– 6 – In the name of Him Who hath cast His splendour over the entire creation! Mu linnya ly’Oyo abuutikidde obutonde bwonna n’ekitiibwa Kye! 1 The Divine Springtime is come, O Most Exalted Pen, for the Festival of the All-Merciful is fast approaching. Bestir thyself, and magnify, before the entire creation, the name of God, and celebrate His praise, in such wise that all created things may be regenerated and made new. Speak, and hold not thy peace. The day-star of blissfulness shineth above the horizon of Our name, the Blissful, inasmuch as the kingdom of the names of God hath been adorned with the ornament of the name of thy Lord, the Creator of the heavens. Arise before the nations of the earth, and arm thyself with the power of this Most Great Name, and be not of those who tarry. 1 Ekiseera Ekitukuvu eky’Okusiga kituuse, Ayi Ggwe Akafumu Akasingira ddala Okugulumizibwa, kubanga Ekijaguzo ky'Oyo Omusaasizi wa byonna kibindabinda. Golokoka, era ozimbulukuse, mu maaso g’obutonde bwonna, erinnya lya Katonda, era ojaguze ettendo Lye, bwebityo ebitonde byonna biryoke bizzibwe obuggya era bifuuke biggya. Yogera, era tosirika. Enjuba ey’essanyu eringi eyaka waggulu w'olukungirizi lw’erinnya Lyaffe, Abasanyufu Ennyo, kubanga obwakabaka bw'erinnya lya Katonda bwambaziddwa n’ekyambalo ky'erinnya lya Mukama wo, Omutonzi w'ensi ez’omu ggulu. Golokoka eri amawanga ag’ensi, era weenyweze n’amaanyi g'Erinnya lino Erisingira ddala Obukulu, era tobeera omu ku abo abeekunya. 2 Methinks that thou hast halted and movest not upon My Tablet. Could the brightness of the Divine Countenance have bewildered thee, or the idle talk of the froward filled thee with grief and paralysed thy movement? Take heed lest anything deter thee from extolling the greatness of this Day—the Day whereon the Finger of majesty and power hath opened the seal of the Wine of Reunion, and called all who are in the heavens and all who are on the earth. Preferrest thou to tarry when the breeze announcing the Day of God hath already breathed over thee, or art thou of them that are shut out as by a veil from Him? 2 Nze ndowooza nti osikatidde era tokyaseetuka ku Kiwandiiko Kyange. Kiyinzika okubeera nti okusamasamasa kw’Obwenyi Obutukuvu bwe bukutabuddetabudde, oba emboozi ez’obutaliimu ez’abeempansi ze zikunakuwazizza n’okusannyalaza okuseetuka kwo? Weegendereze si kulwa nga ekintu kyonna kikuziyiza okusuuta obukulu bw’Olunaku luno – Olunaku Engalo ey’ekitiibwa n’amaanyi lwe yasumululirako envumbo y’Envinnyo y’Okuddiŋŋana, era n’ekoowoola abo bonna abali ku nsi. Olonzeewo okusikattira nga empewo empeweevu ezirangirira Olunaku lwa Katonda zimaze okukufuuwako, oba naawe oli mu abo olutimbe be luggalidde ebweru n’otosobola okumulaba Ye? 3 No veil whatever have I allowed, O Lord of all names and Creator of the heavens, to shut me from the recognition of the glories of Thy Day—the Day which is the lamp of guidance unto the whole world, and the sign of the Ancient of Days unto all them that dwell therein. My silence is by reason of the veils that have blinded Thy creatures’ eyes to Thee, and my muteness is because of the impediments that have hindered Thy people from recognizing Thy truth. Thou knowest what is in me, but I know not what is in Thee. Thou art the All-Knowing, the All-Informed. By Thy name that excelleth all other names! If Thy overruling and all-compelling behest should ever reach me, it would empower me to revive the souls of all men, through Thy most exalted Word, which I have heard uttered by Thy Tongue of power in Thy Kingdom of glory. It would enable me to announce the revelation of Thy effulgent countenance wherethrough that which lay hidden from the eyes of men hath been manifested in Thy name, the Perspicuous, the sovereign Protector, the Self-Subsisting. 