Back to Games Index

Mubikke Amatu Gammwe

[Ebyokukozesa - Tewali kyetaagisa.]

Abaana batuula mu nkulungo. Omwana omu atandika nga akulembera. Akoseza emikono gye gyombi n’abikka ku matu ge. Omwana amudiridde ku ludda olwa kkono abikka omukono gwe ku kutu kwe okwa ddyo. Omwana ali ku ludda lwe olwa ddyo naye abikka omukono gwe ku kutu kwe okwa kkono. Awo akulembera agya engalo ze ne mikono okuva ku matu ge nasonga ku mwana omulala mu nkulungo. Gwansonzeko y’addako okukulembera, era bwaatyo abikka ku matu ge gombi. Amangu ago amuli ku ludda olwa kkono assa engalo ze ku kutu kwe okwa kkono kino kikolebwa mu bwangu. Oyo akulembera asonga ku mwana omulala omuzannyo n’egukwata akati. Omwana yenna agenda empola oba akola ekisoobo ava mu muzannyo. Abo abalwawo mu muzannyo be babeera bawangudde.

Cover Your Ears

[Materials - None]

The children sit in a circle. One child starts as the leader. He places both hands over his ears. The child in his left places his right hand over his right ear. The child to his right places his left hand over his left ear. Then the leader removes both his hands and points to another child in the circle. The new leader puts both hands over his ears. Again, the child to his left quickly puts. his right hand over his right ear, and the child to his right puts his left hand over his left ear. The action is fast. The new leader points to another child and the game goes on. Any child who is slow in acting, or makes a mistake, is out of the game. The players who are in the game the longest are the winners.

Back to Games Index