of course, you have to watch yourself ## Weewaawo, olina okwefuga whenever you get angry about something. ## buli lw’ofuna obusungu olw’embeera yonna. You shouldn't lose your temper, scream, ## Tolina kuva mu mbeera, okuleekaana, or do some crazy thing, ## oba okukola ekitasaana, which in the end will bring more problems. ## ekina kwongera ebizibu ebirala mu nkomerero. "What about fear?" ## Ate okutya? "I always fear that I may fail in the things I do. ## Bulijjo ntya nti nyinza okulemererwa mu bintu bye nkola. Fear helped the primitive man ## Okutya kwayamba omuntu ow’edda to avoid the many dangers that surrounded him. ## okwewala obulabe obungi obwali bumwetoolodde. He needed fear, for without it he would not have survived. ## Yaali yetaaga okutya, kubanga awatali ekyo yali tasobola kuwona. Even today, in many situations ## N’olwaleero, mu mbeera nnyingi fear protects us from danger. ## okutya kututaasa awali akabi. But through our higher nature, ## Naye bwe tuyita mu mbeera y’obulamu bwaffe obw’omwoyo, we learn to overcome our fears ## tuyiga okuwangula okutya kwaffe and develop courage. ## ne tufuna obuvumu. One of the fears we need to overcome ## Okutya okumu kwetulina okweggyamu is the fear of failure. ## kwe kutya okw’okulemererwa. In fact, there are no failures, ## Mu butuufu, tewali kulemererwa, only mistakes through which we learn. ## ensobi zokka ze tuyitamu okuyiga. This way of looking at what we do ## Engeri eno gye tulabamu byetukola will help us develop the courage ## ejja kutuyamba okufuna obuvumu to learn from our mistakes. ## obw’okuyigira ku nsobi zaffe. Desires can be good or bad. ## Okwegomba kuyinza okubeera okulungi oba okubi. Decide which of the following are acceptable: ## Salawo ku bino wammanga biriwa ebikkirizibwa: The desire to gain more knowledge ## Okwegomba okwongera okuyiga ennyo in order to feel superior to others ## olyoke owulire nga osinga abalala The desire to gain more knowledge ## Okwegomba okwongera okuyiga ennyo in order to help the people of the world ## olyoke osobole okuyamba abantu abalala mu nsi The desire to become more compassionate ## Okwegomba okubeera alumirirwa ennyo eri abalala The desire to become more just ## Okwegomba okwongera okubeera omwenkanya The desire to have more and more wealth for oneself ## Okwegomba okwetuumako eby’obugagga ebisukkiridde The desire to become more generous ## Okwegomba okweyongera okubeera omugabi The desire to share the teachings of Bahá'u'lláh ## Okwegomba okugabana eby’enji giriza bya Bahá'u'lláh with more and more people ## n’abantu abangi The desire to be excellent in everything one does ## Okwegomba okubeera omusukkulumu mu buli kimu omuntu kyakola I am really confused. ## Ntabuddwatabuddwa ddala. There is no devil. ## Tewali ssitaani. Our lower nature is not evil. ## Embeera y’obulamu bwaffe obwa wansi si kibi. Animals are not evil. ## Ebisolo si byononefu. Our desires are not evil ## Okwegomba kwaffe si kubi if we put them to good use. ## bwe tubweyambisa obulungi. It sounds like we are saying everything is good. ## Tuli nga abagamba nti buli kimu si kibi. But everything is not good, ## Naye buli kimu si kirungi Natalia Petrovna smiles at him, ## Natalia Petrovna nammwenya, enjoying Igor's reasoning. ## ng’ayagadde enteesa ya Igor. There is a very important idea that we need to understand, ## Waliwo ekirowoozo ekirungi kyetulina okutegeera. God has not created evil. ## Katonda teyatonda kibi. He has only created good. ## Yatonda kirungi kyokka. Evil is the absence of good. ## Ekibi bwe butabaawo obw’ekirungi. Think of light and darkness ## Lowooza ku kitangaala n’ekizikiza. You know that there are particles of light called photons. ## Okimanyi nti waliwo obuntu obusirikitu obusangibwa mu kitangaala obuyitibwa photons. The rays of light are made of these photons. ## Amagulu g’ekitangaala gakolebwa photons zino. But there are no particles of darkness. ## Naye tewali buntu obusirikitu obusangibwa mu kizikiza. Where there is no light there is darkness. ## Mu kizikiza, tewali ekitangaala. Ignorance, for example, is lack of knowledge. ## Eky’okulabirako, obutamanya bwe butabaawo bw’okumanya. Hate appears when there is no love. ## Obukyayi bweyolesa nga tewali kwagala. Pride is the absence of humility. ## Amalala bwe butabaawo obw’obwetoowaze. The youth remain silent for a while. ## Abavubuka ne basirikiriramu okumala akaseera. They are clearly convinced ## Baali bamativu by what Natalia Petrovna has explained. ## n’ebyo Natalia Petrovna byannyonnyodde. How wonderful it is to know that God has created only good, ## Nga kyewuunyisa okumanya nti Katonda yatonda birungi byokka. says Marina, finally breaking the silence. ## Oluvannyuma, okumalawo akasirikiriro, Marina nagamba nti, Bahá'u'lláh's teachings help us improve ourselves. ## Eby’enjigiriza bya Bahá'u'lláh bituyamba okulongoosa obulamu bwaffe. What do the following people need ## Abantu bano wammanga kiki kyebetaaga to learn in to behave correctly? ## okuyiga okusobola okweyisa obulungi? Someone who dislikes people of a different race ## Omuntu atayagala bantu ab’ebika ebirala and treats them unkindly ## era abayisa bubi Parents who do not send their daughters to school ## Abazadde abatawerera abaana baabwe ab’obuwala mu masomero A man who drinks alcohol ## Omusajja omunywi w’omwenge Someone who is not chaste ## Omuntu atali mulongoofu We need to create good in order to fight evil. ## Twetaaga okweyisa obulungi tusobole okulwanyisa ekibi. Darkness cannot be defeated with darkness. ## Enzikiza teyinza kumalibwaawo nzikiza. We cannot end hate in the world ## Tetuyinza kumalawo bukyayi mu nsi, if we ourselves feel hate. ## bwe tubeera nga naffe tulina obukyayi eri abalala. In order to overcome the darkness of evil, ## Okusobola okuwangula enzikiza y’ekibi, we must reflect more intensely the attributes of God. ## tuteekwa okwolesa n’amaanyi obubonero bwa Katonda. Discuss what you should do ## Mukubaganye ebirowoozo ku kiki kye musaanye okukola when you are in the following situations: ## mu mbeera zino wammanga: Someone ridicules you in school ## Omuntu akujerega mu ssomero and calls you stupid. ## n’akuyita musiru. A schoolmate tells you how easy it is to steal ## Munno gw’osoma naye akugamba nga bwekiri ekyangu okubba from a nearby store and encourages you to do so. ## mu dduka eriraanyewo era nakusikirizza okukikola You feel envious of a friend ## Okwatirwa obuggya mukwano gwo who is often praised by the teacher. ## omusomesa gwatera okuwaana You find out that a friend ## Ozuula nti mukwano gwo has been saying bad things about you behind your back. ## abeera akwogerako ebibi nga toliwo. The discussion of this class comes to an end ## Eby’okwogerako mu kibiina kino bikomekerezebwa with Natalia Petrovna asking the youth ## nga Natalia Petrovna asaba abavubuka to memorize the following quotations and prayer. ## okwata obukusu ebyawandiikibwa bino ne ssaala zino wammanga. I have perfected in every one of you creation, ## Ntuukirizza okutonda Kwange mu buli omu ku mmwe, so that the excellence of My handiwork ## bwebutyo obussukulumu bw’omulimu ogukoleddwa emikono Gyange may be fully revealed unto men. ## gulyoke gwolesebwe mu bujuvu eri abantu. Love is light in whatsoever house it may shine ## Okwagala kitangaala mu buli nnyumba yonna mwe kiyinza okwakira and enmity is darkness in whatsoever abode it dwell. ## ate obukyayi nzikiza mu buli nnyumba yonna mwe bubeera. Therefore, you must thank God ## Noolwekyo, muteekwa okwebaza Katonda that He has bestowed upon you ## nti abawadde the blessing of life ## omukisa gw’obulamu and existence in the human kingdom. ## n’okubeerawo kwammwe mu bwakabaka bw’abantu. Strive diligently to acquire virtues ## Mulafuubane n’obwegendereza okufuna empisa ennungi befitting your degree and station. ## ezisanira omutendera n’ekifo kyammwe. Be as lights of the world which cannot be hid ## Mubeere nga ettaabaza z’ensi ezitasobola kukwekebwa and which have no setting in horizons of darkness. ## era ezitabulirayo ku lukungirizi olw’ekizikiza. The will and plan of God is that ## Ekigendererwa n’enteekateeka za Katonda kiri nti each individual member of humankind shall become ## buli muntu kinoomu ku bantu bantu bonna ajja afuuka illumined like unto a lamp, ## ekitangaala okufaanana nga ettabaaza, radiant with all the destined virtues of humanity, ## ng’amasamasa n’ebikolwa ebirungi ebyalagirwa abantu, leading his fellow creatures out of natural darkness ## nga akulembeera bantu banne okuva mu nzikiza gye babaddemu into the heavenly light. ## nga abatwala mu kitangaala eky’omu ggulu. Make me as a lamp ## Nfuula ng’ettabaaza shining throughout Thy lands ## eyakayakana mu nsi Zo zonna that those in whose hearts ## olwo emitima gy’abo bonna the light of Thy knowledge gloweth ## ekitangaala ky’okumanya Kwo mwe kyakidde and the yearning for Thy love lingereth ## era n’okuyayanira okwagala Kwo mwe kuwaŋŋamye may be guided by its radiance. ## kulyoke kuluŋŋamizibwe n’okwaka kwayo. The group has come together for another meeting. ## Ekibiina kikuŋŋaanye nate mu nsisinkano endala. I know two boys who finished primary school last year ## Mannyi abalenzi babiri abaamala ebibiina ebisooka omwaka oguwedde and entered secondary, ## ne bagenda mu bibiina ebiddako. begins Natalia Petrovna after prayers. ## Oluvannyuma lw’okusaba, Natalia Petrovna atandika nti, They are both intelligent ## Bombi nga bagezi and have been good friends ever since the first grade. ## era nga bamukwano okuva lwe batandika mu bibiina ebisooka. Unfortunately, there are many problems in their new school. ## Eky’embi, waliwo emitawaana mingi mu ssomero lyabwe eriggya. Most of the students are unruly. ## Abayizi abasinga obungi bakiwagi. They fight. They lie to their parents, ## Balwaana. Balimba bazadde baabwe, and hardly pay attention to their teachers. ## era nga kumpi tebafaayo ku basomesa baabwe kye babagamba. I don't want to say the names of the two boys, ## Saagala kwogera mannya g’abalenzi abo ababiri, so let's call them A and B. ## kale katubayite A ne B. Only after a few months, A, ## Oluvannyuma lw’emyezi mitono gyokka, A, who used to be a very good student, ## eyali omuyizi omulungi ennyo, is doing poorly in his studies. ## atandika okuddirira mu misomo gye. His behavior has also begun to change. ## N’empisa ze nazo ne zitandika okukyuuka. He gets into fights ## Alwanagana ne banne and has picked up the harmful habit of smoking. ## era n’atandika n’omuze omubi ogw’okunywa sigala. B has none of these difficulties. ## Ye B talina na kimu ku bizibu bino. He continues to be a good student, polite and caring. ## Yeeyongera okubeera omuyizi omulungi, omukakkamu era afaayo. He keeps calm when some of his schoolmates ridicule him. ## Banne basoma nabo ne bwe bamujerega asigala mukakkamu. My question is this: ## Ekibuuzo kyange kye kino: Why do you think A and B are behaving so differently? ## Mulowooza lwaki A ne B beeyisa mu ngeri ez’enjawulo ennyo? Maybe, A hangs out with the wrong guys, ## Oboolyawo, A abeera n’abantu abakyamu. You guessed right. ## Ky’oteebye kituufu. But why doesn't B hang out with these same people? ## Naye lwaaki B, tabeera n’abantu bebaamu bano? Because he knows what is good for him, ## Kubanga amanyi ekirungi kyayagala. I don't think A is a bad guy. ## Sirowooza nti A, muntu mubi. He may also know what is good for him, ## Naye ayinza okubeera nga amanyi ekintu ekirungi kyayagala, but he is just too weak ## naye ndowooza munafu bunafu and gives in to pressure from other kids, ## atwalibwa ebyo abaana abalala byebakola. Good, I want you to learn a very important word: 'volition.' ## Kirungi. Njagala muyige ekigambo ekikulu ennyo: ‘okweyagalira’. Volition is the exercise of our will power ## Okweyagalira kwekukozesa amaanyi gaffe ag’okwesalirawo to do things. ## okukola ebintu. Remember we said that God has given us ## Mujjukire nti twagamba Katonda yatuwa the capacity to reflect all His names. ## obusobozi obw’okwolesa amannya Ge gonna. But we will not develop our qualities ## Naye tetuyinza kukulaakulanya bikolwa byaffe ebirungi without the exercise of will. ## nga tetukozesezza maanyi g’okwesalirawo. She then asks Anton to read ## Bwatyo nasaba Anton okusoma a passage from Bahá'u'lláh's writings: ## ekitundu okuva mu byawandiikibwa Bahá'u'lláh. All that which ye potentially possess can, however, ## Naye nno ebyo byonna byemulina bisobola be manifested only as result of your own volition. ## okwolesebwa nga biviira mu kusalawo kwammwe. It does not take much effort ## Tekyetagisa maanyi mangi to swim in a river in the direction of the current, ## okuwuga ng’odda amazzi gye gakulukutira, but to swim upstream is hard work. ## naye okuwuga ng’odda gyegava gubeera mulimu muzibi. In the same way, ## Mu ngeri y’emu, it is easy to let things just happen, ## kibeera kyangu okuleka ebintu okutuukawo obutuusi, but to lead a noble life ## naye okweyisa mu bulamu obw’ekitiibwa requires enormous effort and energy ## kwetaagisa okulafuubana ennyo n’amaanyi, and, therefore, volition. ## era noolwekyo, n’okweyagalira. Decide in which of the following ## Salawo ku bino ebiddako wammanga biruwa bye we must exercise greater willpower: ## tuteekwa okukozesa okwesalirawo okw’amaanyi: You are joining a marathon ## Ogenda kwenyigira mu misinde kaasameeme and you want to become fit: ## era oyagala okubeera katebule. You practice whenever you feel like it. ## Weegezaamu buli wooba oyagalidde. You practice rigorously everyday. ## Weegezaamu n’amaanyi mangi buli lunaku. You want to obey the law of reciting ## Oyagala okugondera etteeka ery’okusoma the verses of God every morning and evening: ## ennyiriri za Katonda buli ku makya n’akawungeezi: You say your prayers once in a while when you remember ## Osaba esaala zo oluvannyuma lw’ebbanga w’ojjukirira, or if your parents ask you to. ## oba bakadde bo lwe babeera bakugambye. You wake up early in the morning ## Ozuukuka ku makya nnyo to recite the verses of God ## okusoma ennyiriri za Katonda and set a special time aside in the evening ## era n’ossaawo ekiseera eky’enjawulo olweggulo to do the same. ## okukola ekintu kyekimu You want to assist with the children's class in your community: ## Oyagala okuyamba mu kusomesa abaana abato mu kitundu kyo: You often miss the class ## Otera okusubwa okusomesa ekibiina because you can't wake up early in the morning. ## kubanga tosobola kukeera ku makya. Despite having difficulty in waking up early, ## Newaakubadde nga kikuzibuwalira okukeera ku makya, you exert yourself and attend the class. ## ofuba n’ogenda ne weetaba mu kusomesa. You are with a group of friends who are smoking. ## Oli mu kibinja kya mikwano gyo abafuweeta taaba. They insist that you should join them and smoke: ## Bakuwaliriza nawe okubeegatagako ofuweete. You hesitate but finally accept a cigarette. ## Oli aganaaga naye oluvannyuma n’okkiriza omunnwe gwa sigareeti. You politely refuse. ## Ogaana mu ngeri ey’obukkakkamu. Another important phrase ## Eŋŋombo endala enkulu you need to learn is 'free will' ## gye mwetaaga okuyiga ye ‘okwesalirawo’. It is through the exercise of our free will ## Tuyita mu kwegezaamu mu kwesalirawo kwaffe that we decide to do good or bad; ## ne tulondawo okukola ekirungi oba ekibi; we decide to be kind or cold, ## tulondawo okubeera ab’ekisa oba abatafaayo, greedy or content, ## ab’omulugube oba abamativu, fair minded or prejudiced. ## abeenkanya oba abalina kyekuubira. 