3 Teri lutimbe lwa ngeri yonna Nze lwe mpadde omwaganya, Ayi Mukama ow’amannya gonna era Omutonzi w’ensi z’omu ggulu, okunziyiza okutegeera ebitiibwa by’Olunaku Lwo – Olunaku olwo nga ye ttabaaza y’okuluŋŋamizibwa – eri ensi yonna, era akabonero k’Oyo ow’Ennaku ez’Eddanedda eri abo bonna abagibeeramu. Akasiriikiriro kange kavudde ku ntimbe ezizibye amaaso g’ebitonde Byo ne bitakulaba Ggwe, era n’obutabaako kye njogera kivudde ku miziziko egirobedde abantu Bo okutegeera amazima Go. Ggwe omanyi ekiri mu nze, naye nze simanyi ekiri mu Ggwe. Ggwe Oyo Amanyi-byonna, Ategeera-byonna. Ndayira ku lw’erinnya Lyo erisinga amalala gonna! Ekiragiro Kyo ekisukkulumu era eky’amaanyi-gonna bwe kirimala ne kintuukako, kyandimpadde obusobozi okusisimula emyoyo gy’abantu bonna, nga mpita mu Kigambo Kyo ekisinga okugulumizibwa, kye mpulidde nga kyogerwa Olulimi Lwo olw’amaanyi mu Bwakabaka Bwo obw’ekitiibwa. Kyandinsobozesezza okulangirira okubikkulirwa kw’obwenyi Bwo obumasamasa nga omwo ekyo ekibadde ekikusike eri amaaso g’abantu kimaze ne kyolesebwa mu linnya Lyo, Omulambulukufu, Omukuumi ow’okuntikko, Eyeebeezaawo-Mwene. 4 Canst thou discover any one but Me, O Pen, in this Day? What hath become of the creation and the manifestations thereof? What of the names and their kingdom? Whither are gone all created things, whether seen or unseen? What of the hidden secrets of the universe and its revelations? Lo, the entire creation hath passed away! Nothing remaineth except My Face, the Ever-Abiding, the Resplendent, the All-Glorious. 4 Toyinza kuzuula mulala yenna okuggyako Nze, Owange ggwe Akafumu, mu Lunaku luno? Kiki ekituuse ku bitonde n’okwolesebwa kwabyo? Ate amannya n’obwakabaka bwago? Ebitonde byonna bibulidde wa, bibeere ebyo ebirabika oba ebitalabika? Ate olwo ebyama ebikusike eby’ensi yonna n’okubikkulirwa kwayo? Laba, obutonde bwonna buweddewo! Teri kisigaddewo okuggyako Obwanga Bwange, Abeerawo-bulijjo, Ayakaayakana, Oweekitiibwa-kyonna. 5 This is the Day whereon naught can be seen except the splendours of the Light that shineth from the face of Thy Lord, the Gracious, the Most Bountiful. Verily, We have caused every soul to expire by virtue of Our irresistible and all-subduing sovereignty. We have, then, called into being a new creation, as a token of Our grace unto men. I am, verily, the All-Bountiful, the Ancient of Days. 5 Luno lwe Lunaku ekirala kyonna mwe kitasobola kulabibwa okuggyako ekitiibwa ky’Ekitangaala ekyakaayakana okuva mu maaso ga Mukama Wo, Oweekisa, Omugabirizi Asingira ddala. Ddaladdala, Ffe tulagidde buli mwoyo okuggwawo ku lw’obuyinza bw’amaanyi Gaffe agawangula byonna agataziyizibwa. Bwetutyo nno, Ffe tutadde obulamu mu butonde obuggya, nga akabonero ak’ekisa kyaffe Ffe eri abantu. Ddaladdala, Nze Omugabirizi-wa-byonna, Oyo ow’Ennaku ez’Eddanedda. 