Back to Games Index

Bwe Nali Ŋŋenda ku Nnyumba ya Jajja

[Ebyokukozesa - Tewali kyetaagisa.]

Omuzannyo guno mulungi okuzimba mu baana eky’obuteerabirabira. Omwana asooka alowooza ku kintu kyalabye ekigenda ku nnyumba ya jajja. Ekyokulabirako agamba nti, “Bwe nali ŋŋenda ku nnyumba ya jajja nalaba enkima.” Omwana addako nalowooza ku kintu ekirala kye yalaba, era nakigatako ku lukalala. Ayinza okugamba nti: “Bwe nali ŋŋenda ku nnyumba ya jajja nalaba enkima n’entugga.” Nga baddiriŋŋana, boongera okulowooza ku birala era byonna ne biteekebwa ku lukalala, bulijjo nga baddamu ebiri mu lukalala byonna. Abaana bagenda nga boongera ku lukalala. Singa omuntu yenna akola ensobi nga addamu ebiri ku lukalala, nga ava mu muzannyo. Omwana asembayo okuva mu muzannyo, y’abeera awangudde.

On my Way to Grandma's House

[Materials - None.]

This game is good for developing memory. The first child thinks of something that she/he sees going to grandma's house. For example he says "On my way to grandma's house I saw a monkey." The next child thinks of another thing they saw, and adds it to the list. He might say: "On my way to grandma's house I saw a monkey and a giraffe." In turn, the children continue to add more to the list, always repeating the whole list. The children continue adding to the list. If anyone makes a mistake while repeating the list, he's out of the game. The last remaining; child is the winner.

Back to Games Index