'Abdu'l-Bahá tells us that if man wishes, ## 'Abdu'l-Bahá atugamba nti omuntu bwaba ayagadde, 'he can pass his time in praising God, ## ‘ayinza okumala ebiseera bye mu kutendereza Katonda, or he can be occupied with other thoughts. ## oba ayinza okwemalira mu birowoozo ebirala. He can be an enkindled light ## Ayinza okubeera ettala ekoleezeddwa through the fire of the love of God, ## n’omuliro ogw’okwagala kwa Katonda, and a philanthropist loving the world, ## era okukola ebyo ebiyamba abantu mu kwagala ensi yonna, or he can be a hater of mankind, ## oba asobola okubeera omukyayi eri abantu, and engrossed with material things. ## era nga yemalira mu bintu by’ensi. He can be just or cruel. ## Asobola okubeera omwenkanya oba omukambwe. But, when others are mean, ## “Naye abalala bwe babeera nga beefaako bokka, isn't it they who force us to be unkind to them? ## si bebatuwaliriza naffe obutabakolera kisa? Or when people makes us angry, ## Oba abantu bwe batunyiiza, aren't they making us lose our temper? ## si be batuleetera naffe okunyiiga? continues Elena. ## Elena nayongerezaako nti, Even then, we can decide not to lose our temper, ## Ne bwe kibeera bwekityo tuyinza okusalawo obutanyiiga, just as we can decide to be kind ## nga naffe bwetusalawo okubeera ab’ekisa to someone who is mean to us, ## eri abo abatatufaako. Well, I can understand that we should ## Weewaawo, nsobola okukitegeera nti tusaana be able to control what we do. ## okwefuga mu byetukola. But we cannot control everything, ## Naye tetusobola kufuga buli kimu. You are absolutely right. ## Oli mutuufu nnyo. There are certain things ## Waliwo ebintu ebimu such as sleep, aging, death, ## nga tulo, okukula, okufa, and sometimes sickness ## ate oluusi okulwaala over which we cannot exercise our free will, ## ebitasobola kutukkiriza okukozesa okwesalirawo kwaffe. I can decide not to sleep, ## Nsobola okusalawo obuteebaka. Yes, you can decide not to sleep, or sleep less. ## Yee oyinza okusalawo obutebaka, oba okwebakako akatono. But how long can you last without sleeping? ## Naye oyinza okumala banga ki nga tewebaka? In the end, you will have to sleep, ## Gye bigwera oba olina okwebaka. Aren't some sicknesses the results of our eating habits? ## Endwadde ezimu teziva mu ngeri gye tulya? Yes. In those cases, we are responsible for getting sick. ## Yee. Mungeri ezo, tubeera tuvunaanyizibwa ku kulwaala kwaffe. But then there are times ## Naye ate waliwo ebiseera when we cannot avoid sickness, ## we tutasobolera okwewala obulwadde. Think about accidents. ## Mulowooze ku bubenje. I could get hit by a car ## Nsobola okutomerwa emmotoka because the driver is careless, ## kubanga omuvuzi waayo si mwegendereza. Now it is the driver who is responsible for your getting hurt, ## Kaakati omuvuzi w’ekiduka yavunaanyizibwa ku kulumizibwa kwo. What do we do, then, when others use their freewill to hurt us? ## Olwo tusobola kukola ki, abalala bwe bakozesa okwesalirawo kwabwe okututusaako obulabe? I can't even control my little brother when he misbehaves, ## Sisobola wadde kukugira kato kange bwe kasobya. We do not need to control others, ## Tetwetaaga kufuga balala, but we can learn to influence them, ## naye tusobola okuyiga okukyusa endowooza zaabwe. What we decide to do or not to do ## Ebyo bye tusalawo okukola oba obutakola according to our free will has consequences. ## okusinziira ku kwesalirawo kwaffe bijja ttujuutuka. What are the consequences ## Biki ebinnattujuutuka of the following actions or inactions for you and for others? ## ku bikolebwa oba ebitakolebwa bino wammanga eri ggwe n’eri abalala? Praying ## Okusaba Not praying ## Obutasaba Teaching your friends about the Faith ## Okuyigiriza mikwano gyo ebikwata ku Nzikkiriza Not teaching your friends about the Faith ## Obutayigiriza mikwano gyo ebikwata ku Nzikkiriza Obeying your parents ## Okugondera bazadde bo Disobeying your parents ## Obutagondera bazadde bo Returning the money you have borrowed from a friend ## Okuzaayo sente ze weewoze ku mukwano gwo Not returning it ## Obutazizaayo We can influence others positively ## Tusobola okukozesa amaanyi gaffe okukyusa endowooza z’abantu through our words and deeds. ## nga tuyita mu bigambo n’ebikolwa. What would you do ## Wandikoze ki or say in the following situations; ## oba wandiyogedde ki mu mbeera zino wammanga: You discover that your younger sibling has lied. ## Ozuula nti muto wo alimbye. Your friend is sad ## Mukwano gwo munakuwavu because he has no money ## kubanga talina ssente to buy something he likes. ## okugula ekintu ky'ayagala. The students in your class ## Abayizi mu kibiina kyo keep throwing litter on the floor. ## balina omuze ogw’okusuula ebisasiro wansi. Someone in your junior youth group ## Omuvubuka omu mu kibiina kyammwe eky’abavubuka abato has hurt the feelings of another member. ## anyiizizza omu ku banne. Let us see what we have understood up to now, ## Katulabe bye tutegedde okutuusa kati. We have the free will to do good or bad ## Tulina okwesalirawo okukola ekirungi oba ekibi and we have to use our volition to lead a noble life. ## era tulina okukozesa eddembe ly’okwagala kwaffe okweyisa mu bulamu obw’ekitiibwa. But to have free will does not mean we can control everything. ## Naye okubeera n’okwesalirawo tekitegeeza nti tusobola okufuga buli kimu. There are things that are bound ## Waliwo ebintu bingi ebiyinza to happen to us over which we have little control. ## okututuukako bye tutalinako buyinza. Now I want to ask you about another idea. ## Kaakano njagala kubabuuza ku kirowoozo ekirala. What do you understand by the word 'fate'? ## Kiki kye mutegeera ku kigambo ‘okugerekera’? I think fate is ## Ndowooza okugerekerwa kye something we cannot change no matter what ## kintu kye tutasobola kukyusa kakibe ki. That sounds good. ## Ekyo kitegerekese bulungi. Can anyone give a few examples? ##Waliwo ayinza okutuwaayo eby’obulabirako ebitonotono? We do not choose our parents, ## Tetulonda bazadde baffe. We cannot choose where we are born, ## Tetusobola kulonda wa we tuzaalibwa. My parents keep saying ## Bazadde bange batera okugamba nti, it is my fate to become a great pianist, ## kyangerekerwa okubeera omukubi w’ennanga omwatikkirivu. But you don't have to. ## Naye si ky’olina okukola kyokka. You can choose to become something else ## Oyinza okulondawo okukola ekintu ekirala kyonna. That is right. ## Ekyo kituufu. Fate is not that simple, ## Okugerekerwa tekuba kwangu nga bw’owulira. There is a good analogy that explains how fate works. ## Waliwo engeri endala gye tusobola okunnyonnyolamu okugerekebwa nga bwe kukola. Has any of you ever seen how a carpet is woven? ## Waliwo omu ku mmwe eyali alabye bwe baluka ekiwempe? There is a blank look on everyone's face, ## Buli omu n’atunula ng’atalina kyategedde. so Natalia continues: ## Natalia nayongerako nti: Well, there is a frame. ## Kale nno, waliwo omwango. On this frame, parallel strands of yarn are stretched tightly ## Ku mwango guno, ewuzi ezenkanankana zisibwa biba nga bazireeze from one end to the other. ## okuva ku ludda olumu okudda ku lulala. The weaver uses a variety of yarns of different colors ## Omulusi akozesa ewuzi eza langi ezenjawulo to weave through these strands and create a pattern. ## okuluka ng’aziyisa mu biba bino ne ziteekebwateekeba bulungi. One of the early believers heard 'Abdu'l-Bahá ## Omu ku bakkiriza ab’edda yawulira 'Abdu'l-Bahá saying that we are like weavers. ## ng’agamba nti, tulinga abalusi b’engoye. We have been given the frame and the strands. ## Tuweereddwa omwango n’ebiba. We have also been given the yarns to weave with, ## Nate era tuweereddwa ewuzi ey’okulukisa, which you could say ## ky’oyinza okugamba nti, are all the talents and powers ## by’ebitone n’amaanyi gonna we are born with. ## bye tuzaalibwa nabyo. This is our fate. ## Bino bye byatugerekerwa. But we choose the design ## Naye ne tulondawo omusono that is to be woven on the loom. ## ogulukibwa ku mwango. We have freedom over our actions. ## Tulina eddembe kw’ebyo bye tukola. Each action creates a small part of the pattern. ## Buli kye tukola kibeera kitundu eky’ekiba ekyo. The complete work is who we grow up to be. ## Omulimu omujjuvu gutuukirizibwa mu mbeera gye tunnabeeramu. Through free will and volition ## Mukwesalirawo n’okulondawo bye twagala we develop the powers and talents God has bestowed upon us. ## tukulaakulanya amaanyi n’ebitone Katonda bye yatuwa. God has given us different capacities. ## Katonda yatuwa obusobozi obw’enjawulo. Somebody may be good at biology, ## Omuntu omu ayinza okubeera omulungi mu kuyiga eby’obulamu by’ebisolo n’ebimeera while someone else may have a talent for music. ## ate ng’omuntu omulala ayinza okubeera n’ekitone mu kuyimba n’okukozesa ebivuga. But we all have been given what is necessary ## Naye fenna twaweebwa ekyo ekyetaagisa to develop as noble beings. ## okukula okuvaamu abantu ab’ekitiibwa. It is not correct, therefore, ## Noolwekyo, si kituufu, to blame fate for our shortcomings. ## kunenya eky’okugerekebwa olw’obunafu bwaffe. When we do that, ## Bwe tukola ekyo, we stop trying to improve ourselves. ## tulemwa okugezaako okwekulaakulanya. For each case below, ## Ku buli nsonga eri wammanga, select the thought that helps the individual ## londako ekirowoozo ekiyamba omuntu ssekinoomu to change his or her situation: ## okukyusa embeera ye. Someone gets sick often ## Emirundi mingi omuntu alwalalwala olw’okubeera because he usually eats unhealthy food. ## nga alya emmeere etali nnungi. He thinks: ## Naye alowooza nti: It is my fate to be weak and sickly. ## Nagerekerwa okubeera omunafu n’okulwalalwala. I should stop making excuses ## Nina okulekawo okwekwasa obunsongasonga, and change my eating habits. ## era nkyuse endya yange. Someone does not study, ## Omuntu agayalirira okusoma, so she performs poorly in her exams. ## n’akola bubi mu bigezo. I may not be the top student, ## Nyinza okubeera nga si nze muyizi asinga okukola obulungi, but with diligence I will improve. ## naye n’obunyiikivu nja kweyongera okukola obulungi. It is not my fate to succeed in school. ## Tekyangerekerwa okukola obulungi mu ssomero. Someone gets drunk each time he faces a difficulty. ## Omuntu anywa n’atamiira buli lw’atuukibwako ekizibu. When he is sober he thinks: ## Bw’abeera tannywedde alowooza nti: Life forces me to get drunk. ## Embeera y’empaliriza okutamiira. I can handle the problems in my life; ## Nsobola okukola ku bizibu ebiri mu bulamu bwange; I don't need alcohol. ## seetaaga mwenge. Someone is in the habit of criticizing her friends. ## Omuntu alina omuze ogw’okukolokota banne. So they avoid her. ## Bwebatyo bamwewala. No one likes me. ## Tewali n’omu anjagala. I should stop criticizing ## Nsaana okulekeraawo okukolokota and see the good in my friends. ## era ndabe ebirungi ebiri mu mikwano gyange. Someone cheats on an exam ## Omuntu abbira mu bigezo and gets caught. ## ne bamukwata. This is my luck. ## Kino kye kyangerekerwa. Others cheat and never get caught. ## Abalala babbira naye tebakwatibwa. How could I possibly do such a thing? ## Nsobola ntya okukola ekintu bwekityo? I am supposed to be adorned with the robe of honesty. ## Nsubirwa okuba nga nnaanikiddwa ekyambalo eky’obwesigwa Are we saying that it is no one's fate ## Olwo tugamba nti, tewali n’omu yagerekerwa to become a criminal? ## okufuuka omuzzi w’emisango? Of course not, ## Si bwekiri In the analogy I just used, ## mu ky’okulabirako kye nawadde nti every one can weave beautiful patterns ## buli omu asobola okuluka ebiba by’ayagala with the frame and the yarns they have been given. ## ku mwango ne wuzi zaabeera aweereddwa. Though different, ## Wadde tuli banjawulo, we all have the capacity ## fenna tulina obusobozi to grow up to be good. ## okubeera abantu abalungi nga tukuzze. Ivan agrees with all that is being said. ## Ivan akiriziganya n’ebyo byonna ebyogeddwa. Yet, something is bothering him ## Naye era, n’asigala nga alinamu akamulumulu mu mutima and he does not exactly know what it is. ## katasobola kutegeera. Then, all of a sudden he hears himself saying: ## Bwatyo, amangu ago yeewulira yennyini ng’agamba, "But this is all too hard." ## “Naye bino byonna bizibu nnyo.” No one quite understands what Ivan means. ## Tewali n’omu eyategeera Ivan kyategeeza. What is so hard? ## Kiki ekizibu ennyo? Making so much effort all the time ## okufuba ennyo buli kiseera to be strong, to be good, ## okubeera omunywevu, okubeera omulungi. You are right Ivan ## Oli mutuufu Ivan, says Natalia with a smile on her face. ## Natalia nga alina akamwenyumwenyu ku matama namugamba nti, But remember that God is aiding us all the time. ## naye jjukira nti Katonda atubeera buli kiseera. He never leaves us alone. ## Tatuleekerera. It is like a sailing boat; ## Kiringa eryato eriwanikibwako amatanga; the power to move comes from the wind ## amaanyi agalitambuza gava ku mpewo and not from the boat itself. ## naye si mu lyato lyennyini. But it is the captain who uses the wind ## Naye omugoba walyo yakozesa empewo eyo to take the boat to its destination. ## okulituusa gyerilaga. All power comes from God. ## Amaanyi gonna gava eri Katonda. Without His aid we are powerless. ## Awatali okubeera Kwe tubeera banafu. When we only look at ourselves, ## Bwe twetunuulira ffe ffennyini, all we see is weakness. ## buli kyetulaba bubeera bunafu bwereere. But when we turn to God ## Naye bwe twolekeza obwanga bwaffe eri Katonda and implore His aid and assistance, ## ne tumwegayirira Ye okutubeera n’obuyambi Bwe, we find the strength ## tufuuna amaanyi to do what is pleasing to Him. ## okukola ebyo ebimusanyusa Ye. The group is then divided into pairs ## Olwo ekibiinja kyawulwamu babiri babiri to memonze the following passages: ## okukwata obukusu ebitundu bino eby’ekyawandiikibwa wammanga: The incomparable Creator hath created ## Omutonzi atageraageranyizika yatonda all men from one same substance, ## abantu bonna okuva mu kintu kye kimu, and hath exalted their reality ## era n’agulumiza ennono yaabwe okubeera above the rest of His creatures. ## waggulu w’ebitonde Bye ebirala byonna. Success or failure, gain or loss, ## obuwanguzi oba okulemererwa, okugannyulwa oba okufiirizibwa, must, therefore, depend upon man's own exertions. ## [Noolwekyo,] biteekwa okwesigamizibwa ku kufuba kw’omuntu. The more he striveth, the greater will be his progress. ## Gyaakoma okulafuubana, gyaneeyongera okugenda mu maaso. O my God! O my God! ## Ayi Katonda wange! Ayi Katonda wange! Thou seest me in my lowliness and weakness, ## Ggwe Ondaba mu bwetowaze n’obunafu bwange, occupied with the greatest undertaking, ## neemalidde ku mulimu guno ogusinga obukulu, determined to raise Thy word among the masses ## nga ndi mumalirivu okuyimusa ekigambo Kyo mu nkuyanja y’abantu and to spread Thy teachings among Thy peoples. ## era n’okubunyiisa enjigiriza Zo wakati mu bantu Bo. How can I succeed unless Thou assist me ## Nnyinza ntya okuwangula okuggyako nga Ggwe onyambye with the breath of the Holy Spirit, ## n’omukka ogw’Omwoyo Omutukuvu, help me to triumph by the hosts of Thy glorious kingdom, ## nga onyambye n’amaggye Go ag’omu bwakabaka obw’ekitiibwa okuwangula, and shower upon me Thy confirmations, ## era nga onjiyeko okukakasibwa Kwo, which alone can change a gnat into an eagle, ## byokka ebyo nga byebiyinza okufuula essami e mpungu, a drop of water into rivers and seas, ## ettondo ly’amazzi emigga ne nnyanja ez’omunnyu, and an atom into lights and suns? ## era ne kakolabulamu ettabaaza n’enjuba? O my Lord! ## Ayi Mukama wange! Assist me with Thy triumphant and effective might, ## Nyamba n’amaanyi Go ag’obuwanguzi era amatuukirivu, so that my tongue may utter Thy praises and attributes ## bwentyo olulimi lwange lusobole okwatula amatendo Go n’obubonero Bwo among all people ## wakati mu bantu bonna and my soul overflow with the wine of Thy love and knowledge. ## n’omwoyo gwange gubiimbe n’enviinyo y’okwagala Kwo n’amagezi. Thou art the Omnipotent ## Ggwe Owamaanyi-gonna and the Doer of whatsoever Thou willest. ## era Okola ekyo kyonna ky’Oyagala. My God, my Adored One, my King, my desire! ## Katonda wange, Omusuutwa wange, Kabaka wange, Okwegomba kwange! What tongue can voice my thanks to Thee? ## Lulimi ki oluyinza okwatula okwebaza kwange eri Ggwe? I was heedless, Thou didst awaken me. ## Nnali mulagajjavu, Ggwe n’onzuukusa. I had turned back from Thee, ## Nnali nkwesambye, Thou didst graciously aid me to turn towards Thee. ## Ggwe n’ombeera ku lw’ekisa Kyo okudda eri Ggwe. I was as one dead, ## Nnali nga afudde, Thou didst quicken me with the water of life. ## Ggwe n’onziza engulu n’amazzi ag'obulamu. I was withered, ## Nnali mpotose, Thou didst revive me with the heavenly stream of Thine utterance ## Ggwe n’onziza buggya n’ensulo ez’ekigambo Kyo which hath flowed forth from the Pen of the All-Merciful. ## ekikulukuse okuva mu Kafumu ak’Oyo Omusaasizi wa Byonna. O Divine Providence! ## Ayi Lugaba Omutukuvu! All existence is begotten by Thy bounty; ## Ekisa Kyo y’ensibuko y’ebitonde byonna; deprive it not of the waters of Thy generosity, ## tobimma ensulo y’obugabirizi Bwo, neither do Thou withhold it from the ocean of Thy mercy. ## wadde okubikugira okulega ku ssemayanja w’obusaasizi Bwo. I beseech Thee to aid and assist me at all times ## Nkwegayirira Ggwe okumbeera n’okunnyamba ebiseera byonna and under all conditions, ## era ne mu mbeera zonna, and seek from the heaven of Thy grace Thine ancient favor. ## era nnoonye okuva mu ggulu ery'ekisa Kyo okwagala Kwo okweddanedda. Thou art, in truth, the Lord of bounty, ## Mu mazima, Ggwe Mukama w'ebirabo, and the Sovereign of the kingdom of eternity. ## era Kabaka w'obwakabaka obutaggwaawo. The youth have traveled several hours ## Abavubuka batambudde okumala ssaawa eziwerako from the city of Ulan Ude ## okuva mu kibuga ky’e Ulan Ude through stretches of forest ## nga bayita mu bibira to a campsite near Lake Baikal ## okutuuka we bagenda okukuba ensisira okumpi ne Nyanja Baikal where they will spend the weekend. ## eno gye baagenda okumala enkomerero ya wiiki. They have set up their tents, ## Basimbye weema zaabwe, cooked a delicious meal on open fire, ## era ne bafumba eby’okulya ebiwoomu ku kyoto wa bweru, and are now sitting around eating their dinner ## kaakano batudde okwetooloola ekyoto balya eky’eggulo and conversing leisurely. ## nga bwe banyumya mu ddembe. "Let us sit quietly for a while," ## Katusirikirire okumala akaseera says Natalia Petrovna once dinner is over, ## Bwe baamala okulya ekyeggulo Natalia Petrovna nabagamba nti, "and try to be aware of the world around us. ## tulowooze ku ebyo ebitwetoolodde. Listen to every sound and look in every direction. ## Muwulirize ku buli ddoboozi era mutunule ku buli ludda. Then, after some time, she asks: ## Oluvannyuma lw’ekiseera, nababuuza nti: Can you say something ## Muyinza okwogera about what you heard, saw, felt or thought? ## ku bye muwulidde, bye mulabye, ne bye mulowoozezzako? I heard the sounds of the crickets, ## Nawulidde amaloboozi ag’obunnyenyenkule. I felt the coolness of the breeze blowing from the lake, ## Nawulidde akawewo akaweweevu nga kava ku nnyanja. I thought about how beautiful the moon is tonight, ## Nalowoozezza ku mwezi nga bwe gufaananye obulungi ekiro kino pointing to the full moon. ## eno nga bw'asonga ku mwezi ogw’eggabogabo. Igor is also looking at the sky: ## Igor naye nga atunula mu bwengula ayogera nti, I tried to find the brightest star." ## Nagezezzaako okulaba emunyeenye esinga okwakaayakana. The universe seemed so large and I felt so small, ## Olubaale lwandabikidde nga lunene nnyo era nze ne mpulira ndi mutono nnyo. Let me ask you something. ## Kambabuuze kino. Can the things you mentioned ## Ebintu byemwogeddeko the tiny cricket, the breeze, ## akanyenyenkule akatono, akawewo akaweweevu, the bright moon, the countless stars ## omwezi ogwaka ennyo, emunyeenye ezitabalika do what you just did? ## zisobola okukola bye muva okukola kati? Do they know they exist? ## Nazo zimanyi nti we ziri? No. None