Back to Level 2 Index

Lesson 48 – Far past indicative affirmative

Wava ddi ewammwe? (When did you leave home?)
Nava ewaffe mu mwezi ogayise. (I left home a month ago.)

Watuuka ddi wano? (When did you arrive here?)
Natuuka wano mu wiiki eyise. (I arrived here a week ago.)

Watandika ddi okuyiga Oluganda? (When did you start to learn Luganda?)
Natandika okuyiga Oluganda sabiiti bbiri eziyise. (I started to learn Luganda two weeks ago.)

Wagula ddi essaati eyo? (When did you buy that shirt?)
Essaati eno nagigula dda. (I bought this shirt long ago.)

Wayoza ddi essaati eyo? (When did you wash that shirt?)
Essaati eno nagyoza jjo. (I washed this shirt yesterday.)

Wasalibwa ddi enviiri? (When did you have your hair cut?)
Enviiri zasalibwa luli. (I cut my hair the other day.)

Njozezza essaati eno leero. Nayoza essaati eri jjo. (I washed this shirt today. I washed that shirt yesterday)
Nguze essaati eno leero. Nagula essaati eri sabiiti eyise. (I bought this shirt today. I bought that shirt last week.)
Nnyambadde essaati eno leero. Nayambala essaati eri ennaku ssatu eziyise. (I wore this shirt today. I wore that shirt three days ago.)