Back to Level 4 Index

Lesson 80 – Emphatic Pronouns

Omwami Mukasa y’ani?
Omwami Mukasa ye musomesa waffe.
(It is Mr. Mukasa who is our teacher.)
Abaami Mukasa ne Zimbe be baani?
Abaami Mukasa ne Zimbe be basomesa baffe.
Kino kye ki? Eno ye mmeeza yaffe.
(What is this? This is our table.)
Bino bye ki? Zino ze mmeeza zaffe.
Kino kye ki? Kino kye kibiina kyaffe.
Bino bye ki? Bino bye bibiina byaffe.
Kino kye ki? Luno lwe lubaawo lwaffe.

Kino kye kitabo ekisingira ddala.
(This is the best book.)
Lino lye dduuka erisingira ddala.
Luno lwe luguudo olusingira ddala.
Guno gwe muceere ogusingira ddala.
Ono ye musomesa asingira ddala.
Gano ge matooke agasingira ddala.
Guno gwe muwenge ogusingira ddala.
Gino gye migaati egisingira ddala.