of them can think, ## Nedda tewali na kimu ku ebyo ekisobola okulowooza. The moon does not know it is shining, ## Omwezi tegumanyi nti gwaka. The lake does not know that it has fish in it, ## Ennyanja temanyi nti erinamu eby’ennyanja. The crickets just make their sounds, ## Obunnyenyenkule bumala galeekana. The stars cannot know how huge they are, ## Emunyeenye teziyinza kumanya obwaguuga bwazo. So, you see, Anton, ## Kale nno, olaba, Anton, you may be small compared to the universe, ## oyinza okubeera nga oli mutono bwe wegeraageranya n’olubaale, but God has given you a special gift ## naye Katonda yakuwa ekirabo ekyenjawulo which no other creature has. ## ekitali ku bitonde ebirala byonna. God has given you ## Katonda akuwadde the gift of the intellect and understanding, ## ekirabo eky’okulowooza n’okutegeera. and hands to Vera a quotation, ## Era n’akwaasa Vera ekyawandiikibwa, which she reads by the dim light of the fire: ## kye yasomera ku muliro ogwali guzimeera: Intellect is, in truth, the most precious gift ## Amagezi, mu mazima, ky’ekirabo ekyomuwendo ennyo bestowed upon man by the Divine Bounty. ## ekyaweebwa omuntu olw’Ekisa kya Katonda. Man alone, among created beings, has this wonderful power. ## Omuntu yekka, mu bintu byonna ebitonde, yalina amaanyi gano ag’ekitalo. Make a list often things you do everyday. ## Kola olukalala lw’ebintu kkumi by’okola buli lunaku For which do you use the power of intellect? How? ## Ku bino biruwa by’okozesako amaanyi g’amagezi? Otya? I have another question, ## Nnina ekibuuzo ekirala, continues Natalia Petrovna. ## Nate Natalya Petrovna nayongerako nti, The sun, the wind, the earth, ## enjuba, empewo, ensi and the other billions of things in nature, ## n’ebintu ebirala ebitabalika mu butonde, can any of them refuse to do ## waliwo ekimu ku bino ekiyinza okugaana okukola what nature has set for them? ## ekyo ekyakitonderwa? Can the sun decide not to give light? ## Enjuba eyinza okusalawo okugaana okwaka? Can the wind decide not to blow? ## Empewo eyinza okusalawo obutakunta? Can a plant decide not to grow ## Ekimera kiyinza okusalawo okugaana okukula or a mosquito not to bite?" ## oba ensiri obutaluma? Of course not, ## Nedda tekisoboka. But look at us, ## Naye tutunuulire, We use the laws of nature ## tukozesa amateeka ag’obutonde to free ourselves from the limitations of the physical world. ## okwetaguluza ku miziziko gy’ensi eno ey’omubiri. In the night we can have light ## Ekiro tusobola okubeera n’ekitangaala because we understand the laws of electricity. ## kubanga tutegeera amateeka g’amasanyalaze. Nature did not give us wings, ## Mu butonde tetwafuna biwaawaatiro, so we figure out how to fly in planes. ## bwetutyo ne tuyiiya engeri y’okubuukira mu nnyonyi. Our eyes can only see so far, ## Amaaso gaffe galiko we gakoma okulaba, but we make telescopes to look at distant planets. ## naye twakola ebyuma ebitaangaaza ebitulengeza ensi ezewala. How do we do this? ## Kino tukikola tutya? We are curious. ## Twagala kumanya. We ask questions and find answers, ## Tubuuza ebibuuzo era ne tufuna okuddibwamu. We discover how nature works ## Tuzuula engeri obutonde gye bukolamu by using our intellect, ## nga tukozesa amagezi gaffe. True, it is the power of intellect ## Kituufu, ge maanyi g’amagezi that enables us to do all these things. ## agatusobozesa okukola ebintu bino byonna. 'Abdu'l-Bahá says that ## 'Abdu'l-Bahá agamba nti God has placed within us a love for reality. ## Katonda yatuteekamu okwagala okunoonya amazima. If it were not for this love, ## Singa tekwali lwa kwagala kuno, humanity would have made no discoveries. ## omuntu teyandisobodde kuvumbula. We would still be captives of nature, ## Twandibadde tukyali bawambe ba butonde, as primitive man was millions of years ago, ## nga omuntu ow’edda ennyo bweyali emyaka obukadde n’obukadde eziyise. But not everyone makes discoveries, ## Naye si buli muntu nti asobola okukola obuvumbuzi. Igor points out. ## Igor n’akilambika nti, I don't think I can ever discover anything ## Sirowooza nti nyinza okuvumbula ekintu as important as electricity. ## eky’omugaso nga amasanyalaze. Perhaps, ## Oba oli awo. But you are able ## Naye osobola to understand the laws of nature ## okutegeera amateeka g’obutonde when someone explains them to you, ## omuntu bw’agakunnyonnyola, which is what scientists do. ## bannassayansi bwe batyo bwe bakola. They figure out how nature works ## Banoonyereza engeri obutonde gye bukolamu and then explain it to the rest of us. ## olwo ne babitunnyonnyola ffena abalala. Once we learn the laws of nature, ## Bwetuyiga amateeka g’obutonde, we apply them to our lives ## ne tugassa mu nkola mu bulamu bwaffe and in this way we each contribute ## obwa bulijjo era mu ngeri eno buli omu kuffe abeera yennyigira mu kugenda to the progress of humanity. ## mu maaso okw’abantu bonna. So, you may not each make a great scientific discovery, ## Bwe mutyo, temuyinza buli omu okubaako ekyamaanyi ky’avumbula mu byassaayansi, but you can learn from science ## naye musobola okuyigira ku ssaayansi and use its fruits. ## era n’okukozesa ebibala byayo. Science belongs to humanity. ## Ssaayansi w’abantu bonna. It belongs to all of us. ## Waffe fenna. She then asks Nadya to read: ## Olwo n'asaba Nadya asome: Science is the first emanation from God toward man. ## Ssaayansi ye yasooka okuva eri Katonda n’ejja eri omuntu. All created beings embody the potentiality of material perfection, ## Ebintu byonna ebitonde birina amaanyi agatuukiridde mu bintu eby’ensi, but the power of intellectual investigation ## naye amaanyi ag’amagezi g’okunonnyereza and scientific acquisition ## n’okutegeera ebyassaayansi is a higher virtue specialized to man alone. ## ekitone ekyawaggulu ennyo eky’enjawulo nga kyaweebwa muntu yekka. Other beings and organisms are deprived ## Ebitonde ebirala n’obuwuka tebyaweebwa of this potentiality and attainment. ## amaanyi gano n’obuwanguzi. God has created or deposited this love of reality in man. ## Katonda yatonda oba n’assa okwagaala kuno okw’amazima mu muntu. What are some of the things that humanity has had to figure out ## Bintu ki ebimu omuntu bye yalina okutetenkanya in order to do the following? ## asobole okukola bino wammanga? Read at night ## Okusoma ekiro See small creatures like bacteria ## Okulaba obuntu obusirikitu ennyo ng’obuwuka See far away stars ## Okulaba emmunyeenye eziri ewala Travel faster and faster ## Okutambula amaangu ennyo Send messages to far away places ## Okuwereza obubaka mu bifo eby’ewala Talk to someone in another city ## Okwogera n’omuntu ali mu kibuga ekirala Natalia asks Lida and Vadik to read the quotation again ## Natalya nasaba Lida ne Vadik okusoma ekyawandiikibwa nate so that the group can reflect well on its meaning. ## bwebatyo ab’ekibiina basobole okwefumiitiriza obulungi ku makulu gakyo. I am sure want to be a scientist. ## Nkakasa nga njagala kubeera munnassaayansi. I am going to read every book ## Ŋŋenda kusoma buli kitabo kyonna there is about science, ## ekiriwo ekikwata ku ssaayansi. Science is a very big field, ## Ssaayansi mugazi nnyo. There are many branches of it. ## Alina amatabi mangi. No one can know all of it. ## Tewali asobola kumumanya yenna. And besides, ## Era nga oggyeko ebyo, there is more to becoming a scientist than learning ## waliwo bingi ebikufuula munnassaayansi okusinga okuyiga what others have discovered. ## ebyo abalala byebamaze okuvumbula The most important thing is ## Ekintu ekisingira ddala obukulu to develop those powers of the mind ## kwe kulaakulanya amaanyi g’obwongo that a scientist needs most. ## ago munnassaayansi gasingira ddala okwetaaga. For example, ## Eky’okulabirako, you must develop the power of observation. ## oteekwa okukulaakulanya amaanyi ag’okwekenneenya. Observation is different from just looking at things. ## Okwekenneenya kwawukana ku kumala gatunuulira obutunulizi ebintu. Our minds are not cameras that just take pictures of things. ## Mmeeme zaffe si kamera ezimala gakuba bintu kifaananyi. A scientist is always asking questions: ## Omunnassaayansi buli kiseera abeera abuuza ebibuuzo: What is happening here? ## Kiki ekituusewo wano? How is it happening? ## Kyatuusewo mu ngeri ki? To observe, you use your physical eyes, ## Okwekenneenya okukozesa amaaso go, but you also look with the eye of your mind. ## naye ate era olaba n’amaaso ag’emmeme yo. How do we see with the eye of our mind? ## Tulaba tutya n’eriiso ery’emmeeme zaffe? Let me answer your question ## Ka nkuddemu by telling you about something we all know today ## nga nkunyumiza ku kintu ffenna kyetumanyi ennaku zino but what it took humanity thousands of years to discover. ## naye nga kyatwalira omuntu emyaka enkumi n’enkumi okuvumbula. For the longest time people believed that ## Okumala ekiseera ekiwanvu ddala abantu balowoozanga nti some living organisms arose by themselves ## obuntu obulamu bwameruka bwokka from things that were not alive. ## okuva mu bintu ebyo ebitalimu bulamu. This idea is known as the spontaneous generation of life. ## Ekirowoozo kino kimanyiddwa nga ensibuko y’obulamu okuva mu bintu ebitaliwo. Think about a piece of meat, for example, ## Lowooza ku kifi ky’ennyama, nga eky’okulabirako, that is left out to rot. ## erekeddwa awo wa bweru okuvunda. If you just watch it with your physical eyes, ## Singa ogyekkaanya bw’ekkaanya n’amaaso go, you will see that after a while ## ojja kulaba nti akaseera nga kayiseewo maggots appear in the meat. ## ennyama eyo evaamu envunyu. Since you would not be able to see ## Engeri gyotasobola kulaba where these maggots came from, ## envunyu ezo gyezivudde, you would have to conclude that ## ojja kufundikira ng’olowooza nti they somehow arise from decaying meat itself. ## zimeruseewo okuva mu nnyama mwennyini evunda. The piece of meat is not alive, ## Ekifi ky’ennyama ekyo si kiramu, but life seems to arise spontaneously from it. ## naye obulamu bulabika nga obuvudde mu kyo. For centuries, people believed that ## Okumala ebyasa n’ebyasa, abantu baali bamanyi nti this is what was happening. ## bwe bityo bwe bibeera. Then, in the middle of the seventeenth century, ## Olwo, wakati w’ekyasa eky’ekkumi n’omusanvu, an Italian doctor by the name of Francesco Redi ## omusawo Omuyitale eyayitibwanga Francesco Redi, questioned this belief. ## yawakanya endowooza eno. He began to observe with a searching mind ## Yatandika okwekenneenya n’emmeeme enoonyereza and reached the conclusion that ## era nafundikira nti the maggots came from the eggs ## envunyu zaavanga mu magi laid by flies on the rotting meat. ## agabeera gabikiddwa ensowera ku nnyama eno evunda. He could not see the eggs, ## Yali tasobola kulaba magi gano, so to find out whether he was right or wrong, ## bwatyo okukakasa nti yali mutuufu oba mukyaamu, he put pieces of meat into a number of flasks, ## yaasa ebifi by’ennyama mu fulasika ez’enjawulo, some of which were open to the air and others covered. ## ezimu nga si nsanikire endala nga nsanikireko. The maggots appeared only on the meat ## Envunyu zalabika mu nnyama eyo yokka in the open flasks which flies could get into. ## eyali mu fulasika ezitali nsanikire ensowera mwe zaasobola okuyingira. Mr. Redi must have been a great scientist. ## Omwami Redi ateekwa okubeera nga yali mukugu mu byassaayansi. How come we have never heard of him before? ## Kiyinzika kitya okubeera nga tetumuwulira nga ko? Natalia looks at them expectantly. ## Natalia nabatunuulira nga alina byabasubiramu, Well, actually people did not give up the idea ## Kale no, mu butuufu abantu tebalekera awo endowooza that life could arise through spontaneous generation from non-living matter. ## nti obulamu bwaava mu butaliwo okuva mu bintu ebitalina bulamu. Only after about two hundred years, ## Waamala kuyitawo emyaka bikkumi bibiri byokka, did the experiments of a French scientist ## olwo no okunoonyereza kw’omunnassaayansi Omufalansa convince everyone that life only came from life. ## ne kumatiza buli omu nti obulamu bwaava mu bintu ebiramu byokka. You must have heard about him. ## Muteekwa okubeera nga mwaali mumuwuliddeko. That was Louis Pasteur wasn't it? ## Oyo yali Louis Pasteur, ssi bwekiri? "You are correct, ## Oli mutuufu. I hope this example has shown you ## Nsubiira eky’okulabirako kino kibalaze how much thinking goes into a good observation. ## engeri gye tulina okulowooza ennyo mu kwekeneenya okulungi. If we observe carefully the events around us, ## Singa twekeneenya n’obwegendereza ebintu ebibaawo okutwetoloola, we will see signs that give us clues ## tujja kulaba obubonero obutulaga obukakafu about the condition of individuals and groups of people. ## obukwata ku mbeera za abantu sekinoomu n’abantu abali mu bibinja. What signs would lead you to believe that ## Bubonero ki obujja okukkirizisa nti you are seeing a young person who is: ## olaba omuvubuka: Courteous? ## Ow’empisa ennungi? Tolerant? ## Omugumiikiriza? Wise? ## Omugezi? What signs would lead you to believe that ## Bubonero ki obunakukkirizisa nti you are seeing a family that is united? ## abantu boolaba mu maka balina obumu? What signs would you observe in a society that is: ## Bubonero ki bwoyinza okwekkeneenya mu bantu abali awamu obulaga nti: Just? ## Beenkanya? Harmonious? ## Bakwatagana? Progressing? ## Bagenda mu maaso? So, in order to become a scientist, ## Okubeera omunnassaayansi I should learn to make a lot of observations, ## nsaana okuyiga okwekkeneenya ennyo ebintu. concludes Boris. ## Bwatyo Boris nakomekkereza nti, Careful observations,## Okwekkeneenya n’obwegendereza, and clever experiments. ## n’okugezesa ebintu mu magezi. You see, as you observe nature and ask questions, ## Olaba, bwe wekkeneenya ebitonde n’obuuza ebibuuzo, ideas come to you. ## ebirowoozo bikujjira. You think of some explanation ## Olowooza ku kunnyonnyolwa okumu as to how and why things happen the way they do. ## ku ngeri era lwaki ebintu byeyisa bwebityo. In order to check your ideas ## Okusobola okukakasa ebirowoozo byo you need to carry out experiments. ## kikwetaagisa okugezesa ebintu. That is what Redi did. ## Kino, Redi kyeyakola. He didn't just keep looking at rotting meat. ## Teyatunuulira butunulizi nnyama evunda kyokka. He arranged things so that some pieces of meat ## Yategeka ebintu okulaba nga ebifi by’ennyama ebimu would be visited by flies and others would not. ## bituukibwako ensowera ate nga ebirala tebituukibwako. Why didn't people give up ## Lwaki abantu tebalekeraawo the idea of spontaneous generation of life ## kulowooza nti obulamu buva mu bintu ebitaliwo after his experiment? ## ng’amaze okuzuula ekituufu? Maybe because he only showed where maggots come from. ## Oboolyawo lwa kubanga yalaga envunyu gyezali ziva. All sorts of things appear on rotten things out of nowhere, ## Ebintu ebyenjawulo birabikira ku bintu ebivuunze nga tebimanyiddwa gye biva. That sounds likely, ## Ekyo kiwulikika nga bwekiri. When the microscope was invented some time later, ## Galubindi ezizimubulukusa bwe zavumbulwa oluvannyumako, people learned about many very small living organisms ## abantu baayiga ku bikwata ku buntu obulamu obutono ennyo bungi they called microbes, ## bwe baayita ‘microbes’ and in many cases, ## era mu ngeri nnyingi buno it looked like these were created spontaneously. ## bwalabika nga obwatondebwa okuva mu butaliwo. That is when good old Pasteur came along. Right? ## Awo muzeeyi Pasteur weyagyira. Kituufu? Well. Not yet. ## Osanga. Wabula kyali tekinnaba. In 1745, an English clergyman had an interesting idea. ## Mu mwaka 1745, omusajja omungereza eyali kabona we kkanisa yalina ekirowoozo ekirungi. Everyone knew that if they boiled something, ## Buli omu yali akimanyi nti bwe bafumba ekintu, the microbes usually died. ## obuwuka obusirikitu obutasola kulabibwa n’amaaso bufa. So he did another experiment. ## Bwatyo nakola okugezesa okulala. He boiled some chicken broth ## Yafumba ssupu w’enkoko and then let it cool in a closed flask. ## n’amuleka mu ccupa eyali esanikiddwa obulungi okuwola. After some time, ## Naye bwe wayitawo akaseera, more microbes appeared. ## obuwuka bweyongera obungi. He thought this proved ## Yalowooza nti kino kikakasa there had been spontaneous generation of life. ## wabaddeyo obuwuka obulala obulabise okuva mu butaliwo. Then came Pasteur, ## Olwo Pasteur n’alyoka ajja. No, some years later, ## Nedda, oluvannyuma ng’emyaka giyiseewo, an Italian priest thought ## kabona Omuyitale naalowooza nti microbes might have been in the air left in the flask, ## obuwuka obwo bwali mu mpewo esigadde mu ccupa, which got into the broth after it was boiled. ## obwayingira mu ssupu ng’emaze okufumbibwa n’okuwola. So he did the same experiment, ## Bwatyo n’akola okugezesa kwe kumu, but he drew all the air out of the flask ## naye yajjamu empewo yonna okuva mu ccupa and sealed it. ## n’alyoka agisanikira. What do you think happened? ## Olowooza kiki ekyatuukawo? This time, no small living organisms showed up in the broth. ## Ku luno, tewali buwuka bwonna bwalabibwa mu ssupu. That should have finished the argument, ## Ekyo kyandimazewo akakunkuna konna. Not really, people said ## Si bwe kyali abantu baagamba nti the microbes needed air ## obuwaka buno bwaali bwetaaga empewo to come to life ## okubeera obulamu, and that was the reason they hadn't appeared. ## era eyo y'ensonga lwaki tebwalabika mu ccupa esanikiddwa. It sounds like the argument could go on for ever and ever, ## Kirabika enkaayana eno eyinza obutagwa. No, because in 1859, ## Nedda, kubanga mu 1859, young Louis Pasteur thought of a more clever experiment. ## omuvubuka Louis Pasteur ye yalowooza ku kugezesa okwali kutegekeddwa mu ngeri esingako. He figured out that the microbes in the air ## Yateebereza