6 This is the Day whereon the unseen world crieth out: “Great is thy blessedness, O earth, for thou hast been made the footstool of thy God, and been chosen as the seat of His mighty throne.” The realm of glory exclaimeth: “Would that my life could be sacrificed for thee, for He Who is the Beloved of the All-Merciful hath established His sovereignty upon thee, through the power of His Name that hath been promised unto all things, whether of the past or of the future.” This is the Day whereon every sweet smelling thing hath derived its fragrance from the smell of My garment—a garment that hath shed its perfume upon the whole of creation. This is the Day whereon the rushing waters of everlasting life have gushed out of the Will of the All-Merciful. Haste ye, with your hearts and souls, and quaff your fill, O Concourse of the realms above! 6 Luno lwe Lunaku ensi etalabika lw’ereekaanira waggulu nti: "Omukisa gwo nga gwa kitalo nnyo, Ayi ggwe ensi, kubanga ggwe ofuuse entebe ey’ebigere bya Katonda wo, era olondeddwa nga ekitebe kya nnamulondo Ye ey'amaanyi." Obwakabaka obw'ekitiibwa bulangirira nti: "Kale singa obulamu bwange bubadde busobola okussaddaakibwa ku lulwo, kubanga Oyo Omwagalwa w'Omusaasizi wa byonna anywerezza obwakabaka Bwe ku ggwe, nga ayita mu maanyi ag'Erinnya Lye eryasuubizibwa eri ebintu byonna, bibeere ebyo ebyaliwo ebiseera eby’edda oba ebyo ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso." Luno lwe Lunaku buli kintu ekiwunya obulungi mwe kifunidde akaloosa kaakyo okuva ku kawoowo k’ekyambalo Kyange – ekyambalo ekivuddemu akawoowo akanuusiddwa obutonde bwonna. Luno lwe Lunaku amazzi agawalabuka ag’obulamu obutaggwawo lwe gafuuye n’amanyi olw’Okwagala kw’Oyo Omusaasizi-wa-byonna. Mwanguweeko mmwe, nga muli n’emitima gyammwe n’emmeeme zammwe, era mwekatankire, Abange Bamalayika ab’omu bwakabaka waggulu! 7 Say: He it is Who is the Manifestation of Him Who is the Unknowable, the Invisible of the Invisibles, could ye but perceive it. He it is Who hath laid bare before you the hidden and treasured Gem, were ye to seek it. He it is Who is the one Beloved of all things, whether of the past or of the future. Would that ye might set your hearts and hopes upon Him! 7 Gamba: Ye y’Oyo Ayoleseddwa ku lw’Oyo Atamanyiddwa, Atalabika mu abo Abatalabika, singa kino muyinza okukitegeera. Ye y’Oyo abasumululidde mu maaso gammwe Ejjinja ekkusike era ery’omuwendo, kale singa mubadde ba kulinoonya. Ye y’Oyo Omwagalwa ow’ebintu byonna, bibeere ebyo ebyayita oba eby’omu biseera eby’omu maaso. Kale singa muteeka emitima gyamme n’essuubi lyammwe ku Ye! 8 We have heard the voice of thy pleading, O Pen, and excuse thy silence. What is it that hath so sorely bewildered thee? 8 Tuwulidde eddoboozi ly’okulaajana kwo, Owange Akafumu, era ne tusonyiwa akasiriikiriro ko. Kiki ekyo ggwe ekikutabuddetabudde ennyo bwekityo? 9 The inebriation of Thy presence, O Well-Beloved of all worlds, hath seized and possessed me. 9 Ekitengo ky’okubeerawo Kwo, Ayi Omwagalwa-ennyo ow’ensi zonna, kinkutte era kinvumbagidde. 10 Arise, and proclaim unto the entire creation the tidings that He Who is the All-Merciful hath directed His steps towards the Riḍván and entered it. Guide, then, the people unto the garden of delight which God hath made the Throne of His Paradise. We have chosen thee to be Our most mighty Trumpet, whose blast is to signalize the resurrection of all mankind. 