Back to Level 4 Index

Lesson 86 – Meal Schedules

Abantu mu Kampala balya emirundi emeka olunaku? (The people eat how many times a day in Kampala?)
Abantu balya ku ki ku makya nga tebannava waka? (When not yet leaving home, what do the people eat in the mornings?)
Bagenda wa nga bamaze okulya ekyenkya? (When they finish eating breakfast, where do they go?)
Ekyenkya bakirye mu ttuntu? (They eat breakfast at noon?)
Ekyenkya bakirya mu kiseera ki? (What time to they eat breakfast?)
Abantu balya ki mu ttuntu? (What do the people eat at noon?)
Abantu bonna balya ekyemisana? (Do all people eat lunch?)
Abantu balya ki ku ssaawa kkumi? (What to the people eat at four o’clock?)
Abantu bonna banywa caayi ku ssaawa kkumi? (Do all the people drink tea at four o’clock?)
Abantu balya ki nga bazzeeyo eka? (What do people eat when they return home?)
Abantu balya ekyeggulo ku ssaawa emu? (Do people eat dinner at 7 o’clock?)

Banywa caayi. Banywa ka caayi. (They drink tea. They drink a little tea.)
Tunywa caayi. Tunywa ka caayi. (We drink tea. We drink a little tea.)
Eka tunywa caayi. Eka tunywa ku ka caayi. (We drink tea at home. We drink a little tea at home.)
Tunywedde caayi. Tunywedde ku ka caayi. (We drank tea. We drank a little tea.)
Tujja kunywa caayi. Tujja kunywa ku ka caayi. (We will drink tea. We will drink a little tea.)