nti obuwuka mu mpewo were probably carried by small particles like dust. ## bwatambuzibwanga obuntu obutono gamba nga enfuufu. So, he boiled broth in a flask, ## Bwatyo, n’afumba ssupu mu ccupa, and then heated the neck of the flask ## olwo n’abugumya omumwa gw’eccupa eyo until it became soft enough ## okutuusa nga gugonze ekimala to be bent into the shape of an S. ## okusobola okweweta mu ndabika ya S. Air could actually reach the broth, ## Empewo nga esobola okutuuka obulungi mu ssupu, but when it passed through the curve in the neck of the flask, ## naye bwe yayitanga mu bimpukumpuku ebyali mu bulago bw’eccupa, dust and other particles would settle there. ## enfuufu n’obuntu obulala bwasigalanga omwo. To his delight, in this experiment, ## Essanyu lyajula okumutta kubanga, mu kugezesa kuno, no small organisms grew in the broth. ## teri buwuka busirikitu bwalabibwa mu ssupu. When he tilted the flask ## Bwe yawunzika eccupa so that the broth could touch the particles collected in the neck, ## ssupu asobole okutuuka ku nfuufu n’obuntu obulala obwasigadde ku bulago bw’eccupa, the broth became full of living organisms after a short while. ## ssupu yajjulamu obuwuka obusirikitu oluvannyuma lw’ebbanga ettono. So in one experiment, ## Bwatyo mu kugezesa kumu, and that tiny living organisms were everywhere ## era nti obuntu obulamu obusirikitu bwaali buli wamu he showed that life came from life, ## n’alaga nti obulamu buva mu bulamu, and even floated in the air. ## era bujudde ne mu mpewo. Experiments are necessary in science ## Okugezesa ebintu kya mugaso mu ssaayansi in order to prove or disprove an idea. ## okusobola okukakasa oba okugaana ekirowoozo. However, there are many things related to our lives ## Naye nno, waliwo ebintu bingi ebikwata ku bulamu bwaffe with which we cannot experiment. ## bye tutayinza kugezesa. Discuss what would be the consequences of the following: ## Mukubaganye ebirowoozo ku biyinza okubaawo bwe tugezesa bino wammanga: Experimenting with alcohol and drugs ## Okugezesa omwenge n’ebiragalalagala to see how they make us feel ## okulaba bwe tuwulira nga tubikozesezza Behaving poorly towards a friend ## Okweyisa obubi eri munno in order to test the friendship ## ogezese omukwano gwammwe Hurting an animal in order ## Okulumya ekisolo to see its reaction ## olabe kye kinnakola Lying to find out ## Okulimba okulaba if we can get away with it ## oba kisobola okutuyamba Experimenting with unchaste behavior ## Okugezesa empisa ey’obugwennyufu The evening conversation comes to an end. ## Emboozi gye baali banyumya akawungeezi ako we yakoma. Before the youth go to their tents, ## Abavubuka nga tebannagenda mu weema zaabwe, Natalia Petrovna informs them that the next morning, ## Natalia Petrovna n’abagamba nti, after dawn prayers and breakfast, ## enkeera ng’okusaba kw’oku makya n’ekyenkya nga biwedde, they will go on a nature walk ## bajja kutambula balabe obutonde and make careful observations. ## era beetegereze n’obwegendereza. To end the lesson, ## Okukomekkereza essomo, they memorize the following quotations: ## baakwata bukusu ebyawandiikibwa bino wammanga: All blessings are divine in origin ## Emikisa gyonna giva eri Katonda but none can be compared with this power ## naye teri na gumu gusobola kugeraageranyizibwa n’amaanyi gano of intellectual investigation and research ## ag’okunoonyereza n’okwekenennya which is an eternal gift ## mu ngeri y’ekikugu nga kye kirabo eky’olubeerera producing fruits of unending delight. ## ekivaamu ebibala eby’essanyu eritagwaawo. Man is ever partaking of these fruits. ## Omuntu bulijjo anaalyanga ku bibala bino. All other blessings are temporary; ## Emikisa emirala gyonna gya luwunguko; this is an everlasting possession. ## kino kya bwannannyini obw’olubeerera. Therefore you should put forward your most earnest efforts ## Noolwekyo musaanidde okufuba ennyo okussa amaanyi gammwe agasingira ddala toward the acquisition of sciences and arts. ## mu ssayaansi n’ebyokuyiga eby’ekikugu. The greater your attainment, ## Gye mweyongera okukituukiriza, the higher your standard in the divine purpose. ## gye mweyongera okutuuka ku mutendera ogwa waggulu mu kigendererwa ekitukuvu. The man of science is perceiving ## Omuntu owa ssaayansi y’aweebwa obusobozi bw’okutegeera and endowed with vision ## n’okulaba whereas he who is ignorant and neglectful ## sso nga ate ye omubuya era atafaayo of this development is blind ## kubikolerera abeera muzibe w’amaaso. The investigating mind is attentive, alive; ## Emmeeme enonnyereza essayo omwoyo, erimu obulamu; the mind callous and indifferent is deaf and dead.## emmeeme etalumirirwa era engayaavu ebeera kigala era nga nfu. Progress is of two kinds: material and spiritual. ## Enkulaakulana ya mirundi ebbiri: ey’ebyomubiri n’eyebyomwoyo. The former is attained through observation of the surrounding existence ## Esoose etuukibwako nga tuyita mu kwekkeneenya ebyo ebibeera bitwetoloodde and constitutes the foundation of civilization. ## era okwesigamizibwa omusingi ogw’obugunjufu. Spiritual progress is through the breaths of the Holy Spirit ## Enkulaakulana y’omwoyo efunibwa nga tuyita mu mukka ogw’Omwoyo Omutukuvu and is the awakening of the conscious soul of man ## era kwe kugolokosa omwoyo gw’omuntu ogulimu obulamu to perceive the reality of Divinity. ## okutegeera okubeerawo kw’Obutukuvu. The members of the group are scattered along the shore of the lake, ## Abaali mu kibiina kino batalaaga olubalama lw’ennyanja, observing things, collecting things, ## nga beekenneenya ebintu, nga bakuŋŋaanya ebintu, and taking notes of what they have seen. ## era nga bawandiika bye balabye. Elena spends most of the morning ## Elena yamala ekiseera ekisinga ku nkya looking at the movement of a large group of ants. ## ng’atunuulira ekibinja ekinene eky’ebiwuka nga bwe bitambula. After lunch, ## Oluvannyuma lw’ekyemisana, everyone reports on the activities of the morning. ## buli omu yayanjula kyeyakoze mu saawa ez’enkya. Natalia Petrovna, notices that Elena knows a lot ## Nataliia Peetrovna, yalaba nga Elena amannyi bingi about ants from her studies at school, ## ku biwuka /[enkolooto] okuva kweebyo bye yaali ayize mu ssomero, and asks her to speak to the group on the subject. ## era bwatyo namusaba okutegeeza banne ebifa ku biwuka bino. The body of an ant has three main parts: ## Omubiri gw’ekiwuka gulina ebitundu ebikulu bisatu: the head, the trunk, and the rear, ## omutwe, ekifuba, n’ekye mabega mu lufuutifuuti which is called the metasoma, ## ekiyitibwa “metasoma” begins Elena with enthusiasm. ## Bwatyo Elena natandika okunnyonnyola n’essanyu eringi ku biwuka, The head of an ant has jaws, eyes, and antennae. ## Omutwe guliko emba, amaaso, n’obuswiriri. The eyes are built of many lenses ## Amaaso gakolebwa n’ebirawuli bingi and can detect the tiniest movement. ## era gasobola okulaba okwekyusa kw’akantu akatono ennyo nga katambula. With its antennae, ## Nga bikozesa obuswiriri, an ant can smell, touch, taste, and hear. ## bisobola okuwunnyiriza, okukwata ku bintu, okulegako, n’okuwulira. Ants communicate by touching each other with their antennae. ## Ebiwuka biwuliziganya nga bikwasaganyiza obuswiriri bwabyo. The trunk has six legs attached to it. ## Ekifuba kuliko amaggulu mukaaga agaakiteekebwako. The metasoma contains the stomach and the rectum. ## Ekitundu eky’emabega kuliko olubuto n’awayisa empitambi. Many species of ants have poison sacks ## Ebika by’ebiwuuka ebisinga bibeera n’ensawo ezirimu obusaggwa and stingers at the end of the metasoma ## n’obulimi obuluma wansi w’ekibuto for defending themselves. ## ebikiyamba okwerwanako. Ants do not have lungs. ## Ebiwuka tebirina mawuggwe. Oxygen enters and carbon dioxide leaves ## Omukka gwe biyingizza ne gwe bissa biguyisa through tiny holes that cover their bodies. ## mu butuli obutono obujjudde emibiri gyabyo. They have no blood vessels, either. ## Era tebirina misuwa egy’omusaayi. The heart is a long tube that pumps colorless blood ## Omutima lubeera luseke luwanvu olutwala omusaayi ogutalina langi from the head to the rear and then back to the head. ## oguva ku mutwe ne gukirira wansi ate era ne guddayo ku mutwe. Ants have been living on earth for more than 100 million years ## Ebiwuka bimaze ku nsi emyaka egisukka mu bukadde ekikkumi and can be found almost anywhere on the planet. ## era bisobola okusangibwa kumpi buli wamu ku nsi. They are social insects that live in colonies. ## Ebiwuka ebikolagana bibeera wamu mu bibinja. Some colonies consist of millions of ants. ## Ebibinja ebimu bibeeramu obukadde n’obukadde bw’ebiwuka. There are thousands of species of ants, ## Waliyo enkumi n’enkumi z’ebika by’ebiwuka eby’engeri ez’enjawulo, each consisting of three types: ## nga buli kibinja kirimu ebiwuka bya ngeri satu: the queen, the sterile female worker, and the male. ## nnaabakyala, ebikazi ebitazaala era ebikola emirimu, n’ebiwuka ebisajja. The male ants only serve one purpose, ## Ebisajja omulimu gwabyo guli gumu to mate with the queen. ## gwakulinyira nnaabakyala. Once the queen reaches adulthood and mates, ## Nnaabakyala bwakula natandika okubiika amagi, . she spends the rest of her life laying eggs. ## olwo obulamu bwe bwonna abumala abiika magi A colony may have one queen or many, ## Buli kibinja kibeera ne nabakyaala omu oba bangi, depending on the species. ## okusinziira ku kika ky’ekibinja. Ants build different types of homes. ## Ebiwuka bizimba amaka ag’engeri ez’enjawulo. Some species use small sticks mixed with dirt and sand ## Ebika ebimu bikozesa obuti obutonotono nga bigaseemu enfuufu n’omusenyu to make a small mound, ## okukola ekiswa ekitonotono, and then tunnel as far as 15 feet down into the ground. ## olwo nebisimira ddala wansi mu ttaka obuwanvu obuweza fuuti 15. Little by little, ## Mpolampola, they build many chambers connected by tunnels. ## bizimba ebisenge bingi ebigatiddwa n’emikutu. The chambers are used for food storage, as nurseries, ## Ebisenge bino bikozesebwa okutereka emmere, oba mwe bikuliza ebiwuka ebito, and as resting places for the worker ants. ## era nga ebiwuka ebikozi mwe biwummulira. Ants are small creatures, ## Obuwuka [Enkolooto] butonde obutonotono, naye bwe bubeera mu bibinja busobola okutuukiriza emirimu eminene. but in groups they are able to accomplish great tasks. ## Obusobozi bwabwo okukolera awamu nga buyambagana kya butonde mu bwo. Their ability to work in perfect harmony ## &&& is built into them as an instinct. ## When they work together, ## Bwe bubeera bukolera awamu, they are not conscious that they are cooperating. ## tebumanya nti buyambagana. Human beings, on the other hand, ## Abantu, ku ludda olulala, can choose whether to cooperate or not. ## basobola okusalawo okukolaganira awamu oba obutakolagana. When we cooperate, ## Bwe tukolagana, we bring well-being to all, ## tuleetera buli omu embeera ennungi, era bwe tutakolagana, okukulaakulana kwaffe kuziŋŋama. and when we do not, our progress slows down. God has created us to live and work in unity. ## Katonda yatutonda okubeera era n’okukolera mu bumu. We should develop the habits and attitudes of those ## Tusaana tuwagire empisa n’endowooza ezaabo who build unity and harmony. ## abassaawo obumu n’okukwatagana. Decide which of the following are such habits and attitudes: ## Salawo ku bino wammanga biruwa ebireeta empisa n’embeera ezo: Wholehearted acceptance of others ## Okukkiriza abalala n’omutima gumu Selfishness ## Okwerowoozaako wekka Willingness to work ## Okwagala okukola Willingness to let go of one's own likes and dislikes ## Okwesonyiwa ebyo bye tweyagaliza ne byetutayagala Sensitivity to the needs of others ## Okufaayo ku byetaago by’abalala Pride ## Amalala Jealousy and envy ## Obuggya n’ensaalwa Joy in the success of others ## Okusanyukira obuwanguzi bw’abalala Fairness ## Obwenkanya Patience ## Obugumiikiriza Intolerance of mistakes ## Obutagumiikiriza bisobyo Desire to learn ## Okwegomba okuyiga Ants seem to be well organized. ## Ebiwuka birabika nga byeteekateeka bulungi. Do they have an intellect? ## Birina amagezi? I doubt it, we already said animals act ## Sikisuubira, twagambye dda nti ebisolo byeyisa according to their instincts, ## nga bwe byeyisa okusinziira ku magezi gabyo amatonde. When we talked about animal instinct, ## Bwe twayogera ku butonde bw’ebisolo, it was in relation to eating, sleeping and mating; ## kyali kyekuusa ku kulya, okwebaka, n’okuzaala; it had nothing to do with making colonies, ## kyali tekirina kakwate ku kukola bibinja, communicating, and working together, ## okuwuliziganya, era n’okukolera awamu. "Instinct does not refer to simple things only, ## Eky’obutonde kino mu bisolo tekitegeeza byangungu byokka, It can be very complex. ## kisobola okubeera ekizibu ennyo. But how did ants learn to do all these things? ## Naye obuwuka bwayiga butya okukola ebintu bino byonna? The answer is evolution, ## Kyesigama ku nkyukankyuka ezize zibeerawo. Doesn't evolution mean that ## Enkyukakyuka eno tetegeeza nti we are all descendents of apes? ## ffenna twasibuka mu mazike? Not really. You see, ## Nedda si bwekiri. Mulabe, scientists have carefully studied the diverse forms of life on earth ## bannassaayansi beekennenyezza n’obwegendereza obulamu obw’ebitonde eby’enjawulo ku nsi and the remains of living organisms from the past. ## era n’ebisigalira eby’obuntu obusirikitu eby’edda. They have gradually put the pieces together ## Bagenze mpolampola nga bakuŋŋaanya obutundutundu bwabyo wamu and have come up with a very impressive theory ## era bwe batyo ne bateekawo ekirowoozo ekyewunyisa called the theory of evolution. ## kye baayita ekirowoozo eky'enkyukakyuka. As we saw before, this is what scientist do ## Nga bwe twalaba emabega, bino bannassaayansi bye bakola they observe things, they ask questions, ## beekenneenya ebintu, babuuza ebibuuzo, they do experiments, they look for relationships ## ne bagezesa, banoonya enkolagana among the various things they observe, ## wakati w’ebintu eby’enjawulo bye beekenneenya, they think of explanations, ## balowooza ku ngeri y’okubinnyonnyolamu, they share and discuss their explanations with each other. ## bagatta amagezi gaabwe ne bakubaganyiza wamu ebirowoozo ku binnyonnyoddwa. All of this is done in order ## Bino byonna bikolebwa okusobola to create better and better theories ## okuleetawo ebirowoozo ebisingira ddala obulungi that tell us how certain things happen and why. ## ebisobola okutunnyonnyola engeri ebintu ebimu gye byatuukawo era lwaki. No theory can explain everything, ## Tewali kirowoozo kisobola kunnyonnyola buli kimu, but good theories help us understand a lot about the universe. ## naye ebirowoozo ebirungi bituyamba okutegeera ebintu bingi ebikwata ku lubaale. The youth are a little lost ## Abavubuka babuzaabuzibwamu after this long explanation. ## oluvannyuma lw’okunnyonnyola kuno okuwanvu. Ivan is quite excited about the ideas, ## Ivan yaali akyamusemu olw’ebirowoozo ebyo, but is not sure if he understands what is being said. ## naye nga takakasa oba ategedde ebyo eby’ogeddwa. Natalia Petrovna, that was a little over my head, ## Natalia Petrovna byoyogedde bimpise ku mutwe. he says timidly, in a voice that can hardly be heard. ## Bwatyo nagamba mu ddoboozi eritawulikika bulungi era ey’olusonyisonyi nti, Natalia laughs. Don't worry. ## Natalia naseka. Teweraliikirira. What I have said will become clear to you ## Byenjogedde mujja kubitegeera bulungi if I tell you a little more about the theory of evolution. ## bwe nayongerako okubabuulira ku bikwata ku kirowoozo ky’enkyukakyuka y’ebintu. Explanations of science are not only about the physical universe. ## Ssaayansi by’annyonnyola tebikwata ku nsi ey’omubiri yokka. There are theories that try to explain ## Waliwo endowooza ezigeezako okunnyonnyola how human beings behave ## engeri abantu gye beeyisaamu and how society works. ## era n’engeri abantu abali awamu gye bakolaganiramu. Here are two theories about ## Zino z’endowooza ebbiri ezikwata ku how society should be organized. ## ngeri abantu abali awamu gye banditegekeddwamu. Some people believe that the best thing ## Abantu abamu balowooza nti ekintu ekisingako obulungi that can happen in a society is for everyone to compete. ## ekisobola okutuukawo mu bantu abali awamu kwe kuvuganya okwa buli omu. In this way, they say, people achieve excellence ## Mu ngeri eno, bagamba nti, abantu batuuka ku busukkulumu and society advances rapidly. ## era n’abantu bakulaakulana ku misinde egya yiriyiri. Others believe that society should be built around cooperation. ## Abalala balowooza nti abantu abali awamu bandibadde bazimbibwa nga beetoololera ku nkolagana. Competition, they say, finally leads to injustice. ## Okuvuganya, bagamba nti, ku nkomerero kuleetawo obutali bwenkanya. It is only through cooperation that ## Okuyita mu kukolaganira awamu kwokka every one achieves excellence and society moves forward. ## buli omu mwasobolera okutuuka ku busukkulumu era n’abantu ne beeyongera okukulaakulana. Which of these, do you think, is a better theory? ## Olowooza ku bino byonna, ndowooza ki esingako obulungi? To test your answer, ## Okugezesa ekyokuddamu kyo, try to determine which of the following situations ## gezaako okusalawo mbeera ki ku zino wammanga ze you would choose to be in: ## wandiyagadde okubeeramu: A family in which the children ## Amaka omubeera abaana constantly compete for the parents' attention ## abaluubiranga buli kiseera okulaba nga bafiibwako bazadde baabwe A family the members of which pray and consult together often ## Amaka agabeeramu abantu abatera okusaba era n’okuteeseza awamu bonna A school in which the students ## Essomero omuli abayizi are always trying to see who gets the best grade ## nga bagezaako