10 Golokoka, era olangirire eri ebitonde byonna amawulire nti Oyo Omusaasizi-wa-byonna alambise ebigere Bye okwolekera Riḍván era ayingidde munda mu yo. Kale nno, okulembere abantu obatuuse mu nnimiro y’okwesiima Katonda gy’afudde Nnamulondo y’Olusuku Lwe Olutukuvu. Tukulonze ggwe okubeera Ekkondeere Lyaffe erisingira ddala amaanyi, nga eddoboozi erivaamu ly’eryo ery’okulanga okuzuukira kw’abantu bonna. 11 Say: This is the Paradise on whose foliage the wine of utterance hath imprinted the testimony: “He that was hidden from the eyes of men is revealed, girded with sovereignty and power!” This is the Paradise the rustling of whose leaves proclaimeth: “O ye that inhabit the heavens and the earth! There hath appeared what hath never previously appeared. He Who, from everlasting, had concealed His Face from the sight of creation is now come.” From the whispering breeze that wafteth amidst its branches there cometh the cry: “He Who is the sovereign Lord of all is made manifest. The Kingdom is God’s,” while from its streaming waters can be heard the murmur: “All eyes are gladdened, for He Whom none hath beheld, Whose secret no one hath discovered, hath lifted the veil of glory, and uncovered the countenance of Beauty.” 11 Gamba: Luno lwe Lusuku omuli amakoola envinnyo y’ebigambo kwewandiise obujulizi: “Oyo eyali akisiddwa amaaso g’abantu abikkuliddwa, nga ayambaziddwa amaanyi n’obuyinza!” Luno lwe Lusuku omuli ebikoola nga okukwakwaya kwabyo kulangirira: “Abange mmwe abatuula mu nsi z’omu ggulu ne ku nsi eno! Waliwo ekirabise nga tekirabikangako. Oyo, okuva eddanedda lyonna, Eyali akwese Obwanga Bwe ne butalabibwa bitonde kaakano azze.” Mu mpewo empeweevu esiiya nga ekuntira mu matabi gaalwo muvaamu eddoboozi: “Oyo Mukama afuga bonna ayoleseddwa. Obwakabaka bwa Katonda,” sso nga okuva ku mazzi gaamu agakulukuta muyinza okuwulirwamu oluvuuvuumo: “Amaaso gonna gasanyusiddwa, kubanga Oyo atalabwangako, ekyama Kye ekitazuulibwanga muntu yenna, ajjeewo olutimbe olw’ekitiibwa, era abikudde obwenyi obw’Obubalagavu. 12 Within this Paradise, and from the heights of its loftiest chambers, the Maids of Heaven have cried out and shouted: “Rejoice, ye dwellers of the realms above, for the fingers of Him Who is the Ancient of Days are ringing, in the name of the All-Glorious, the Most Great Bell, in the midmost heart of the heavens. The hands of bounty have borne round the cup of everlasting life. Approach, and quaff your fill. Drink with healthy relish, O ye that are the very incarnations of longing, ye who are the embodiments of vehement desire!” 12 Munda mu Lusuku luno, era okuva waggulu mu bisenge ebisingira ddala obugulumivu, Abazaana ab’Eggulu balangiridde era ne baleekaana nti: “Mujaganye mmwe abatuuze ab’omu bwakabaka obuli waggulu, kubanga engalo z’Oyo ow’Ennaku ez’Eddanedda, mu linnya ly’Oyo Oweekitiibwa-kyonna, zikuba Ekide Ekisingira ddala Obunene, mu ntabwe yennyini ey’ensi ez’omu ggulu. Emikono egy’omukisa giyisizzayisizza ekikompe eky’obulamu obutaggwawo. Musembere, era mwekatankire. Munywe mumatire, Abange mmwe ennono y’okuyaayaana, mmwe ababbulukukiramu okwegomba okwamaanyi!” 