Back to Games Index

Empisi n'Embuzi

[Ebyokukozesa - Obuti n’entebbe]

Olwatuuka waliwo ekisibo ky’embuzi ekyali kirina okuyita ku lutindo olwali olukadde okutuuka awaali omuddo omulungi we gwakuliranga. Wansi w’olutindo olwo wabeerawo eggana ly’empisi ezayagalanga nnyo okulya embuzi ento. Naye empisi ezo zaali tezagala kukola era zeebakanga nnyo, ekyazizuukusa ly’enswagiro y’embuzi ezaayitanga ku lutindo. Weewaawo, embuzi zaali ngezi era zaayiga okusomoka olutindo mu kasoobo nga tezirinnya nnyo okukola eddoboozi kubanga, zaali tezagala kuzuukusa empisi. Zaawuliriza n’obwegendereza empisi nga zifuluuta, era, okufuluuta okwo bwe kwayimirira akaseera konna, embuzi zaayimiriranga butenyenya, kubanga zaamaanya nti empisi ziwulira. Embuzi bwe zaayimirira butenyeenya, empisi zaaddangayo mu tulo twabwe.

Omusomesa akola olutindo mu buti n’entebbe, ezimu nga ziri waggulu, ezimu nga ziri wansi. Abaana bateekwa “okusomoka” olutindo ng’obuti obuli waggulu babuyisa wansi ate obuti obuli wansi bayita waggulu waabwo. Omusomesa ng’akuba mu ngalo oba ng’akuba ku nswa oba eŋŋoma oba ekintu ekirala kyonna ekikola eddoboozi, aba akyefaananyiriza ku kufuluuta kw’empisi.

Buli kiseera kyonna empisi zizuukuka. Omwana alina okuyimirira butenyeenya wadde nga kusanze okugulu okumu akusitudde mu bbanga, okutuusa ng’empisi zizeeyo okwebaka. Omwana bw’akona akati kamu ne kaggwa wansi, oba n’okukola akaloboozi akatono ddala, empisi zizuukuka ne zifeenkenya akabuzi akato.

The Hyena and the Goats

[Materials - Sticks and benches]

Once there was a herd of goats that had to pass over a very old bridge to get to the pasture where the sweet grass grew. Underneath the bridge lived a family of hyenas that loved to eat little goats. But the hyenas were very lazy and always slept a lot, waking up only at the sound of a goat passing over the bridge. The goats were very smart and learned how to walk very lightly over the bridge without making any noise because, of course, they did not want to wake up the hyenas. They listened closely to the snoring of the hyenas, and, if at any moment it stopped, they would stay very still, because they knew that the hyenas were listening. If the goats stayed very still, the hyenas would go back to sleep.

The teacher makes a bridge out of sticks and benches, some high, some low. The children must "cross" the bridge, going under the high sticks and over the low ones. The teacher, by clapping or hitting a pot or drum or something else which makes noise, represents the hyenas snoring.

Every now and then the hyenas wake up. The child has to stay still even though he may have one foot up in the air, until the hyenas go back to sleep. If the child knocks down a stick or even makes a small noise, the hyenas wake up and gobble up the little goat.

Back to Games Index