bulijjo okulaba ani afunye obubonero obusinga A school in which the students ## Essomero omuli abayizi joyfully study together and assist each other ## abasomera awamu mu ssanyu era ne bayambagana A school from which ## Essomero eriyisa only a few students graduate with high scores each year and the rest fail ##abayizi abatonotono ku ddaala erya waggulu buli mwaka ate abasigadde ne baggwa A celebration at the end of a football game ## Ekijjaguzo ku nkomerero y’omuzannyo gw’omupiira in which both teams participate ## omwetaba ttiimu zombi A terrible fight that has developed ## Okulwanagana okw'amaanyi okwabaluseewo between the fans of two football teams after the game ## wakati w’abawagizi ba ttiimu zombi nga omupiira guwedde A project agreed upon by the families resident in a neighborhood ## Kaweefube akkiriziganyizibwako amaka agali mu kitundu to plant trees in a public area ## ey’okusimba emiti mu kifo eky’olukale, the tasks of which have been divided among the families ## nga emirimu gino buli maka gawereddwako eky’okukola A neighborhood in which some buy expensive things to show off ## Omuliraano omuli abantu abamu abagula ebintu eby’ebbeeyi okweraga, and others make spiteful remarks about them ## olwo abalala ne baboogerako mu bukyayi A school in the city attended by students ## Essomero ery’omu kibuga eririmu abayizi who go to nearby villages ## abagenda mu byalo ebiriranyeewo to teach younger children during their vacation ## mu biseera by’oluwummula ne basomesa abaana abato A school in which the students ## Essomero eririmu abayizi are so concerned with getting the highest grades that ## abafaayo ennyo okufuna obubonero obwa waggulu ennyo they do not have time to volunteer for service projects ## ne batafuna biseera kuyamba mu mirimu egy’obuweereza A community in which most families are well to do, ## Ekitundu omuli amaka agasinga nga magagga, except for a few who work hard ## okuggyako amatonotono agakola ennyo yet cannot afford to send their children to school ## naye nga tegasobola kuweerera baana babwe mu masomero A community in which all the families ## Ekitundu omuli amaka nga gonna have agreed that no child should remain without education, ## gakiriziganyizza nti abaana bonna basaana bafune okuyigirizibwa, and which has set up an education fund ## era ekitaddewo ensawo y’ebyenjigiriza to which each family contributes according to its means ## buli maka mwe gateeka ejjamba okusinziira ku busobozi bwago An outing that ends up in conflict ## Okulambula okuvaamu obutategeragana because each of the children wants a bigger share of the money ## kubanga buli mwana ayagala afune ssente nnyingi kweezo their parents have given them to spend ## abazadde ze babeera babawadde okuzikozesa A family in which the children are willing ## Amaka omuli abaana abagala to share the gifts they receive from their parents ## okugabana ne banaabwe ebirabo abazadde baabwe bye babeera babawadde A city in which there are many flourishing small businesses ## Ekibuga ekirimu eby’obusubuzi ebitonotono ebiyitimuka attending to the needs of the residents ## nga bisobola okukola ku byetaago by’abakibeeramu A city in which most of the small businesses have no chance of survival, ## Ekibuga omuli eby’obusuubuzi ebitonotono ebisinga obungi nga tebisobola kuwonawo because a few big companies are getting more and more customers ## kubanga ebibiina by’obusuubuzi gagadde ebitono bifuna abaguzi abasinga obungi by spending a lot of money on advertising ## olw’okussa ssente nnyingi mu kulanga ebyamaguzi byabwe. As Elena told us, ## Nga Elena bwe yatugambye, ants have lived on earth for millions of years, ## ebiwuka bibadde ku nsi okumala emyaka bukadde na bukadde. They always needed food, Bulijjo nga byetaaga emmere, and they had to protect themselves against danger. ## ate nga birina okwekuuma akabi. Their instincts helped them to survive, ## Eneeyisa yabyo okusinziira ku mbeera ezibyeetoloodde zibiyambye okuwangaala, and each time something appeared in their environment ## era buli kiseera bwe walabikawo ekintu okubyetoloola that could harm them, ekiyinza okubikosa, they developed some new characteristics ## bikyusa embeera yabyo so they could continue living. ## bwe bityo bisobole okubeerawo. One of the things they learned ## Ekimu ku bintu bye byayiga to do gradually over a long period of time ## okukola empolampola okumalira ddala ekiseera ekiwanvu was to organize themselves. ## kwe kwetegeka. According to the theory of evolution, ## Okusinziira ku ndowooza y’enkyukakyuka, ey’enkyukakyuka. all living forms developed their present characteristics ## ebintu byonna ebiramu byakulaakulanya embeera zaabyo eziriwo kati through a similar process of gradual change. ## nga biyita mu nteekateeka y’emu To the best of our knowledge today, ## Ku kyetumanyiko kati, life appeared on earth around 4 billions years ago ## obulamu bwatandika ku nsi emyaka obuwumbi 4 egiyise in the form of single living cells. ## nga buli mu ngeri y’obutofaali obwetongodde. Then it took three billion years for groups of cells to bond together ## Olwo ne kitwala emyaka emirala obuwumbi busatu obutofaali okwegatta and give rise to the first multi-celled organisms, ## ne buvaamu ekintu ekiramu eky’obutofaali obungi, some of which survived and reproduced themselves. ## ebimu ku byo byawangaala ne bizaala binaabyo. From these beginnings, ## Okuva mu ntandikwa eno, the millions of species that exist today evolved. ## mwe mwaava ebika by’ebintu obukadde n’obukadde ebiriwo kati. And when did human beings appear? ## Olwo abantu baalabika ddi? " asks Marina. Well, it took a long time for anything to appear. ## Kale nno, kyatwala ebbanga gwanvu ekintu kyonna okubeerawo. It was only 600 million years ago that ## Gyali emyaka obukadde 600 egiyiseewo bukya kitonde the first hard bodied creatures with external skeletons emerged, ## ekirina omubiri omugumu nga kirimu n’akawanga okulabika, They were the ancestors of clams, starfish, lobsters, and insects. ## bino bye byazaala ebyenyanja ebibeera mu ssemayanja mu lufuutifuuti ebiyitibwa clams, starfish, lobsters n’ebiwuka. Then, changes began to occur faster. ## Oluvannyuma enkyukakyuka ne zitandika okubeerawo mangumangu. In only 100 million years, ## Mu myaka obukadde 100 gyokka, some of these creatures developed ## ebimu ku bitonde bino ne bifuna an internal skeleton with a backbone. ## akawanga ak’omunda n’olugumbagumba olw’omugongo. About 450 million years ago ## Ate emyaka nga obukadde 450 egiyise the first fishes came into being. ## ebyenyanja byatandika okulabika. All that time living things had existed only in water. ## Mu biseera ebyo byonna ebintu ebiramu byabeeranga mu mazzi mwokka. Then life began on land. ## Oluvannyuma ne biryoka birabika ku lukalu. The plants came first. ## Ebimera bye byasooka okulabika. Then, about 350 million years ago, ## Ate oluvannyuma nga wayiseewo emyaka obukadde 350, one species of fish gradually left the water, ## ekika kimu eky’ebyennyanja mpolampola ne kiva mu mazzi, which resulted, after several millions of years, ## ekyavaamu, nga wayisewo emyaka obukadde obuwererako ddala, in the appearance of amphibians, ## ebika by’ebikere byalabika, the ancestors of the frog and the toad. ## era nga bye byazaala ebikere ne neenga. Three hundred million years ago reptiles appeared, ## Emyaka obukadde bisatu egiyise ebitonde ebirala eby’ewalula ne birabika, and as their numbers grew, ## era bino bwe byagenda byeyongera obungi, they gave rise to lizards, snakes, ## byavaamu eminnya, emisota, turtles, crocodiles, dinosaurs, ## enfudu, goonya, dinosaurs(mu lufuutifuuti), birds and the mammals. ## ebinnyonyi, n’ebisolo. The first dinosaurs and mammals began their existence some 200 million years ago. ## Zidinosaurs ezasooka n’ebisolo byatandika okubeerawo ku nsi emyaka obukadde 200 egiyise. For about 130 million years, ## Okumala emyaka nga obukadde 130, dinosaurs ruled the earth and the mammals survived next to them. ## dinosaurs zefugga ensi wamu n’ebisolo. Then, all of a sudden, dinosaurs disappeared ## Naye ekiseera kyatuuka amangu ennyo dinosaurs ne zibulawo and the mammals multiplied ## era ebisolo ne bizaala and evolved into the many species we know today ## era ne bikyukakyuka ne bivaamu ebika ebirala bingi bye tumanyi olwaleero nga the mouse, the horse, the dog, ## emmese, embalasi, embwa, the cat, the cow and so on. ## kappa, ente n’ebirala. Apes appeared 30 million years ago, ## Ebika by’amazike byalabika emyaka obukadde 30 egiyise, and much later, ## era n’oluvannyuma ennyo, different human-like species evolved. ## ebika ebirala ebyenjawulo ebyefaananyiriza ng’abantu ne birabika. Remains have been found of some of these species ## Ebisigalira by’ebimu ku bika ebyo bizuulidwa nga birabika which are more than four million years old. ## nti bisussa emyaka obukadde 4. It seems like our kind has lived on earth for only 120,000 years. ## Kirabika nti ekika ky’abantu abatufaanana babadde ku nsi okumala emyaka 120,000 gyokka. We are called Homo sapiens sapiens. ## Tuyitibwa Homo Sapiens (mu lufuutifuuti) She then reads the following statement from 'Abdu'l-Bahá: ## Bwatyo nalyoka asoma ebyawandiikibwa bya 'Abdu'l-Bahá bino wammanga: ...the growth and development ofall beings is gradual; ## …Okukula n’okukulaakulana kw’ebintu byonna ebiramu kwa mpolampola; this is the universal divine organization ## eno nteekateeka ntukuvu ey’ebintu byonna era nkola and the natural system. ## eri mu butonde. The seed does not at once become a tree; ## Ensigo tefukirawo muti; the embryo does not at once become a man; ## ekitanyii tekifukirawo muntu; the mineral does not suddenly become a stone. ## eby’omuttaka tebifukirawo jjinja. No, they grow and develop gradually ## Nedda, bikula ne bikulaakulana mpolampola and attain the limit of perfection. ## ne bituuka ku ntikko y’obutukirivu. According to the universal divine law ## Okusinziira ku tteeka lya Katonda erifuga wonna all things grow and develop gradually. ## ebintu byonna bikula era ne bikulaakulana mpolampola. The seed does not suddenly become a tree; ## Ensigo tefukirawo mangu ago muti; first a small root and a shoot emerge, ## okusooka omulandira omutono guvaayo, ne kuddako endokwa n’emeruka, and then, gradually the branches, leaves, ## olwo nno, amatabi, ebikoola, blossoms and fruits appear. ## ebimuli n’ebibala ne biryoka bisaako. The mineral changes from one form to another ## N’ebyomu ttaka bwebityo bwe bigenda bikyukakyuka okuva ku kintu ekimu okuddda ku kirala over a long period of time until it reaches its final state. ## okumala akabanga akawanvu okutuusa lwebituuka ku ddala erisembayo. It takes several months for the embryo to develop limbs ## Kitwala emyezi mingi ekitanyi okufuna ebisomyo and organs in the womb of the mother. ## n’ebitundu by’omubiri ebirala nga akyali mu nnabaana. These are all examples of physical change. ## Bino byonna byakulabirako ku bibeerawo mu nkyukakyuka y’omubiri. There are other types of growth that ## Waliwo enkula ez’engeri also take time to occur. ## ezitwala ekiseera ekiwanvu okulabika. For example, our habits, thoughts ## Eky’okulabirako, empisa zaffe, ebirowoozo and attitudes change as we grow. ## ne neeyisa zigenda zikyuka bwe tukula. Think about the way each of us develops. ## Lowooza ku ngeri buli omu ku ffe bw’agenda akula. Can we learn all there is to learn in a day? ## Tuyinza okuyiga byonna bye tulina okuyiga mu lunaku lumu? Can we acquire every praiseworthy quality overnight? ## Tuyinza okufuna empisa ennungi ezitenderezebwa mu kiro kimu? If change takes time, ## Oba nga enkyukakyuka zitwaala ekiseera, is it fair to be impatient with others ## kibeera kya bwenkanya obutagumiikiriza abalala when they are trying to learn and develop? ## bwe bagezaako okuyiga n’okukulaakulana? Patience, then, is one of the most important qualities we need ## Noolwekyo, obugumiikiriza, bwe bumu ku mbeera ezisingira ddala obukulu ze twetaaga as we do our best to improve ourselves ## nga tukola nga bwe kisoboka okulinnyisa embeera zaffe and contribute to progress in our communities. ## era n’okwennyigira mu nkulaakulana y’abantu ab’omu bitundu byaffe. Which of the following should we try ## Ku bino wammanga biruwa byetusaana okugeezaako to do in order to acquire patience? ## okukola okusobola okubeera n’obugumiikiriza? Persevere in our efforts under difficult conditions ## Okufunvubira ne tulafuubana embeera ne bwebeera nga nzibu Give up with the first setback ## Okuva ku mulamwa nga tusanze obuzibu obusooka Keep calm under difficult circumstances. ## Okubeera abakkakamu mu mbeera enzibu Get irritated in the face of difficulty. ## Okunnyiiga nga tusanze ebizibu Moan and complain ## Okukungubaga n’okwemuluggunya when things are going against our wishes. ## ebintu bwebibeera nga tebigenda nga bwe twagala. Be content with the Will of God. ## Okubeera abamativu n’Okwagala kwa Katonda Endure hardship when it is necessary to do so. ## Okugumira obuzibu bwe kibeera nga kyetaagisa Avoid hardship at all costs. ## Okwewala ebizibu mu buli ngeri Learn from mistakes ## Okuyigira ku nsobi zaffe in order to do better next time. ## tusobole okukola obulungi ekiseera eky’omu maaso Not be tolerant of mistakes. ## Obutagumiikiriza nsobi Expect change to come about quickly. ## Okusuubira enkyukakyuka okubeerawo amangu ddala Know that lasting change ## Okumanya nti enkyukakyuka ewangaala requires consistent effort, care, ## yetaaga okufuba obutaweera, okufaayo, humility, love and perseverance ## obwetowaze, okwagala n’okufunvubira The following exercise will help you ## Eby’okwegezaamu bino wammanga bijja kukuyamba reflect further on how to show patience. ## okwongera okufumiitiriza ku ngeri y’okulaga obugumiikiriza. In each situation ## Mu buli mbeera you need to decide what you would do: ## weetaaga okusalawo kyewandikoze: The neighborhood in which you live is not very clean. ## Omuliraano mw’obeeramu si wayonjo nnyo. You and your friends consult, make a plan, ## Ggwe n’emikwaano gyo mukubaganya ebirowoozo, ne mukola enteekateeka, and begin to clean a section of your neighborhood. ## era ne mutandika okulongoosa ekitundu mu muliraano guno. However, a few days after cleaning the area ## Wabula, okumala ennaku entono nga mwakamala okulongoosa ekitundu ekyo, you find it full of litter again. ## mukisanga nga era mujjuddemu ebisasiro. You and your friends decide that ## Ggwe n’emikwano gyo musalawo nti the people living in your neighborhood will never learn ## abantu ab’oku muliraano gwammwe tebajja kuyiga to keep the place clean. ## kukuuma kitundu nga kiyonjo. You decide to continue cleaning the neighborhood on a regular basis, ## Musalawo okusigala nga mulongoosa ekitundu obutayosa, feeling confident that people will eventually change their habits. ## nga mulina essuubi nti luliba olwo abantu ne bakyuusa empisa zaabwe. Your younger sister's leg is broken ## Muto wo omuwala amenyeka okuggulu and you are taking care of her. ## era ggwe omulabirira. She keeps asking you to do things sometimes, ## Buli kiseera akusaba okubaako by’omukolera, oluusi, just because she wants attention: ## lwakubeera nga ayagala bwagazi okufiibwako: You scold her for disturbing you ## Omuboggolera olw’okuba nti akutawanya and ask her to be quiet. ## era n’omulagira asirike. You read her a story ## Omusomera olugero, and play her favorite game to cheer her up. ## era n’omuzanyira akazannyo kayagala ennyo, okumusanyusa. Then you explain to her that ## Bwotyo n’omunnyonnyola nti you need to do some work, ## olina ebirala bye weetaaga okukolako, find her something to do ## n’omuwa ekintu eky’okukola and tell her that you will be back to check on her soon. ## era n’omugamba nti, ojja kudda mangu olabe bwaali. You are going to participate in a service project ## Ogenda kwetaba mu mulimu gw’okuweereza that is taking place in another region. ## ogugenda mu maaso mu kitundu ekitali kye wammwe. Its weather is too hot for you ## Obudde bwayo bwa bbugumu lingi and the food tastes strange: ## eri ggwe n’emmere yaayo togimanyidde: You decide to return home early, ## Osalawo okuddayo ewammwe nga omulimu ogwo tegunaba kuggwa, telling yourself that it is not necessary ## ng’olowooza nti tekyetaagisa to leave one's home in order to serve; ## kuva wammwe ogende oweereze; one can serve anywhere. ## omuntu asobola okuweerereza wonna w’ayagala. You try to learn how the people who live there ## Ogezaako okuyiga engeri abantu ababeerayo deal with the heat ## gye beeyisaamu mu buggumu eryo, and do not refuse to eat the local food, ## era togaana kulya mmere yaabwe, even though it tastes different. ## wadde nga togimanyidde. You are sharing the teachings of the Faith with a friend. ## Ogababana eby’enjigiriza by’Enzikiriza ne mukwano gwo. He always likes your explanation ## Bulijjo ayagala engeri gy’obimunnyonnyoleramu and seems to understand them, era alabika nga abitegeera, but asks the same questions ## naye akubuuza ebibuuzo byebimu the next time you meet: ## nga muzeemu okusisinkana: You continue to answer his questions with kindness, ## Era omuddamu ebibuuzo bye mu ngeri ey’ekisa, knowing that to understand new ideas will take time. ## nga omanyi bulungi nti okutegeera ebirowoozo ebipya kitwala ekiseera. You stop discussing the principles of the Faith with him, ## Olekeraawo okwogera ku mpaggi z’Enzikiriza naye, because you feel he is not smart enough to understand. ## kubanga olowooza takozesa magezi agategeera. Something happens and ## Ekintu kituukawo era the friendship between the members of your junior youth group is soured. ## omukwano mu makkati g’ekibiina ky’abavubuka abato guggwamu obutategeeragana. You also feel a little hurt ## Naawe owulira nga okoseddwamu, and don't enjoy the meetings like you used to: ## era