13 This is the Day whereon He Who is the Revealer of the names of God hath stepped out of the Tabernacle of glory, and proclaimed unto all who are in the heavens and all who are on the earth: “Put away the cups of Paradise and all the life-giving waters they contain, for lo, the people of Bahá have entered the blissful abode of the Divine Presence, and quaffed the wine of reunion, from the chalice of the beauty of their Lord, the All-Possessing, the Most High.” 13 Luno lwe Lunaku Oyo Abikkula amannya ga Katonda lw’afulumye okuva mu Weema ey’ekitiibwa, era n’alangirira eri abo bonna abali mu nsi ez’omu ggulu era n’eri abo bonna abali ku nsi eno nti: “Muggyewo ebikompe eby’omu Lusuku wamu n’amazzi gonna agawa obulamu agabirimu, kubanga laba, abantu ba Bahá bayingidde mu nnyumba ey’essanyu eringi ey’Okubeerawo Okutukuvu, era ne beekatankira envinnyo ey’okuddiŋŋana, okuva ku kikompe ky’obubalagavu bwa Mukama waabwe, Alina-byonna, Ali Waggulu Ennyo.” 14 Forget the world of creation, O Pen, and turn thou towards the face of thy Lord, the Lord of all names. Adorn, then, the world with the ornament of the favours of thy Lord, the King of everlasting days. For We perceive the fragrance of the Day whereon He Who is the Desire of all nations hath shed upon the kingdoms of the unseen and of the seen the splendour of the light of His most excellent names, and enveloped them with the radiance of the luminaries of His most gracious favours—favours which none can reckon except Him, Who is the omnipotent Protector of the entire creation. 14 Weerabire ensi y’obutonde, Owange Akafumu, era okyukire eri amaaso ga Mukama wo, Mukama ow’amannya gonna. Bwotyo oyambaze ensi ekyambalo eky’emikisa gya Mukama wo, Kabaka ow’ennaku ezitaggwawo. Kubanga Ffe tuwunyiriza akaloosa ak’Olunaku Oyo Eyeegombebwa amawanga gonna lw’abunyisizzaako ekitiibwa ky’ekitangaala ky’amannya Ge agasingira ddala obulungi ku bwakabaka bw’ebirabika n’ebitalabika, era ne tubabuutikira n’okumasamasa kw’emmunyeenye z’emikisa Gye egisingira ddala – emikisa omulala gy’atasobola kumanya okuggyako Ye, Omukuumi ow’amaanyi gonna ag’obutonde bwonna. 15 Look not upon the creatures of God except with the eye of kindliness and of mercy, for Our loving providence hath pervaded all created things, and Our grace encompassed the earth and the heavens. This is the Day whereon the true servants of God partake of the life-giving waters of reunion, the Day whereon those that are nigh unto Him are able to drink of the soft-flowing river of immortality, and they who believe in His unity, the wine of His Presence, through their recognition of Him Who is the Highest and Last End of all, in Whom the Tongue of Majesty and Glory voiceth the call: “The Kingdom is Mine. I, Myself, am, of Mine own right, its Ruler.” 15 Totunuulira bitonde bya Katonda okuggyako n’eriiso ery’ekisa n’okusaasira, kubanga okulabirira Kwaffe okw’okwagala kubunye mu bitonde byonna, era ekisa Kyaffe kibuutikidde ensi eno n’ensi ez’omu ggulu. Luno lwe Lunaku abaddu ba Katonda abeesigwa kwe bagabanira ku mazzi ag’obulamu ag’okuddiŋŋana, Olunaku abo abasembedde okumpi na Ye kwe basobolera okunywa ku mazzi agakulukuta ekimpoowooze ag’omugga ogw’obulamu obutaggwawo, era n’abo abakkiririza mu bumu Bwe, envinnyo y’okubeerawo Kwe, nga bayita mu kutegeera kwabwe okw’Oyo ali Waggulu ennyo era Enkomerero Esembayo eya byonna, mu Oyo Olulimi olw’Obuyinza n’Ekitiibwa mwe Luyimusizza eddoboozi Lyalwo ne Lukoowoola nti: “Obwakabaka Bwange Nze. Nze, Mwene, ndi Mufuzi waayo, olw’embeera Yange yennyini ey’obwannannyini. 