Back to Level 3 Index

Lesson 54 – Often

Ebitongole bingi ebiri mu gavumenti. ♫ (There are many departments in government.)
Ekyo kisinziira ku bitongole ebiri mu gavumenti. ♫ (That depends on government departments.)
Bakola emirimu gya njawulo nga kisinziira ku bitongole ebiri mu gavumenti. ♫ (They do various jobs that are dependent on departments in government.)
Busia eri ku nsalo ya Uganda ne Kenya. ♫ (Busia is on the border of Uganda and Kenya.)
Batera okukola mu ofiisi. ♫ (They often work in offices.)
Bakola emirimu mingi, naddala ne gy'okulima. ♫ (They do many jobs, especially farming.)
Mulimu abantu ba Uganda ne ab'awalala. ♫ (Therein are people from Uganda and elsewhere.)
Bakola mu ofiisi. Batera okukola mu ofiisi. ♫
(They work in offices. They often work in offices.)
Balima mu byalo. Batera okulima mu byalo. ♫
Balunda ente. Batera okulunda ente. ♫
Bazimba amayumba. Batera okuzimba amayumba. ♫
Babeera mu kibuga. Batera okubeera mu kibuga. ♫