tokyannyumirwa enkuŋŋaana nga bwekyaali mu kusooka: You decide to leave the group. ## Osalawo okwabuulira ekibiina ekyo You try to forget and forgive. ## Ogezaako okwerabira n’okusonyiwa. You also say prayers for the unity of your group. ## Era n’osabira obumu bw’ekibiina kyammwe. You are convinced that overcoming this difficulty ## Obeera mumativu nti, okuvuunuka ekizibu kino will bring the members of the group closer together. ## kijja kugatta abantu abali mu kibiina kyammwe okubeera awamu. Your teacher has asked you to read an article ## Omusomesa wo akusabye okusoma ekiwandiiko and write a summary of it. ## era okiwumbewumbe oluvannyuma. You find the article difficult. ## Osanga ekiwandiiko kino nga kikalubo. Each time you finish reading a page, ## Buli lw’omala okusoma olupapula, you wish you could put the article down ## owulira nga oyagala kussa wansi ekiwandiiko ekyo and forget about the assignment: ## era weerabire ebikwata ku mulimu ogwo. You put the article down ## Ossa wansi ekiwandiiko kino and tell yourself that you will get back to it later. ## era n’olowooza mu mutima gwo nti ojja kukiddira oluvannyuma, but secretly knowing it is unlikely that you will. ## naye nga muli mu mutima gwo obeera okimanyi nti tojja kukiddira. You read through it to the end quickly, ## Okisoma ng’okiyitayitamu mu bwangu n’okimalako, even though you don't understand everything. ## newaakubadde nga totegeera buli kimu ekikirimu. As you read, you take notes writing down ## Nga bw’okisoma, owandiika wansi some of the ideas in your own words. ## ebimu ku birowoozo mu bigambo byo. You then read it a second time ## Olwo n’okisoma ogw’okubiri, to see if you understand better this time. ## okulaba oba oyongedde okukitegeera omulundi guno. You and the other members of your group ## Ggwe n’abantu abalala mu kibiina kyo have decided to hold a weekly devotional meeting. ## musazeewo okubeera n’ensisinakano ez’okusinza okw’awamu buli wiiki. The attendance in the first few meetings has been small: ## Abeetaba mu nsisinkano ezisooka babadde batono: You decide that a devotional meeting is not a good idea, ## Musalawo nti ekirowoozo eky’okusisinkana mu kusinza okw’awamu si kirungi, as people don't seem to be interested. ## kubanga abantu tebakyettanira bulungi. You consult with the other members of the group ## Mukubaganya ebirowoozo n’abantu abalala abali mu kibiina ekyo and decide to persevere. ## era ne musalawo okufunvubira. You will invite many more people to the meetings ## Mujja kwongera okwaniriza abantu abalala okubeegatako mu nsisinkano, and make sure that the devotional program is attractive. ## era n’okukakasa nti enteekateeka ey’okusinza okw’awamu esikkiriza. Natalia Petrovna then asks the youth ## Bwatyo Natalya Petrovna n’asaba abavubuka to memorize the following quotations: ## okukwata obukusu ekyawandiikibwa kino wammanga: It behoveth whosoever hath set his face towards the Most Sublime Horizon ## Kigwanidde oyo yenna ayolekezza obwanga bwe eri Olukingirizi Olusingira ddala okubeera Waggulu to cleave tenaciously unto the cord of patience, ## okwekwta n’obumalirivu ku muguwa ogw’obugumiikkiriza, and to put his reliance in God, ## n’okussa obwesige bwe mu Katonda, the Help in Peril, the Unconstrained. ## Omuyambi mu Buyinike, Atakugirwa. O SON OF MAN ## Owange Ggwe Omwana w’Omuntu! For everything there is a sign. ## Buli kintu kirina akabonero kaakyo. The sign of love is fôrtitude under My decree ## Akabonero k’okwagala kabeera buvumu wansi w’ekiragiro Kyange and patience under My trials. ## wamu n’obugumiikiriza wansi w’okugezesa Kwange. The steed of this Valley is patience; ## Embalaasi y’Ekiwonvu kino bugumiikkiriza; without patience the wayfarer on this journey ## awatali bugumiikkiriza omutambuze ali ku lugendo luno will reach nowhere and attain no goal. ## talina wayinza kutuuka era tajja kufuna kirungi kyonna. Nor should he ever be downhearted; ## Wadde talina kuggwamu maanyi; if he strive for a hundred thousand years ## singa alafuubana okumala emyaka emitwalo kkumi and yet fail to behold the beauty of the Friend, ## naye ate n’alemererwa okulaba obubalagavu bw’Owomukwano, he should not falter ## tasaana kuwenyera. The discussion on the theme of evolution has been challenging ## Okukubaganya ebirowoozo ku mulamwa ogw’enkyukakyuka kubaddemu okusoomozebwa kungi and the youth are tired. ## era n’abavubuka bawulira obukoowu. They ask Natalia Petrovna if they can go ## Ne basaba Natalia Petrovna oba basobola okugende and collect some mushrooms while it is still bright. ## ne banoga obutiko nga obudde bukyalaba. Natalia has already taught them ## Natalia yali amaze okubalaga how to pick the ones that are not poisonous ## engeri y’okunoga obwo obutali bwa butwa, and gives them permission to go pick mushrooms. ## era bwatyo n’abawa olukusa okugenda okunoga obutiko. After they come back they have an early dinner, ## Bwe bakomawo ne balya ekyeggulo nga bukyali, after which they continue their conversation. ## ne balyoka beyongerayo n’emboozi yaabwe. This afternoon you kept telling us ## Olwaleero emisana obadde otubuulira about species appearing and evolving; ## ku bikwata ku kulabika kw’ebika ebyenjawulo era n’engeri gye bigenda bikyukamu; how does this happen? ## kino kibeerawo kitya? There are explanations in the theory of evolution ## Waliwo ebinnyonnyoddwa bingi ku kirowoozo ky’enkyukakyuka that are quite convincing ## ebigezaako okumatiza. But let me first show you how ## Naye kansoke mbalage engeri changes can occur within one species ## enkyukakyuka gy’esobola okubeerawo mu kika ekimu eky’ekitonde by telling you about the horse. ## nga mbabuulira ebikwata ku mbalaasi. The remains that have been fòund of the very first horses ## Ebisigalira by’embalaasi ezasooka ebyazuulibwa date back to over 55 million years ## biraga nti bimazewo emyaka bukadde 55 and it is clear that ## era ne kyeraga lwatu nti they didn't look anything like horses today. ## tezafaananako wadde ng’embalaasi eziriwo kati. In fact with their small stature and short legs, ## Mu butuufu olw’enkula yaazo entono era n’amagulu gaazo amampi, they must have looked more like dogs. ## ziteekwa okubeera nga zaali zifaananira ddala ng’embwa. Initially, they lived in the woods ## Mu kusooka, zabeera nga mu bibira where they probably grazed on leaves and herbs, ## mwe zaalyanga ebikoola n’omuddo, and escaped their predators ## era zaasumattukanga abalabe baazo by slipping through openings in the forest vegetation. ## nga zeessolosa mu myagaanya gy’emiti n’ebimera ebirala. Over millions of years, ## Oluvannyuma lw’emyaka obukadde n’obukadde, the habitat of the horse changed to grassland ## enfo embalaasi mwe zabeeranga zaakyuka okuva mu bibira ne zidda mu nsenyi and the species evolved accordingly. ## era n’ebika byaazo ne bikyukira wamu n’embeera. As horses adapted to their new environment, ## Embalaasi nga zimaze okutuukagana n’embeera eriwo, traveling long distances to escape predators ## okutambula eŋŋendo mpaanvu okusumattuka abalabe became more important than maneuvering through dense vegetation. ## kyafuuka kikulu nnyo okusinga okutayaayira mu kibira ekiziyivu. As a result, the shorter limbs, smaller bodies ## N’ekyavaamu, amagulu amampi, emibiri emitono and the shape of their feet ## n’enkula y’ebigere byazo in brief all those traits that ## mu bufunze engeri ezo zonna gave them flexibility to move through forest vegetation ## ezaaziwanga obusobozi okuyita mu bibira nga tezittaataganyiziddwa became less and less useful. ## bino ne bibeera nga tebikyazigasa bulungi. In each generation, ## Mu buli mulembe, those horses that had a little longer legs and the better-shaped feet ## embalaasi ezo ezalinanga amagulu amawanvuko n’ebigere ebyakula obulungi could survive more than others. ## zaasobolanga okugumira embeera okusinga ezasooka. These passed to their offspring the characteristics ## Era zino mwe mwaava ezo ezazaalibwa that were giving them the advantage, ## nga zirina ebyo ebizisobozesa okubeera mu mbeera eyaliwo, and so, over millions of years, ## era bwezityo okumala emyaka bukadde n’obukadde, horses grew in size. ## embalaasi ne zeeyongera mu bunene. So in 55 million years human beings will be much bigger too, ## Bwebatyo n’abantu mu myaka obukadde 55 bajja kubeera banene okusinga abaliwo kati. suggests Boris half-jokingly ## Boris naleeta ekirowoozo ng’asaagasaagamu nti, Not necessarily. ## Ekyo si bwe kyandibadde. A species changes its characteristics ## Ekika kikyusa embala yakyo because it is advantageous to do so. ## kubanga kibeera kigannyulwamu bwe kikola bwe kityo. The changes in their limbs made horses capable of running ## Enkyukakyuka ezajjawo mu magulu g’embalaasi zaazisobozessanga okudduka very long distances at high speeds ## eŋŋendo empaanvu ate ku misinde egya waggulu something they needed to survive. ## ekintu kye zaali zeetaaga okuwonawo. Also, early on, ## Nate era, ebiseera eby’emabegako, horses had fòur toes on their front feet ## embalaasi zalina obugere buna ku bigere byaazo eby’omu maaso, and three on their hind feet. ## ate obugere busatu ku bigere eby’emabega. Rather than hooves, these toes were encased in fleshy pads. ## Mu kifo ky’ebinnulo, obugere buno bwaali nga bubikiddwako olususu oluggumu. By examining the remains of the species from various periods, ## Bwe beetegereza ebisigalira by’ebika byazo okuva mu biseera eby’enjawulo, scientists have discovered that over time ## bannassayaansi bazuula nti nga wayiseewo ekiseera akagere the center toe became longer ## akawakati kaawanvuwa and the other toes smaller and smaller ## ate nga obugere obulala bwagenda butoniwatoniwa until they vanished and a bony hoof developed. ## okutuusa lwe bwabulirawo ddala era ekinnulo ky’eggumba ne kibeerawo. The horse's teeth also changed ## Amannyo g’embalaasi nago gaakyuka to enable it to chew tough gritty vegetation, such as grass. ## okugisobozesa okulya n’okugaaya omuddo omukalubo era ogulumira, ng’ebisubi. Even the shape of its skull changed, ## Era n’endabika y’akawanga kaayo yakyuka, so that it could go on chewing constantly. ## olwo n'esobola okugaayanga buli kaseera. Are you saying that all species have gone through an evolution like this? ## Kyotegeeza nti ebika byonna biyise mu nkyukakyuka nga zino? Yes, all organisms live in their particular habitats. ## Yee, Obuwuka obutono ennyo bubeera mu bifo byabwo eby’enjawulo, In this habitat, they have food and water ## Mu kifo kino, bulina emmere n’amazzi and a certain degree of protection from danger. ## era n’obukuumi obusaanidde obutatusibwaako kabi. Under these conditions, ## Mu mbeera zino, they reproduce and may increase their number. ## mwe buzalira ne busobola okweyongera mu bungi. But in each generation, ## Naye mu buli mulembe, there are many differences among the individual members. ## wabeerawo enjawulo nnyingi mu buli kanakamu ku bwo. Look at our own species; ## Mutunuulire ekika kyaffe kyennyini; people of the same age and sex have different heights, ## abantu abenkana mu myaka era ab’ekikula ekimu babeera tebeenkana obuwanvu, different eye colors, ## endabika y’amaaso ya njawulo, limbs of different shapes and sizes and so on. ## enkula y’amagulu ya njawulo ate era tegeenkankana n’ebirala. And these are only outer characteristics. ## Era zino embala zaakungulu kwokka. If we go all the way to the cells of our bodies, ## Singa tugenda ewala ne tukebera obutoffaali obuli munda mu mibiri gyaffe, we see enormous differences from one person to another. ## tulaba enjawulo nnene nnyo wakati mu bantu ab’enjawulo. This makes some of us, for example, ## Eky’okulabirako, kino kileetera abamu ku ffe resistant to a given disease, ## obutakwatibwa ndwadde ezimu, while others can catch it easily and die from it, ## ate nga abalala zibakwata mangu era n’oluusi ne zibatta, unless, of course, medicine is able to help them. ## okuggyako, mpozzi, nga eddagala lye lisobodde okubawonya. These thousands of variations make ## Zino enjawukana enkumuliitu zileetera individuals in each generation of a species more or less fit for survival. ## abantu seekinoomu mu buli mugigi okugumira embeera oba obutagigumira. The strongest have a greater chance to live ## Abasinga amaanyi balina omukisa munene okubeerawo and the weakest can die at a younger age. ## ate abanafu ne bafa nga bakyali bato. Now, these characteristics pass from parents ## Kaakano, embala eno eva ku bazadde to their offspring through their genes. ## n’esikirwa abaana ng’eyita mu buttoffaali bwabwe. So, from generation to generation, ## Bwe kityo okuva ku mugigi ogumu okudda ku mulala, the number of individuals in the species ## omuwendo gw’ebika by’abantu who are better fit to live in the habitat increases ## abasobola okugumira embeera mwe babeera ne beeyongera obungi and the whole species gradually evolves. ## era n’ekika kyonna ne kigenda nga kikyuka mpolampola. But I still don't understand how new species come into being, ## Naye sinategeera engeri ebitonde ebiggya bwe bibeerawo. The horse you talked about was always a horse, ## Embalaasi gye wayogeddeko yava dda it just changed its size and other characteristics. ## nga mbalaasi yakyusa bukyusa obunene n’ebikolwa byayo. That is true, But occasionally, ## Kino kituufu, naye olumu n’olumu, something drastic happens to some of the genes ## ekintu ekitali kya bulijjo kituukawo mu buttoffaali bw’omu mubiri and the resulting changes are more dramatic. ## era ne kivaamu kibeera kya kyewuunyo nnyo. To tell you the truth, ## Okubabuulira amazima, I don't know if scientists understand ## simanyi oba bannassayaansi bategeera all the details of this kind of change at the present. ## kalonda yenna akwata ku nkyukakyuka ez’ekika kino olwaleero. However, they do seem to have a lot of useful explanations. ## Naye nno, balabika nga abalina okunnyonnyola okungi okw’omugaso. Drastic changes in the evolution of life ## Enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu give rise to new species. ## zireetawo ebika by’ebitonde ebiggya. In the life of society, too, ## Wabula, ne mu bulamu bw’abantu, there are times when huge changes take place ## mulimu ebiseera enkyukakyuka ez’omuggundu lwe zibeererawo and new doors are opened to humanity. ## era n’enzigi empya ne ziggulwawo eri abantu bonna. The greatest of these changes occur ## Enkyukakyuka ezisingira ddala obukulu zibeerawo when a Manifestation of God appears. ## Omubaka wa Katonda bw’alabika. After these great events, ## Oluvannyuma lw’ebibeerawo ebikulu, old ways gadually die off ## engeri enkadde ze baakolangamu ebintu zigenda ziggwawo mpolampola and society begins a new life. ## era n’abantu ne batandika obulamu obuggya. Today, we live in one such great time ## Olwaleero, tubeera mu kiseera nga ekyo eky’ekitalo, during which the principles of a new age ## ekiseera empagi ez’omulembe omupya are spreading throughout the world. ## we zisaasaanira mu nsi yonna. Choose one of the following principles ## Londawo emu ku mpagi ezo wammanga and tell your group what you would do ## era obuulire abali mu kibiina kyo kiki kyewandikoze to establish it in your personal life ## okugissa mu bulamu bwo ggwe wennyini and in the life of your community. ## ne mu bulamu bw’abantu ab’omu kitundu kyo. Equality of men and women ## Omwenkanonkano wakati w‘abasajja n’abakazi Harmony of science and religion ## Okukkaanya kwa ssaayansi n’eddiini Eradication of extremes of wealth and poverty ## Okumalawo obugagga n’obwaavu obusuukiridde Oneness of religion ## Obumu bw’eddiini Universal education ## Okuyigirizibwa okwa bonna The youth seem spellbound ## Abayizi ne balabika nga bawuniikiridde by the explanations given by Natalia Petrovna. ## olw’ebyo ebinnyonnyoddwa Natalia Petrovna. There are expressions of wonder ## Balaga obubonero obw’okwewunya and awe on their faces. ## n’okusamalirira mu maaso gaabwe. After a lull, Igor asks: ## Oluvannyuma lw’akasiriikiriro, Igor nabuuza nti, Can you tell us more ## Oyinza okwongera okutubuulira about how human beings evolved? ## engeri abantu gye bagenda bakyukakyukamu? That is not an easy question to answer. ## Ekyo ekibuuzo si kyangu kuddamu. Our physical bodies, of course, evolved over a very, very long time. ## Weewaawo, emibiri gyaffe gigenze gikyukakyuka okumala ekiseera ekiwanvu ennyo. But the human spirit was created by God from the beginning. ## Naye omwoyo gw’omuntu gwatondebwa Katonda okuva oluberyeberye. It could not manifest itself, however, ## Naye nno, gwali tegusobola kwolesebwa, until our bodies, ## okutuusa nga emibiri gyaffe, especially our brains ## okusingira ddala obwongo had evolved sufficiently. ## nga bukyusekyuse ekimala. Think of evolution as a tree ## Mulowooze ku nkyukakyuka nga omuti, and the human being as the fruit of the tree. ## era n’abantu ng’ekibala ky’omuti ogwo. The tree grows and from it branches appear, ## Omuti gukula ne gusuula amatabi, each giving rise to new branches. ## nga buli ttabi livaamu amatabi amapya. Many, many branches actually die off after a while, ## Amatabi mangi ddala mu butuufu gagenda gafa oluvannyuma lw’ekiseera, but others survive. ## naye amalala ne gasigalako. As I mentioned before, ## Nga bwe nayogedde emabegako, one class of species that branched off ## ekiti kimu mu bika from the tree of evolution consisted of mammals. ## ekyaava mu ttabi ly’omuti gw’enkyukakyuka lirimu ebisolo. As the mammals evolved, ## Ensolo zino bwe zaagenda zikyukakyuka, they branched into many species, ## ne zivaamu ebika ebirala bingi, and from one of these branches ## era okuva mu limu ku matabi gano a number of human like species appeared. ## mwe mwalabikira ekika ekyefaananyiriza omuntu. A very important characteristic of these ## Ekyenjawulo ekikulu ennyo was that they walked on two legs ## kyezaalina