16 Attract the hearts of men, through the call of Him, the one alone Beloved. Say: This is the Voice of God, if ye do but hearken. This is the Dayspring of the Revelation of God, did ye but know it. This is the Dawning-Place of the Cause of God, were ye to recognize it. This is the Source of the commandment of God, did ye but judge it fairly. This is the manifest and hidden Secret; would that ye might perceive it. O peoples of the world! Cast away, in My name that transcendeth all other names, the things ye possess, and immerse yourselves in this Ocean in whose depths lay hidden the pearls of wisdom and of utterance, an ocean that surgeth in My name, the All-Merciful. Thus instructeth you He with Whom is the Mother Book. 16 Sikiriza emitima gy’abantu, nga oyita mu kuyitibwa kw’Oyo, omu yekka Omwagalwa. Gamba: Lino lye Ddoboozi lya Katonda, singa mubadde mwagala okuwuliriza. Eno ye Ensibuko y’Okubikkulirwa kwa Katonda, singa mubadde mukimanyi. Eno y’Ensibuko y’Enzikiriza ya Katonda, singa mubadde musobola okugitegeera. Eno y’Ensibuko y’etteeka lya Katonda, singa mubadde musobola okulamula mu bwenkanya. Kino ky’Ekyama ekyoleseddwa era ekikusike, kale singa mubadde musobola okukitegeera. Abange mmwe abantu ab’ensi yonna! Mugobe, mu linnya Lyange erisukkulumye ku mannya amalala gonna, ebintu byonna bye mulina, era mwennyike mu Ssemayanja ono nga mu buziba bwayo mukwekeddwamu amaluulu ag’amagezi n’ekigambo, ssemayanja ebimba mu linnya Lyange, Omusaasizi wa byonna. Bwatyo bw’akulambika Oyo abeera n’Ekitabo Nnakazadde. 17 The Best-Beloved is come. In His right hand is the sealed Wine of His name. Happy is the man that turneth unto Him, and drinketh his fill, and exclaimeth: “Praise be to Thee, O Revealer of the signs of God!” By the righteousness of the Almighty! Every hidden thing hath been manifested through the power of truth. All the favours of God have been sent down, as a token of His grace. The waters of everlasting life have, in their fullness, been proffered unto men. Every single cup hath been borne round by the hand of the Well-Beloved. Draw near, and tarry not, though it be for one short moment. 17 Omwagalwa Asinga-bonna atuuse. Mu Mukono Gwe ogwa ddyo mulimu Envinnyo ey’Erinnya Lye eriko envumbo. Yeesiimye omuntu oyo akyuka okudda eri Ye era n’anywa ne yeemala eggoga, era n'alangirira nti; "Ettendo libe eri Ggwe, Ayi Ggwe Abikkula obubonero bwa Katonda!" Ndayira ku lw'obutukirivu bw'Oyo Ayinza-byonna! Buli kintu ekikusike ky’oleseddwa ku lw'amaanyi g'amazima. Emikisa gya Katonda gyonna giweerezeddwa ku nsi, nga akabonero ak’ekisa Kye. Ensulo z’amazzi ag' obulamu obutaggwawo, mu bujjuvu bwazo, ziweereddwa abantu. Buli kikompe kinnakimu kiyisiddwayisiddwa mu bantu n’omukono gw’Omwagala-Ennyo. Musembere kumpi, era temwekunya, newaakubadde kino kibeerawo akaseera akatono ddala. 