zaatambuzanga amagulu abiri, freeing their hands for other purposes. ## emikono gyazo ne gibeera nga gisobola okukola ebigendererwa ebirala. Human-like species evolved ## Mu nkyukakyuka ebika ebyafaananira ddala abantu byalabika and gave rise to new ones. ## era ne bizaala ebirala. In the process, many important changes occurred, ## Mu kuyita mu ebyo byonna, enkyukakyuka nnyingi ez’amaanyi ennyo zaabeerawo, the most important of which ## ng’esingira ddala obukulu was the gradual growth of the size ## kwe kukula empolampola mu bunene and capacity of the brain ## ne mu busobozi bw’obwongo and the ability to speak. ## n’okusobola okwogera. As these physical capacities increased, ## Ng’obusobozi bw’omubiri bugenda bweyongera, a condition was reached in which such powers as the intellect, ## twatuuka ku mbeera mwe twafuna amaanyi ng’ago ag’okulowooza, the power of discovery, ## amaanyi ag’okuvvumbula, and free will could appear. ## era n’eby’okwesalirawo mwe byayolesebwa. None of these powers have been seen ## Amaanyi gano tegalabibwangako in any vegetable or animal species; ## mu kika kyonna eky’ekimera oba ekisolo; they are the manifestations of the human spirit. ## era ge gaali okwolesebwa kw’omwoyo gw’omuntu. Listen well to what 'Abdu'l-Bahá says about this: ## Muwulirize n’obwegendereza 'Abdu'l-Bahá kyagamba ku kino: Moreover, these members, these elements, this composition, ## Okwongerako kwekyo, ebitundu bino, obutundutundu bwagwo, ebigatiddwamu, which are found in the organism of man, ## ebisangibwa mu mubiri gw’omuntu, are an attraction and magnet for the spirit; ## byakusikirizibwa era masanyalaze g’omwoyo; it is certain that the spirit will appear in it. ## era obukakafu nti omwoyo gujja kulabika mu byo. So, a mirror which is clear ## Bwekityo, endabirwamu etalimu lufu will certainly attract the rays of the sun. ## esobola okusikiriza amagulu g’enjuba. It will become luminous, ## Era ejja kumasamasa, and wonderful images will appear in it. ## era n’ebifaananyi ebirungi bijja kulabirakira mu yo. That is to say, when these existing elements ## Kwe kugamba nti, ebintu bino byonna ebigibeeramu are gathered together according to the natural order, ## bwe bikuŋŋanyizibwa awamu okusinziira ku nteekateeka y’obutonde, and with perfect strength, ## era birina amaanyi gonna agatukiridde, they become a magnet for the spirit, ## bifuuka ekisikkiriza omwoyo, and the spirit will become manifest in them ## era omwoyo ne gulabikira mu n’amaanyi amateefu, bifuuka amasannyalaze g’omwoyo, with all its perfections. ## era n’omwoyo gujja kwolesebwa mu byo n’obutuukirivu bwagwo bwonna. In another passage, He says: ## Ate mu kitundu ky’essula ekirala Ye agamba nti: So also the formation of man ## Era bwe kutyo okukolebwa kw’omuntu in the matrix of the world ## mu nsi y’enda was in the beginning like the embryo; ## oluberyeberye kwalinga ekitanyi; then gradually he made progress in perfection, ## bwatyo mpolampola n’agenda nga yeyongera okutuukirira, and grew and developed ## era n’akula n’okukulaakulana until he reached the state of maturity, ## okutuusa nga akuze, when the mind and spirit ## emmeeme n’omwoyo became visible in the greatest power. ## bwe byayolesebwa amaanyi gaabyo agasingira ddala. In the beginning of his formation ## Mu luberyeluberye lw’okutonda the mind and spirit also existed, ## kwe emmeeme n’omwoyo nabyo byaliwo, but they were hidden; ## naye byaali bikwekeddwa; later they were manifested. ## naye byayolesebwa luvannyuma. In the womb of the world ## Mu nsi ey’enda mind and spirit also existed in the embryo, ## emmeeme n’omwoyo byali weebiri mu kitanyi, but they were concealed; ## naye byali bikisiddwa; afterward they appeared. ## oluvannyuma ne birabika. The group studies these two quotations ## Ekibiina kisoma ebyawandiikibwa bino ebibiri and, with Natalia's help, ## era, nga bayambibwaako Natalia, everyone tries to understand their meaning. ## buli omu agezaako okutegeera amakulu gaabyo. The evening has gone by rapidly. ## Olunaku luzibye mangu. This is the last day of the camp ## Luno lwe lunaku olusembayo okubeera mu lusiisira luno and the youth need to get up early the next morning. ## era abavubuka kyali kibeetaagisa okuzuukuka amangu enkeera. Before they disperse, Anton asks: ## Naye bwebaali tebanayawukana Anton kwe kubuuza nti, "Are we going to evolve more?" ## “Tuneeyongera okukyukakyuka?” I don't know what will happen to us physically ## Simanyi kigenda kututuukako mu mibiri in the thousands upon thousands of years to come, ## mu myaka enkumi n’enkumi egijja. But one thing is for sure. ## Naye ekintu kimu kye kijja okututuukako. We will evolve spiritually. ## Tujja kukyukakyuka mu by’omwoyo. The Guardian has said that ## Omukuumi yagamba nti the distinguishing function of the Revelation of Bahá'u'lláh ## omulimu omutongole ogw’Okubikkulirwa kwa Bahá'u'lláh is to call into being a new race of men. ## kwe kuleetawo ekika ky’abantu ekiggya. We will talk more about this tomorrow before we leave. ## Kino tujja kwongera okukyogerako enkya nga tetunaba kusiimbula. She then gives them the following quotations to memorize: ## Bwatyo n’abawa okukwata obukusu ebyawandiikibwa bino wammanga: Look at the world and ponder a while upon it, ## Mutunulire ensi era mugifumiitirizeeko. It unveileth the book of its own self before thine eyes ## Ebikula ekitabo kyayo mu maaso gammwe and revealeth that which the Pen of thy Lord, ## era n’eyolesa ebyo Akafumu ka Mukama wammwe, the Fashioner, the All-Informed, hath inscribed therein. ## Omubumbi, Amanyi-Byonna, bye yawandika mu yo. It will acquaint thee with that which is within it ## Ejja kubamanyisa n’ebyo ebigirimu n’ebigiriko and upon it and will give thee such clear explanations ## era ejja kubannyonnyola bulungi mu ngeri etegeerekeka as to make thee independent of every eloquent expounder. ## era ebafuule abeetongodde okuva ku abo bonna abamanyi okunnyonnyola obulungi. O Son of Man! ## Owange Ggwe Omwana w’Omuntu! Veiled in My immemorial being ## Nga neekisizza Nze mu mbeera Yange etalimanyibwa and in the ancient eternity of My essence, ## era ne mu nnono Yange ey’eddanedda lyonna, I knew My love for thee, ## nnamanya okwagala kwange Nze eri ggwe; therefore I created thee, ## noolwekyo nakutonda ggwe, have engraved on thee Mine image ## ne nkulambako ekifaananyi kyange Nze and revealed to thee My beauty. ## era ne nkubikkulira obubalagavu Bwange. Turn thy sight unto thyself ## Weekebere ggwe wennyini, that thou mayest find Me standing within thee, ## bwotyo olyoke ondabe Nze nga nnyimiridde munda mu ggwe, mighty, powerfül and self-subsisting. ## n’amaanyi, obuyinza era nga nneemalirira. The next morning, the youth wake up early. ## Enkeera abavubuka baazuukukaa bukyali. They wash in the facility nearby ## Ne banaabira awo mu binaabiro ebiri okumpi and then gather for dawn prayers. ## ne balyoka bakuŋŋaana mu kusaba okw’amatulutulu. As they each chant prayers from memory, ## Buli omu nga ayimba essaala gy’amanyi mu mutwe, the air is filled with the sweetness of their voices. ## amaloboozi gaabwe amasenekerevu ne gawulirwa wonna. It is Natalia Petrovna who breaks the silence that follows: ## Natalia Petrovna ye yasooka okwogera oluvannyuma lw’akasiriikiriro akaddako, nagamba nti, The sun has just risen ## Enjuba yakavaayo and is beginning to warm us. ## era tutandise okuwulira akabugumu. The sun gives us life. ## Enjuba etuwa obulamu. The prayers you just chanted open the doors ## Essaala ze mwakayimba ziggulawo enzigi for the rays of the Sun of Truth ## ez’ekitaangaala ky’Enjuba ey’Amazima to reach us and give life to our souls. ## okututuukako era n’okuwa emyoyo gyaffe obulamu. Yesterday, we ended our discussion of evolution ## Eggulo, twamalirizza okukubaganya ebirowoozo byaffe ku nkyukakyuka by thinking about some statements of 'Abdu'l-Bahá ## nga tulowooza ku bimu ku byayogerwa 'Abdu'l-Bahá on how the spirit of man manifests itself in this world. ## ku ngeri omwoyo gw’omuntu gye gweyolesa mu nsi eno. In other passages 'Abdu'l-Bahá tells us that ## Mu bitundu by’emboozi ebirala 'Abdu'l-Bahá atugamba nti, there are five degrees of spirit: ## waliwo emitendera etaano egy’omwoyo: vegetable, animal, human, ## ebimera, ebisolo, omuntu, the spirit of Faith and the Holy Spirit, ## omwoyo gw’Okukkiriza, n’Omwoyo Omutukuvu, all of which originate from God, the creator. ## nga byonna biva eri Katonda, Omutonzi. Do you mean to say that even vegetables and animals have spirits? ## Ky'otegeeza ebimera n’ebisolo nabyo birina emyoyo? Spirit is a term that 'Abdu'l-Bahá has used ## Omwoyo kigambo 'Abdu'l-Bahá kye yakozesa to explain some very profound ideas. ## okunnyonnyola ebirowoozo ebikulu ennyo. Think of any species in the vegetable kingdom. ## Mulowooze ku kimu ku bimera mu bwakabaka bw’ebimera. It has certain powers that the mineral kingdom lacks. ## Bulina amaanyi agamu eby’obwakabaka obwe by'omu ttaka bye butalina. It can take nutrients from its environment and grow. ## Bisobola okuggya ebigimusa mu bibyetoolodde ne bikula. And its members can reproduce themselves ## Era ebika byayo bisobola okuzaala ebirala so that the species continues ## nga biva mu byo ne bibeera nga byeyongera even though the individual plants die and perish. ## okwaala wadde nga ekyasookawo kifudde oba kisaanyizibwawo. These are the powers of the vegetable spirit. ## Gano ge maanyi ag’omwoyo gw’ebimera. The animal spirit adds to these ## Omwoyo gw’ensolo gwo gugattako ku gano the power of the senses and of instinct. ## amaanyi ag’okuwulira n’okufugibwa obutonde. What animals perceive through their senses ## Ebisolo kye biraba nga biyita mu kuwulira together with their instincts ## n’okufugibwa obutonde leads them to behave in certain ways ## zibireetera okweyisa mu ngeri but without thought and volition. ## etalimu kulowooza n’ekigendererwa. Once an animal dies, of course, ## Weewaawo, ekisolo bwe kifa, all these powers disappear. ## amaanyi ago gonna gagwawo. Does this mean that animals do not have an afterlife? ## Kino kitegeeza nti, ensolo tezirina bulamu bulala nga zimaze okufa? It does. Once its physical body disintegrates, ## Bwekiri. Omubiri gw’ensolo bwe gusaanawo, there is nothing left of the animal ## tewali kisigalawo ku nsolo kyoyinza to see, to hear, to smell, and to act. ## okulaba, okuwulira, okuwunyiriza n’okubako kyezikola. But it is different with the human spirit. ## Naye kino kyanjawulo ku mwoyo gw’omuntu. The powers that we possess ## Amaanyi ge tulina belong not only to our bodies but also to our souls. ## si ga mibiri gyaffe gyokka naye ne ku myoyo gyaffe. We have all the powers ## Tulina amaanyi gonna of the vegetable and animal species, ## ag’ebimera ne ag’ensolo but in addition, we can imagine, we can think, ## naye okugatta kwago, tusobola okuteebereza, tusobola okulowooza, we can understand, and have the gift of speech. ## tusobola okutegeera, era tulina n’ekirabo eky’okwogera. These are all unique to the human spirit. ## Bino byonna omwoyo gw’omuntu gwokka gwe gubirina. 'Abdu'l-Bahá tells us that: ## 'Abdu'l-Bahá atugamba nti: This spirit has the power of discovery; ## Omwoyo guno gulina amaanyi ag’okuvumbula; it encompasses all things. ## gulimu ebintu byonna. All these wonderful signs, these scientific discoveries, ## Obubonero obwo bwonna obw’ekyewuunyo, ebyo byonna ebivumbuddwa ssaayansi, great enterprises and important historical events ## ebikolebwa eby’amaanyi era n’ebyafaayo eby’omugaso which you know are due to it. ## bye mumanyi biva mu gwo. One of the powers we possess as human beings ## Erimu ku maanyi ge tulina ng’abantu is that of consciousness. ## ge maanyi ag’okutegeera. An animal may be slightly aware of what goes on around it, ## Ekisolo kisobola okutegeerako katono ku ebyo ebigenda mu maaso, but it is not conscious even of its own actions ## naye tekitegeera n’akatono ku ebyo byekikola, which are completely guided by instinct. ## kubanga bino kibikola lwa kufugibwa butonde obuli mu kyo. Not only are we aware of what happens in our surroundings ## Tetutegeera ebyo byokka ebitwetoloodde but our consciousness reaches things far in the universe. ## naye n’okutegeera tutegeera ebintu ebiri ewala nnyo mu lubaale. We are also conscious of our own feelings and thoughts, ## Era tutegeera engeri gye tuwuliramu n’okulowooza, and of the consequences of our actions. ## era n’ebinaatujjuuttuka okuva ku neeyisa yaffe. Complete the sentences below with one of the phrases ## Malayo emboozi zino wammanga n’emu ku mboozi from the list that follows: ## eziri ku lukalala eziwandiikiddwa wammanga: When we are aware that unity is the cause of progress ## Bwe tumanya nti obumu y’ensibuko y’enkulaakulana When we become aware of a mistake we have made ## Bwe tutegeera ensobi gye tukoze When we become aware that our soul will continue to live after physical death ## Bwe tutegeera nti omwoyo gwaffe gujja kusigalawo nga emibiri gyaffe gimaze okufa When we are aware of the shortness of our life in this world ## Bwe tumanya obumpi bw’obulamu bwaffe ku nsi kuno When we are aware that God has created all us from the same substance ## Bwe tumanya nti fenna Katonda yatutonda okuva mu bbumba ly’erimu When we are aware of the feelings of our friends ## Bwe tutegeera engeri banaffe gye bawuliramu When we are aware of God's infinite mercy and compassion ## Bwe tutegeera okusaasira n’okulumirirwa kwa Katonda okutakoma When we are aware of God's justice ## Bwe tutegeera obwenkanya bwa Katonda we will prepare ourselves for the next world ## Tujja kwetegeekera ensi eriddako by developing spiritual qualities. ## nga tukulaakulanya embeera zaffe ez’omwoyo. we will try not to repeat the same mistake in the future. ## Tujja kugezaako obutaddamu nsobi ze zimu mu biseera eby’omu maaso. we will not become too attached ## Tetujja kwemalira nnyo to the pleasures of this world ## ku massanyu ag’ensi eno or too saddened by its misfortunes. ## oba okunakuwalira ennyo emikisa emibi ebigirimu. we will strive to be kind and compassionate to all. ## Tujja kulafubana okubeera ab’ekisa era n’okusaasira buli omu. we will be considerate towards them. ## Tujja kubabudaabuda. we will strive to be just in all our dealing. ## Tujja kulafubana okubeera abeenkanya mu byonna byetukola. we will not exalt ourselves over anyone. ## Tetujja kweggulumiza ku muntu yenna. we will try to avoid conflict at all costs. ## Tujja kugezaako okwewala embiranye mu ngeri yonna. One thing we should not be too conscious of is our "self". ## Ekintu ekimu kye tutasaana kulowoozaako nnyo kwe “kwerowoozaako.” Discuss in your group the following: ## Mukubaganye ebirowoozo mu kibiina kyammwe ku bino wammanga: What will happen to us ## Kiki ekinatutuukako if we keep thinking about our own shortcomings? ## bwe tubeera nga tulowooza ku nsobi zaffe buli kiseera? Of things we cannot do well? ## Ku ebyo bye tutasobola kukola bulungi? Of our own likes and dislikes? ## Ku ebyo bye twagala ne bye tutayagala? What will happen to us ## Kiki ekinatutuukako if we keep thinking about how strong we are, how smart we are, ## bwe tubeera nga tulowooza ku maanyi ge tulina, nga bwe tutegeera ennyo, how good we are, how well we do things? ## nga bwe tuli abalungi, nga bwe tukola obulungi ebintu? So, it is the human spirit ## Kitegeeza nti omwoyo gw’omuntu that makes us different from the rest of creation, ## gwe gutwawula ku bitonde ebirala. That is why we can talk, we can think, ## Ye nsonga lwaki tusobola okwogera, tusobola okulowooza, we can study and learn. ## tusobola okusoma n’okuyiga Exactly, Abdu'l-Bahá tells us that ## Bwekiri. 