18 Blessed are they that have soared on the wings of detachment and attained the station which, as ordained by God, overshadoweth the entire creation, whom neither the vain imaginations of the learned, nor the multitude of the hosts of the earth have succeeded in deflecting from His Cause. Who is there among you, O people, who will renounce the world, and draw nigh unto God, the Lord of all names? Where is he to be found who, through the power of My name that transcendeth all created things, will cast away the things that men possess, and cling, with all his might, to the things which God, the Knower of the unseen and of the seen, hath bidden him observe? Thus hath His bounty been sent down unto men, His testimony fulfilled, and His proof shone forth above the Horizon of mercy. Rich is the prize that shall be won by him who hath believed and exclaimed: “Lauded art Thou, O Beloved of all worlds! Magnified be Thy name, O Thou the Desire of every understanding heart!” 18 Balina omukisa abo abatumbidde ku biwaawaatiro eby’okwerekereza ne batuuka mu kifo, nga bwe kyagerekebwa Katonda, ekibuutikira obutonde bwonna, abo abatakyamiziddwa okuva ku Nzikiriza Ye olw’endowooza ezitaliimu ez’abayivu, wadde n’enkuyanja y’amagye ag’ensi. Ani eyo ku mmwe, Abange abantu, aneegaana ensi, era n’asembera okumpi ne Katonda, Mukama w’amannya gonna? Alizuulibwa wa oyo, nga ayise mu maanyi g’erinnya Lyange eriri waggulu w’ebitonde byonna, anaasuula eri ebintu abantu bye balina, era ne yeekwata, n’amaanyi ge gonna, ku bintu Katonda, Oyo Amanyi ebitalabika n’ebirabika, by’amulagidde okugondera? Bwebityo ebirabo Bye bwe bisiddwa eri abantu, obujulirwa Bwe ne butuukirizibwa waggulu w’Olukungirizi lw’okusaasira. Kisava ekirabo ekiriwangulwa oyo akkiriza era n’akungiriza nti: “Otenderezebwe Ggwe, Ayi Omwagalwa ow’ensi zonna! Erinnya Lyo ligulumizibwe, Ayi Ggwe Okwegomba kwa buli mutima ogutegeera!” 19 Rejoice with exceeding gladness, O people of Bahá, as ye call to remembrance the Day of supreme felicity, the Day whereon the Tongue of the Ancient of Days hath spoken, as He departed from His House, proceeding to the Spot from which He shed upon the whole of creation the splendours of His name, the All-Merciful. God is Our witness. Were We to reveal the hidden secrets of that Day, all they that dwell on earth and in the heavens would swoon away and die, except such as will be preserved by God, the Almighty, the All-Knowing, the All-Wise. 19 Mujaganye mu ssanyu eringi ennyo, Abange mmwe abantu ba Bahá, nga bwe mujjukira Olunaku olw'essanyu erituukiridde, Olunaku Olulimi olw’Oyo ow’Ennaku ez’Eddanedda kwe lwogeredde, bwe yali nga ava mu Nnyumba Ye, nga ayolekera Ekifo Ye mwe yayima okumanyisa eri ebitonde byonna ebitiibwa eby'erinnya Lye, Omusaasizi wa byonna. Katonda ye mujulirwa Waffe! Singa Ffe tubikkula ebyama ebikusike eby’Olunaku olwo, abo bonna abatuula mu nsi eno ne mu ggulu bonna bandizirikidde era ne bafa, okuggyako abo Katonda baalibikkako obusubi, Katonda Ayinza-byonna, Amanyi byonna, Ategeera-byonna. 20 Such is the inebriating effect of the words of God upon Him Who is the Revealer of His undoubted proofs, that His Pen can move no longer. With these words He concludeth His Tablet: No God is there but Me, the Most Exalted, the Most Powerful, the Most Excellent, the All-Knowing. 20 Bwetyo bw’ebeera embeera y’ekitengo ereetebwa ebigambo bya Katonda ku Oyo Abikkula obukakafu Bwe obutabuusibuusibwa, olwo Akafumu Ke ne katasobola kweyongera kuseetuka. Wamu n’ebigambo bino bwatyo n’akomekkereza Ekiwandiiko Kye: Teri Katonda okuggyako Nze, Asingira ddala Okugulumizibwa, Owaamaanyi Asingira ddala, Asingira ddala Obulungi, Amanyi-byonna.