'Abdu'l-Bahá atugamba nti, mind is the power of the human spirit. ## emmeeme ge maanyi ag’omwoyo gw’omuntu. Spirit is the lamp; ## Omwoyo ye ttabaaza, mind is the light which shines from the lamp. ## emmeeme kitangaala ekyaaka okuva ku ttabaaza. Spirit is the tree, and the mind is the fruit. ## Omwoyo gwe muti, era emmeeme kye kibala. Mind is the perfection of the spirit, ## Emmeeme kwe kutuukirira kw’omwoyo, and is its essential quality, ## era kye kyetaago ekisookerwako, as the sun's rays are the essential necessity of the sun. ## ng’omusana bwe gufuula enjuba ekyetaago. If the mind is the power of the human spirit, ## Emmeeme bwebeera nga ge maanyi g’omwoyo gw’omuntu, how is it that people use their minds ## kijja kitya ate abantu okukozesa emmeeme zaabwe to make weapòns and destroy lives? ## ne bakola eby’okulwanyisa n’okuzikiriza obulamu? There are a lot of intelligent people ## Waliwo abantu bangi abagezi who are mean, selfish, and cruel, ## naye nga bakodo, berowoozaako bokka era nga bakambwe. adds Anton. ## Anton nayongerezaako nti, There are a couple of students in my class ## Mu kibiina kyange mulimu abayizi babiri who think they are very clever, ## abalowooza nti bagezi nnyo, because they can cheat without getting caught, ## kubanga basobola okubira ne batakwatibwa. It is true, We can use ## Kituufu, tusobola okukozesa the powers of the human spirit for good or bad. ## amaanyi g’omwoyo gw’omuntu okukola ekirungi oba ekibi. Our mind, which is the most amazing gift God has given us, ## Emmeeme yaffe, nga ky’ekirabo ekisingira ddala eky’ekitalo Katonda kye yatuwa, can be used for selfish purposes, for wars, ## kisobola okukozesebwa ku bigendererwa eby’okwerowoozaako, ku by’entalo, for the destruction of environment; ## okwonoona obutonde bw’ensi; or it can be used to solve the problems of humanity ## oba esobola okukozesebwa okugonjoola emitawaana mu bantu and to advance peoples and societies. ## era n’okukulaakulanya abantu n’ebitundu mwe bali. In other words, the power of our mind can be ## Kwe kugamba, amaanyi g’emmeeme yaffe gasobola okubeera an instrument of our higher or lower nature. ## ekikozesebwa ku lw’embeera yaffe eyawaggulu oba eyawansi. Do you remember we discussed in one of our meetings ## Mujjukira bwe twayogerako mu kibiina kyaffe ekimu our higher and lower natures? ## ku mbeera yaffe eyawaggulu n’eyawansi? I remember we talked about how we can abase ourselves, ## Nzijukira bwe twagamba nti omuntu ayinza okwefebya, even though we have been created noble, ## newaakubadde nga twatondebwa nga tuli bakungu. Yes, that is why the human spirit has ## Yee, ye nsonga lwaki omwoyo gw’omuntu gulina to be illumined by the spirit of faith, ## okutaangazibwa n’omwoyo gw’okukkiriza. concludes Natalia. ## Natalia nakomekkereza nti, This happens when we recognize the Manifestation of God ## Kino kituukawo bwe tutegeera Oyo Eyayolesebwa Katonda and obey His teachings. ## era ne tugondera enjigiriza Ze. It is only then that the human spirit can be guided ## Mu ngeri eyo yokka omwoyo gw’omuntu mwe gusobolera okuluŋŋamizibwa to develop its spiritual powers ## okukulaakulanya amaanyi gaagwo ag’omwoyo and use them for the progress of civilization. ## era n’okugakozesa okutwala obugunjufu mu maaso. Without the spirit of Faith, ## Awatali mwoyo gw’Enzikiriza, human beings can use their intellect ## abantu basobola okukozesa okutegeera kwabwe and free will to commit the most terrible acts. ## n’okwesalirawo okuzza emisango egisingira ddala obubi. When our intellect is an instrument of our higher nature, ## Emmeeme yaffe bwebeera ekyeyambisibwa embeera yaffe ey’omwoyo, its powers are focused on solving the problems ## amaanyi gaayo gemalira ku kumalawo ebizibu that millions of people face today, ## abantu obukadde n’obukadde byebalimu olwaleero rather than concentrating only on personal gain. ## mu kifo ky’okumala amaanyi gaffe ku bintu byetugannyulwamu byokka. In each of the following pair of possible goals, ## Mu buli kiruubirirwa ekisoboka mu biribiri wammanga, which would you consider worthier ## olowooza kiriwa ekyandisaanidde for the human intellect to pursue? ## emmeeme y’omuntu okufaako ennyo? Discovering cures for diseases that afflict humanity ## Okuvumbula ebivumula endwadde ezicoccacocca abantu Discovering techniques to keep people youthful looking ## Okuvumbula okukozesa obukoddyo obugenda okulabisa abantu ng’abavubuka from which an enormous amount of money can be made ## omusobola okufunibwamu ssente ennyingi. Finding ways to bring electricity and clean water ## Okulaba engeri ey’okubunyisamu amasanyalaze n’amazzi amayonjo to the areas of the world that lack them ## mu bitundu by’ensi mwe bitali Constructing huge high-rise buildings to sell at high price ## Okuzimba ebizimbe gaggadde ebiwanvu ennyo ne bitundibwa ku ssente obuwanana Inventing newer and more sophisticated forms of entertainment for young people ## Okuyiiya ebika by’ebinnyumu ebipya era eby’omulembe ennyo ku lw’abavubuka. Training thousands upon thousands of teachers ## Okutendeka abasomesa enkumi n’enkumi okusomesa for parts of the world with scarce educational resources ## mu bitundu by’ensi ebirimu eby’enjigiriza ebitono. Natalia Petrovna gives to each of the youth a copy of the following quotation ## Natalia Petrovna akwasa buli muvubuka ekyawandiikibwa kino wammanga and asks them to read it ## n’abasaba bakisome and discuss its meaning: era bakubaganye ebirowoozo ku makulu gaakyo: The fourth degree of spirit is the heavenly spirit; ## Omutendera gw’omwoyo ogw’okuna, gwe mwoyo ogw’omu ggulu; it is the spirit of faith and the bounty of God; ## gwe mwoyo ogw’okukkiriza n’ekisa kya Katonda; it comes from the breath of the Holy Spirit, ## kiva mu mukka ogw’Omwoyo Omutukuvu, and by the divine power it becomes the cause of eternal life. ## era olw’amaanyi ag’obwa Katonda gufuuka ensibuko y’obulamu obutagwaawo. It is the power which makes the earthly man heavenly, ## Ge maanyi agafula omuntu ow’ensi okubeera ow’omu ggulu, and the imperfect man perfect. ## n’omuntu atali mutuukirivu gamufuula omutuukirivu. It makes the impure to be pure, ## Gafuula ekitali kirongoofu okubeera ekirongoofu, the silent eloquent; ## omusirise okubeera omwogezi, it purifies and sanctifies ## galongoosa era n’okutukuza those made captive by carnal desires; ## abo abawambiddwa okwegomba okw’omubiri; it makes the ignorant wise. ## gafuula abatamanyi okubeera abagezi. Spirit of Faith is the power ## Omwoyo gw’okukkiriza ge maanyi that makes the earthly man heavenly, ## agafuula omuntu ow’ensi okubeera ow’omu ggulu. And the imperfect man perfect, ## Atali mutuukirivu okubeera omutuukirivu. It makes the Impure to be pure, ## Atali mulongoofu okubeera omulongoofu And the silent eloquent, ## Omusirise okubeera omwogezi. It purifies and sanctifies those made captive by carnal desires, ## Galongoosa era gatukuza abo abawambiddwa okwegomba okw’omubiri. reads Vadik with some difficulty. ## Vadik ye n’asoma naye nga bimukalubiriramu nti It makes the ignorant wise, ## Abatamanyi bafuuka abagezi. What does it mean for an earthly man to become heavenly? ## Kitegeeza ki omuntu ow’ensi okufuuka ow’omu ggulu? Well, it couldn't mean that we become aliens from another planet, ## Kale, tekisoboka kutegeeza nti tufuuka bannagwanga abava mu nsi endala. says Boris humorously. ## Boris mu ngeri ey’okusaaga naddamu nti, Or that we will develop wings, ## oba nti tulimerako ebiwaawaatiro. continues Nadya with a laugh. ## Nadya ye nayongerako nga bw’aseka nti, But it can make a new race of men out of us, ## Kisobola okutandawo abantu ab’ekika ekipya okuva mu ffe. Human spirit alone, no matter how much we develop, ## Omwoyo gw’omuntu gwokka si nsonga ne bwe tukulaakulana tutya, cannot make of us anything more than an intelligent species. ## teguyinza kutufuula kintu kirala kyonna okuggyako okubeera oluse olugezi. It is through belief in God ## Okuggyako nga tukkiririza mu Katonda and His Manifestations ## n’abo Abayolesebwa Be that we become aware of our nobility, ## mwe tusobolera okutegeera obukungu bwaffe, become convinced that we are spiritual beings ## n’okubeera abamativu nti tuli bitonde eby’omwoyo. God's lamps, God's dominion and His treasury, ## ettabaaza za Katonda, obwakabaka bwa Katonda era n’amawanika Ge, saplings which He has planted with the hand of Loving kindness. ## endokwa zasimbye n’omukono ogw’ekisa eky’Okwagala I know how the spirit of faith ## Nkimanyi engeri omwoyo gw’okukkiriza can make an ignorant person wise. ## bwe guyinza okufuula omuntu omubuya okubeera omugezi. Without the help of the spirit of faith, ## Awatali kuyambibwa mwoyo gw’okukkiriza, even a person who is very intelligent and smart ## wadde omuntu omugezi ennyo omulabufu could do things to hurt others. ## asobola okukola ebintu ebikosa abalala. Isn't a person like that ignorant? ## Omuntu bwatyo tabeera mubuya? Yes, the Spirit of Faith opens our eyes ## Yee, omwoyo gw’okukkiriza guzibula amaaso gaffe and gives us a special wisdom, ## ne gutuwa amagezi ag’enjawulo, the wisdom to see the material and spiritual rewards ## amagezi agatusobozesa okulaba ebirabo byetufuna okuva mu by’ensi n’ebyomwoyo that come from obeying God's teachings ## nga tugondera eby’enjigiriza bya Katonda and the sad consequences of disobedience, ## era n’ebinaatujjuuttuka eby’ennaku nga tumujjeemedde. There is much misunderstanding ## Waliwo obutategeeragana bungi about the meaning of wisdom and intelligence. ## obukwata ku makulu g’amagezi n’okutegeera. For example, some consider it smart to know how ## Ekyokulabirako, abantu abamu balowooza nti ky’amagezi to commit an unlawful act without getting caught. ## okukola ekimenya amateeka n’otakwatibwa. Wisdom, however, implies seeing the lasting joy ## Weewaawo, amagezi kitegeeza okuwangalira mu ssanyu that is the reward of pure deeds, ## nga livudde ng’ekirabo eky’ebikolwa ebirongoofu, even when they are unpopular, ## ne bwebibeera nga tebisanyusa balala, and being aware of the consequences of wrongdoing. ## era n’okumanya ebinaatujjuuttuka nga tukoze ebibi. Which of the following do you associate with a wise person? ## Ku bino wammanga biruwa ebituukirira ku muntu omugezi? Gaining knowledge and being fond of learning ## Okweyongera amagezi n’okwagala nnyo okuyiga Showing off what one knows ## Okweragalaga olw’ebyo bye tumanyi Pretending to know a lot ## Okwefuula nti tumanyi nnyo Having a pure heart without malice and envy ## Okubeera n’omutima omulongoofu ogutalimu bukyayi n’obuggya Being in competition with everyone ## Okubeera mu kuvuganya na buli omu Assisting others to succeed ## Okuyamba abalala okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe Knowing how to deceive people without them finding out ## Okufuna engeri ey’okulimba abantu nga bo tebagizudde Taking responsibility for one's mistakes ## Omuntu okutwala obuvunaanyizibwa ku nsobi ze yakoze and trying not to repeat them ## n’okugezaako obutadda mu nsobi ze zimu. Showing genuine kindness towards others ## Okulaga ekisa ekya nnamaddala eri abalala Showing kindness only when it is to one's advantage ## Omuntu okulaga ekisa bwabeera nga alina byagenda okugannyulwamu. Showering others with flattery ## Okudyekadyeka abalala Knowing how to control others ## Okumanya engeri gyetufugamu abalala Being honest with people without hurting them ## Okubeera ab’amazima eri abantu naye nga tetubalumizza Being frank even if it offends people ## Okwogeera kati ne bwekibeera nga kinyiiza abantu abalala Taking risks in order ## Okwegabula okusobola to have momentary excitement and pleasure ## okufuna essanyu ery’akaseera obuseera n’okweyagala Fearing the consequences of disobedience to the laws of God ## Okutya ebinaatujjuuttuka olw’obutagondera amateeka ga Katonda Listening to the advice of those with more experience ## Okuwuliriza ku magezi agatuweebwa abantu abatusingako obumanyirivu Listening to idle talk ## Okuwuliriza eŋŋambo ezitayamba and being influenced by it ## era ne tutwalibwa ebyo ebyogeddwa Reading the sacred Writings ## Okusoma ebyawandikiibwa ebitukuvu and trying to understand them ## ne tugezaako okubitegeera Ivan, who has been quiet for the longest time, ## Ivan, eyali asirise okusinga banne ekiseera ekiwanvu, and has been listening attentively, ## naye nga awuliriza n’obwegendereza, suddenly asks, ## amangu ago nabuuza nti, But not all people who do not believe in God are ignorant. ## Naye si buli muntu atakkiririza mu Katonda nti abeera talina kyamanyi. One of my friends does not believe in God, ## Omu ku mikwano gyange takkiririza mu Katonda, but he is a good person. ## naye nga muntu mulungi. That is true ## Ekyo kituufu, But you need to keep in mind that the teachings of God ## naye ky’olina okumanya kiri nti buli omu akwatibwako enjigiriza za Katonda influence everyone even those who may not believe in Him. ## wadde nabo abayinza okubeera nga tebamukkiririzaamu Ye. So, for example, people know today ## Eky’okulabirako, bwebatyo abantu enaku zino bamanyi that justice is good and cruelty is bad, ## nti obwenkanya bulungi era nti obukambwe bubi, that it is praiseworthy to be truthful ## era nti kya ttendo okubeera owamazima and it is beneath the dignity of man to deceive. ## nti era kityoboola ekitiibwa ky’omuntu okulimba. Where have they learned these things? ## Bino babiyigira wa? From the Manifestations of God? ## Okuva ku abo Aboolesebwa ba Katonda? Even if they don't recognize Him? ## Ne bwe babeera nga tebamukkiririzaamu Ye? Vera looks doubtful ## Vera alabika nga abuusabuusa nabuuza nti, Yes, when a Manifestation of God appears, ## Yee, oyo Eyayolesebwa Katonda bw’alabika, His teachings gradually transform society. ## enjigiriza Ze mpolampola zikyusa abantu. 'Abdu'lBahá says: 'if you reflect justly, ## ‘Abdu’l-Bahá agamba nti: ‘bw’ofumiitiriza n’obwenkanya, you will see that these good actions of other men ## ojja kulaba nti ebikolwa ebyo ebirungi eby’abantu abalala who do not know God ## abatamanyi Katonda are also fundamentally caused by the teachings of God ## ekikulu ekisinga okubileeta z’enjigiriza za Katonda that is to say, that the former Prophets ## kwe kugamba nti, Bannabbi abasooka led men to perform these actions, ## baaluŋŋaamya abantu okweyisa mu ngeri ezo, explained their beauty to them, ## ne babannyonnyola obulungi bwabyo, and declared their splendid effects; ## era ne balangirira ebibivaamu ebirungi; then these teachings were diffused ## bwebityo ebyayigirizibwa bino byasaasaanira mu bantu among men and reached them successively, ## ne bibatuukako mu ngeri ey’omuddiriŋŋanwa, one after the other, ## emu ku emu, and turned their hearts toward these perfections. ## era ne kikyusa emitima gyabwe eri obulongoofu buno. Just think — it has taken millions of years ## Fumiitiriza – kitute emyaka obukadde na bukadde for life to evolve on earth, ## obulamu okugenda nga bukyukakyuka ku nsi, and after creating us through physical evolution, ## oluvannyuma lw’okututonda nga tuyita mu nkyukakyuka ez’omubiri, God sent us His Manifestations ## Katonda yatuweereza Aboolesebwa Be from time to time to educate us. ## buli kiseera okutuyigiriza ffe. So, as a result of the influence of the teachings of God, ## Bwekityo, ekyavaamu mu kukwatibwaako olw’enjigiriza za Katonda, human thought and consciousness has gradually evolved ## okulowooza n’okutegeera kw’omuntu bigenze bikyukakyuka mpolampola and will continue to do so.' ## era bwebityo bwebijja okweyongera. The Spirit of Faith can illumine the spirit of man ## Omwoyo gw’okukkiriza gusobola okumulisa omwoyo gw’omuntu to such an extent that it will dissipate ## okutuusa lwe kunamalawo the darkness of superstition and prejudice ## enzikiza y’okuwanuuza ne kyekuubira from hearts and minds. ## okuva mu mitima n’emmeeme. Below are two examples of prejudice and superstitious belief ## Wammanga waliwo eby’okulabirako bibiri ekya kyekuubira n’okukkiririza mu byobutaliimu that the teachings of Bahá'u'lláh eradicate. ## ebimalibwaawo enjigiriza za Bahá'u'lláh. Mention some other examples of which you are aware: ## Leetayo eby’okulabirako ebirala by’omanyi Belief in the superiority of men over women ## Okukkiririza nti omusajja ali waggulu w’omukazi Belief in the power of a curse ## Okukkiririza mu maanyi ag’ekikolimo Natalia Petrovna distributes the following passages ## Natalia Petrovna agabira abavubuka ebyawandikiibwa bino wammanga among the youth and asks them to read the quotes aloud ## era n’abasaba okubisoma mu maloboozi agawulikika and to help each other to memorize them. ## era n’okuyambagana okubikwata obukusu ...the human spirit, unless assisted by the spirit of faith, ## …omwoyo gw’omuntu, okuggyako nga guyambibwa omwoyo gw’okukkiriza, does not become acquainted ## tegusobola kumanya with the divine secrets and the heavenly realities. ## ebyaama ebitukuvu n’ennono ey’omu ggulu. This spirit of faith is the flame of reality, ## Omwoyo gw’okukkiriza guno gwe muliro ogw’amazima, the life of humanity and the cause of eternal illumination. ## bwe bulamu bw’abantu era y’ensibuko y’ekitangaala eky’olubeerera. It inspires man to attain the virtues ## Kikubiriza omuntu okufuna empisa ennungi and perfections of the divine world. ## era n’obutuukirivu obw’omu nsi ya Katonda. Wert thou to attain to but ## Singa obadde ofunye wakiri a dewdrop of the crystal waters of divine knowledge, ## ettondo lya ssuulwe w’amazzi agatukula ag’okumanya okutukuvu, thou wouldst readily realize that true life ## wanditegeereddewo nti obulamu obwannamaddala is not the life of the flesh but the life of the spirit. ## si bwe bulamu obw’omubiri wabula obulamu obw’omwoyo. For the life of the flesh is common to both men and animals, ## Kubanga obulamu obw’omubiri bwa lukaale eri abantu n’ebisolo, whereas the life of the spirit is possessed only by the pure in heart ## so nga ate obulamu obw’omwoyo buli mu abo bokka abalina omutima omulongoofu who have quaffed from the ocean of faith ## abamaze okukattankira okuva mu ssemayanja ey’okukkiriza and partaken of the fruit of certitude. ## era ne balya ekibala eky’obukakafu. This life knoweth no death, ## Obulamu buno tebumanyi kufa, and this existence is crowned by immortality. ## era n’okubeerawo kuno kunaanikibwa obutaffa. The youth pack their tents and get prepared for leaving. ## Abavubuka bazingako weema zaabwe ne beetegekera okuddayo ewaabwe. They have a light lunch ## Balya eky’emisana enkyangungu before getting on the bus to go to back. ## nga tebannalinnya baasi ebazzaayo. As the bus passes by long stretches of forest, ## Baasi bwe yagendanga eyita mu bifo eby’ekibira ebiwanvu, Ivan's thoughts drift back to the evening ## ebirowoozo bya Ivan be biddayo emabega ku kawungeezi when he asked Natalia Petrovna the question: ## lwe yabuuliza Natalia Petrovna ekibuuzo kino: How can we forget what it means be a human being? ## Tuyinza tutya okwerabira amakulu agali kubeera omuntu? He goes over the themes they have covered in the last few meetings: ## Agenda yejjukanya emiramwa gye baali bamaze okuyigako mu nkuŋŋana zaabwe entonotono ezaasembayo: nobility; the two natures of the human being; ## ekitiibwa; ennono z’omuntu ez’emirundi ebbiri; free will; destiny; ## okwesalirawo; entuuko; the power of the intellect; evolution; ## amaanyi g’obwongo; enkyukakyuka, and finally, the Spirit of Faith, ## era n’ekisembayo, emwoyo ogw’okukkiriza which gives meaning to everything. ## ogunnyonnyola amakulu agali mu buli kintu. He rests his forehead against the glass of the window for a moment ## Amala akaseera ng’ekyenyi kye akyesigamizza endabirwamu y’eddirisa lya baasi and closes his eyes. ## era n’azibiriza. He feels his heart being drawn to Bahá'u'lláh and wonders ## Awulira ng’omutima gwe gusikirizibwa eri Bahá'u'lláh era ne yeebuuza mu kwewuunya nti, How would I even know what it means ## Nandibadde kale mmanya ntya amakulu agali mu to be a true human being without His Teachings? ## kubeera omuntu omutuufu awatali Njigiriza Ze?